Olubereberye 35 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 35:1-29

Katonda Azza Obuggya Endagaano ne Yakobo

135:1 a Lub 28:19 b Lub 27:43Katonda n’agamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”

235:2 a Lub 18:19; Yos 24:15 b Lub 31:19 c Kuv 19:10, 14Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe, 335:3 a Lub 32:7 b Lub 28:15, 20-22; 31:3, 42tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze. 435:4 Yos 24:25-26Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe;35:4 Empeta ez’oku matu zaakozesebwanga ng’ensiriba. Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.” 535:5 Kuv 15:16; 23:27; Yos 2:9Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda n’egwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo.

635:6 Lub 28:19; 48:3Yakobo n’ajja e Luzi, ye Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani, ye n’abantu bonna abaali naye. 735:7 Lub 28:13N’azimba eyo ekyoto, n’akituuma Erubeeseeri. Kubanga eyo Katonda gye yamweragira bwe yadduka muganda we.

835:8 Lub 24:59Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi. 935:9 Lub 32:29Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda n’amulabikira, n’amuwa omukisa. 1035:10 Lub 17:5Katonda n’amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri. 1135:11 a Lub 17:1; Kuv 6:3 b Lub 28:3; 48:4 c Lub 17:6Katonda n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga n’enkuyanja y’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe. 1235:12 a Lub 13:15; 28:13 b Lub 12:7; 26:3Ensi gye nawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.” 1335:13 Lub 17:22Awo Katonda n’alinnya okuva waali mu kifo we yayogerera naye.

1435:14 Lub 28:18Yakobo n’asimba empagi mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, empagi ey’ejjinja; n’agiyiwako ekiweebwayo ekyokunywa, n’ayiwako n’amafuta. 1535:15 Lub 28:19Yakobo ekifo Katonda we yayogerera naye n’akiyita Beseri.

16Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri n’alumwa, n’alumwa ddala nnyo. 1735:17 Lub 30:24Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.” 18Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ng’afa, n’amutuuma Benoni, naye kitaawe n’amuyita Benyamini.

1935:19 Lub 48:7; Lus 1:1, 19; Mi 5:2; Mat 2:16Awo Laakeeri n’afa n’aziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu). 2035:20 1Sa 10:2Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge, y’empagi y’amalaalo ga Laakeeri, ekyaliwo n’okutuusa kaakano.

21Isirayiri ne yeeyongera okutambula, n’akuba eweema ye, emabega w’omunaala gwa Ederi. 2235:22 a Lub 49:4; 1By 5:1 b Lub 29:29; Lv 18:8Isirayiri bwe yali ng’ali mu nsi omwo Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri n’akiwulira.

Batabani ba Yakobo baali kkumi n’ababiri.

2335:23 a Lub 46:8 b Lub 29:35 c Lub 30:20Batabani ba Leeya baali:

Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,

ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali ne Zebbulooni.

2435:24 a Lub 30:24 b nny 18Batabani ba Laakeeri ye:

Yusufu ne Benyamini.

2535:25 Lub 30:8Batabani ba Biira, omuweereza wa Laakeeri be ba:

Ddaani ne Nafutaali.

2635:26 a Lub 30:11 b Lub 30:13Batabani ba Zirupa omuweereza wa Leeya be ba:

Gaadi ne Aseri.

Bano be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Padanalaamu.

Okufa kwa Isaaka

2735:27 a Lub 13:18; 18:1 b Yos 14:15Awo Yakobo n’ajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. 2835:28 Lub 25:7, 20Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana. 2935:29 a Lub 25:8; 49:33 b Lub 15:15 c Lub 25:9Isaaka n’afa ng’akaddiye nnyo n’agenda abantu be gye bagenda, ng’amaze ennaku nnyingi, batabani be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.