Olubereberye 39 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 39:1-23

Yusufu ne Muka Potifali

139:1 a Lub 37:36 b Lub 37:25; Zab 105:17Awo Yusufu bwe yatwalibwa e Misiri, Potifali omukungu wa Falaawo, omukulu w’abambowa Omumisiri n’amugula okuva ku Bayisimayiri abaamutwala e Misiri.

239:2 Lub 21:20, 22; Bik 7:9Mukama n’aba ne Yusufu n’aba n’omukisa ng’ali mu nnyumba ya mukama we Omumisiri. 339:3 a Lub 21:22; 26:28 b Zab 1:3Ne mukama we n’alaba nga Mukama amuwadde omukisa mu buli ky’akola. 439:4 nny 8, 22; Lub 24:2Awo Yusufu n’aganja nnyo mu maaso ga mukama we, n’amulabiriranga, n’amufuula omukulu we nnyumba ye ne byonna bye yalina. 539:5 Lub 26:24; 30:27Okuva olwo Mukama n’awa omukisa ennyumba y’Omumisiri olwa Yusufu. Omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, mu nnyumba ne mu nnimiro. 639:6 1Sa 16:12Awo Omumisiri n’ateeka byonna mu mikono gya Yusufu. Yusufu n’avunaanyizibwanga byonna okuggyako emmere mukama we gye yalyanga.39:6 Emmere y’Abamisiri yali yanjawulo ku y’Abayudaaya (43:32), era waabangawo obulombolombo obwagobererwanga mu kuteekateeka emmere y’Abamisiri

Kyokka Yusufu yali mulungi nnyo, mubalagavu. 739:7 2Sa 13:11; Nge 7:15-18Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebbanga eriwerako, mukyala wa mukama we namutunuulira n’okwegomba era n’amugamba nti, “Weebake nange.” 839:8 Nge 6:23-24Naye Yusufu n’agaana, n’agamba mukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange yankwasa byonna ebiri mu nnyumba, n’abiteeka byonna mu mikono gyange, 939:9 a Lub 41:33, 40 b Lub 20:6; 42:18; 2Sa 12:13era tewali n’omu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo n’okusobya eri Katonda?” 10Newaakubadde muka mukama we yamutayirira, Yusufu ye teyamuwulira na mulundi na gumu.

11Naye lwali lumu Yusufu bwe yayingira mu nju okukola emirimu gye nga tewali n’omu mu nnyumba, 1239:12 Nge 7:13muka mukama we n’akwata ekyambalo kya Yusufu nga bw’agamba nti, “Weegatte nange.” Yusufu n’amwesimatulako, ekyambalo kye ne kisigala mu ngalo z’omukazi wa mukama we. Ye n’adduka n’ava mu nnyumba.

13Naye omukazi bwe yalaba ng’asigazza ekyambalo kya Yusufu, 1439:14 Ma 22:24, 27n’ayita abasajja ab’omu nnyumba ye n’abagamba nti, “Mulabe, yatuleetera Omwebbulaniya okutuduulira, yazze gye ndi okwebaka nange, 15bw’awulidde nga ndeekaana n’adduka n’ava mu nnyumba.”

16Awo kwe kutereka ekyambalo okutuusa mukama wa Yusufu lwe yadda eka. 1739:17 Kuv 23:1, 7; Zab 101:5Omukyala n’abuulira bba byonna ng’agamba nti, “Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera, yayingidde gye ndi okunjooga. 18Naye nabadde nakaleekaana, n’aleka ekyambalo kye gye ndi, n’adduka n’ava mu nnyumba.”

Yusufu Ateekebwa mu Kkomera

1939:19 Nge 6:34Awo mukama wa Yusufu bwe yawulira ebigambo omukazi bye yamutegeeza ng’agamba nti, “Bw’ati ne bw’ati omuddu wo bwe yampisizza,” obusungu bwa bba ne bubuubuuka. 2039:20 Lub 40:3; Zab 105:18Mukama wa Yusufu n’akwata Yusufu n’amuteeka mu kkomera omwasibirwanga abazzizza emisango eri kabaka.

2139:21 Kuv 3:21Naye Mukama n’abeera ne Yusufu, n’amulaga okwagala kwe okutalojjeka. N’aganja nnyo mu maaso g’omukuumi w’ekkomera. 2239:22 nny 4Omukuumi w’ekkomera n’ateeka abasibe bonna mu mikono gya Yusufu, era buli ekyakolebwanga nga Yusufu y’akirinako obuvunaanyizibwa. 2339:23 nny 3Omukuumi w’ekkomera nga tafaayo ku buli ekyalinga mu mikono gya Yusufu, kubanga Mukama yali naye, era Mukama n’amuwa omukisa mu buli kye yakolanga.