Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Olubereberye 28

Isaaka Asindika Yakobo eri Labbaani

1Awo Isaaka n’ayita Yakobo n’amuwa omukisa, n’amukuutira nti, “Towasanga, wadde omu ku bakazi Abakanani. Golokoka ogende e Padanalaamu mu nnyumba ya Besweri kitaawe wa nnyoko, ofune omukazi omu ku bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko. Katonda Ayinzabyonna akuwe omukisa, akwaze, weeyongere, era obeerenga n’abantu ab’enjawulo bangi. Akuwe emikisa gya Ibulayimu, era agiwe n’ezzadde lyo, olyoke ofune ensi mw’otambulira, Katonda gye yawa Ibulayimu.” Bw’atyo Isaaka n’asiibula Yakobo, Yakobo n’agenda e Padanalaamu ewa Labbaani, mutabani wa Besweri Omusuuli mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Esawu ne Yakobo.

Esawu n’ategeera nga Isaaka awadde Yakobo omukisa, era ng’amusindise e Padanalaamu afuneyo omukazi, era nga bwe yamuwa omukisa yamukuutira nti, “Towasanga ku bakazi Abakanani,” era nga Yakobo agondedde kitaawe ne nnyina n’agenda e Padanalaamu. Awo n’ategeera nti abakazi Abakanani tebaasanyusa kitaawe Isaaka. Esawu n’agenda eri Isimayiri n’awasa omukazi erinnya lye Makalasi, muwala wa Isimayiri, mutabani wa Ibulayimu, mwannyina wa Nebayoosi, n’amwongera ku bakazi be yalina.

Ekirooto kya Yakobo ng’ali e Beseri

10 Awo Yakobo n’ava e Beeruseba n’ayolekera Kalani. N’atuuka mu kifo ekimu, n’asula awo ekiro ekyo, kubanga obudde bwali buzibye. 11 N’addira erimu ku mayinja agaali mu kifo ekyo, n’alyezizika ne yeebaka. 12 N’aloota ng’alaba eddaala eggwanvu nga liva ku nsi okutuuka mu ggulu, era nga bamalayika ba Katonda balikkirako era nga balinnyirako, 13 era nga Mukama atudde waggulu waalyo. Mukama n’agamba Yakobo nti, “Nze Mukama Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka; ensi kw’ogalamidde ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo. 14 Era ezzadde lyo liriba ng’enfuufu y’oku nsi, era olibuna obugwanjuba n’obuvanjuba era n’obukiikakkono n’obukiikaddyo. Mu ggwe ne mu zadde lyo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa. 15 Laba ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga buli gy’onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa nga mmaze okukola ekyo kye nkugambye.”

16 Awo Yakobo n’ava mu tulo n’agamba nti, “Mazima ddala Mukama ali mu kifo kino, nze mbadde ssimanyi.” 17 N’atya nnyo, n’agamba nti, “Ekifo kino nga kyantiisa! Ekifo kino ye nnyumba ya Katonda, era guno gwe mulyango gw’eggulu.”

18 Awo Yakobo n’agolokoka ku makya, n’addira ejjinja lye yali yeezizise n’alisimba okuba empagi n’ayiwa amafuta ku mutwe gwalyo. 19 Ekifo ekyo n’akituuma Beseri, songa ekibuga ekyo kyayitibwanga Luzi.

20 Awo Yakobo ne yeerayirira ng’agamba nti, “Katonda bw’alibeera nange, n’ankuuma mu lugendo luno lwe ndiko, n’ampa emmere okulya era n’ebyokwambala ne nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange, 21 olwo Mukama n’aba Katonda wange. 22 Era ejjinja lino lye nsimbye okuba empagi liriba nnyumba ya Katonda, era n’ebyo byonna by’ompa ndikuwaako ekimu eky’ekkumi.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 28

1以撒把雅各叫来,给他祝福,又嘱咐他说:“你不要娶迦南的女子为妻。 马上去巴旦·亚兰,到你外祖父彼土利家,在你舅父拉班的女儿中选一个做妻子。 愿全能的上帝赐福给你,使你的子孙众多,成为许多民族。 愿上帝把赐给亚伯拉罕的福气赐给你和你的后代,让你承受你寄居之地为产业,就是上帝赐给亚伯拉罕的地方。” 以撒让雅各前往巴旦·亚兰,去亚兰人彼土利的儿子拉班那里。拉班是雅各和以扫的舅父。

以扫看见父亲给雅各祝福,让他到巴旦·亚兰娶妻,叮嘱他不要娶迦南的女子, 又看见雅各听从父母到巴旦·亚兰去了, 就知道父亲以撒不喜欢迦南的女子。 他便到亚伯拉罕的儿子以实玛利那里,娶了以实玛利的女儿、尼拜约的妹妹玛哈拉为妻。他娶玛哈拉以前已经有两个妻子了。

雅各的梦

10 雅各离开别示巴,前往哈兰。 11 到了一个地方,太阳已经下山,他便在那里过夜。他枕着一块石头睡觉, 12 梦中看见有个梯子立在地上,直通到天上,梯子上有上帝的天使上上下下。 13 耶和华站在梯子上[a]对雅各说:“我是耶和华,是你祖父亚伯拉罕的上帝,也是以撒的上帝。我要把你现在躺卧的地方赐给你和你的后代。 14 你的后代必多如地上的尘沙,遍布四方,地上万族必因你和你的后代而蒙福。 15 我与你同在,无论你去哪里,我都会保护你,领你返回这片土地。我必实现对你的应许,决不离弃你。”

16 雅各一觉醒来,说:“耶和华居然在这里,我却不知道。” 17 他就害怕起来,说:“这地方何等可畏!这里是上帝的家,是通天的大门。”

18 雅各清早起来,把枕的那块石头立成柱子作记号,在上面浇上油。 19 他称那地方为伯特利[b],那地方以前叫路斯。 20 雅各许愿说:“如果上帝与我同在,在路上保护我,供给我衣食, 21 带领我平安地回到父亲的家,我就一定敬奉耶和华为我的上帝。 22 我立为柱子的这块石头必成为上帝的殿。凡你赐给我的,我必把十分之一献给你。”

Notas al pie

  1. 28:13 在梯子上”或译“在他旁边”。
  2. 28:19 伯特利”意思是“上帝的家”。