Olubereberye 27 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 27:1-46

127:1 a Lub 48:10; 1Sa 3:2 b Lub 25:25Awo Isaaka bwe yali ng’akaddiye nnyo n’amaaso ge nga gayimbadde, nga takyayinza kulaba, n’ayita Esawu mutabani we omukulu, n’amugamba nti, “Mutabani,” n’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”

227:2 Lub 47:29Isaaka n’amugamba nti, “Laba, nkaddiye, simanyi lwe ndifa. 327:3 Lub 25:27Kale kaakano kwata by’oyizza, omutego gwo n’obusaale bwo, ogende mu nsiko onjiggire yo omuyiggo. 427:4 nny 10, 25, 31; Lub 49:28; Ma 33:1; Beb 11:20Onteekereteekere ekyokulya ekiwooma ennyo kye njagala, okindeetere nkirye, ndyoke nkusabire omukisa nga sinnafa.”

Lebbeeka Asala Olukwe ne Yakobo

5Ne Lebbeeka yali awo ng’awuliriza, Isaaka ng’agamba mutabani we omukulu Esawu. Awo Esawu bwe yagenda mu nsiko okuyigga omuyiggo aguleete, 627:6 Lub 25:28Lebbeeka n’agamba mutabani we Yakobo owookubiri nti, “Mpulidde kitaawo ng’agamba muganda wo Esawu nti, 7‘Ndeetera omuyiggo onteekereteekere ekyokulya ekiwooma obulungi, nkirye, ndyoke nkusabire omukisa eri Mukama nga sinnafa.’ 827:8 nny 13, 43Kale nno kaakano mwana wange wulira kye nkugamba. 9Genda eri ekisibo ondeeteremu embuzi bbiri ennungi, nfumbire kitaawo ekyokulya ekiwooma, nga bw’ayagala, 10okitwalire kitaawo akirye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.”

1127:11 Lub 25:25Naye Yakobo n’agamba Lebbeeka nnyina nti, “Muganda wange Esawu musajja wa byoya, so nga nze ndi muweweevu. 1227:12 nny 22Singa kitange anampeeweetako, siifuuke mulimba gy’ali, ne nfuna ekikolimo mu kifo ky’okufuna omukisa?”

1327:13 a Mat 27:25 b nny 8Nnyina n’amuddamu nti, “Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere.”

14Awo Yakobo n’agenda, n’azikwata n’azireeteera nnyina, n’ateekerateekera Isaaka ekyokulya ekiwooma nga bwe yayagala. 1527:15 nny 27Lebbeeka n’addira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto, 16era n’addira n’amaliba g’embuzi n’agamwambaza ku mikono ne ku bitundu ebyobulago ebiweweera. 17N’alyoka addira ekyokulya ekiwooma n’omugaati bye yafumba, n’abikwasa Yakobo mutabani we.

Omukisa gwa Yakobo Omubbe

18Awo Yakobo n’agenda eri kitaawe, n’amugamba nti, “Kitange nzuuno.” Ye n’amuddamu nti, “Ggwe ani mwana wange?”

1927:19 nny 4Yakobo n’agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye, nkoze nga bw’oŋŋambye. Kale kaakano tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.” 2027:20 Lub 24:12Naye Isaaka n’abuuza mutabani we nti, “Ogufunye otya amangu bw’otyo?” N’amuddamu nti, “Mukama Katonda wo ampadde omukisa.”

2127:21 nny 12Awo Isaaka n’agamba mutabani we nti, “Sembera wendi mutabani, nkukwateko, ntegeerere ddala nga ggwe mutabani wange Esawu.”

22Yakobo kwe kusembera awali Isaaka kitaawe. Bwe yamuwulira n’agamba nti, “Eddoboozi lya Yakobo naye emikono gya Esawu.” 2327:23 nny 16N’atamutegeera kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng’egya Esawu muganda we, kwe kumuwa omukisa. 24Isaaka n’amubuuza nti, “Ddala gwe mwana wange Esawu?”

N’amuddamu nti, “Ye nze.”

2527:25 nny 4N’alyoka amugamba nti, “Kale gundeetere, ndye ku muyiggo gwa mutabani wange, nkusabire omukisa.” N’alyoka agumuleetera, n’alya era n’amuleetera n’envinnyo n’anywa. 26Awo kitaawe Isaaka n’amugamba nti, “Sembera onnywegere mwana wange.”

2727:27 a Beb 11:20 b Lu 4:11 c Zab 65:9-13N’amusemberera n’amunywegera, kitaawe n’awulira akaloosa ke ngoye ze n’amuwa omukisa ng’agamba nti,

“Wulira akaloosa k’omwana wange,

kali ng’akaloosa k’ennimiro

Mukama gy’awadde omukisa.

2827:28 a Ma 33:13 b nny 39 c Lub 45:18; Kbl 18:12; Ma 33:28Katonda akuwe omusulo ogw’omu ggulu,

n’obugimu bw’ensi,

era akuwe emmere ey’empeke nnyingi n’envinnyo.

2927:29 a Is 45:14, 23; 49:7, 23 b Lub 9:25; 25:23; 37:7 c Lub 12:3; Kbl 24:9; Zef 2:8Abantu bakuweerezenga,

n’amawanga gakuvuunamirenga.

Fuganga baganda bo,

ne batabani ba nnyoko bakuvuunamirenga.

Akolimirwe oyo anaakukolimiranga

era aweebwenga omukisa oyo anaakusabiranga omukisa.”

Esawu Agwa mu Lukwe

30Amangu ddala nga Isaaka yakamala okuwa Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava wali Isaaka kitaabwe, Esawu n’atuuka ng’ava okuyigga. 3127:31 nny 4Era naye n’ateekateeka emmere ey’akawoowo n’agireetera kitaawe. N’agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo gw’omwana wo olyoke onsabire omukisa.”

3227:32 nny 18Kitaawe Isaaka n’amubuuza nti, “Gwe ani?” Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.”

3327:33 nny 29; Lub 28:3, 4; Bar 11:29Olwo Isaaka n’akankana nnyo n’abuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo n’agundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.”

3427:34 Beb 12:17Awo Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe ebyo, n’atulika n’akaaba nnyo nnyini, n’agamba kitaawe nti, “Nange mpa omukisa, ayi kitange.” 3527:35 Yer 9:4; 12:6Naye n’amuddamu nti, “Muganda wo azze n’annimba era akututteko omukisa gwo.”

3627:36 a Lub 25:26 b Lub 25:33Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?”

3727:37 nny 28Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?”

3827:38 Beb 12:17Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba.

3927:39 nny 28Awo Isaaka kitaawe n’amuddamu nti,

“Laba, onooberanga mu nsi enkalu,

era toofunenga musulo guva waggulu mu ggulu.

4027:40 a 2Sa 8:14 b Lub 25:23 c 2Bk 8:20-22Ekitala kyo kye kinaakukuumanga,

era onooweerezanga muganda wo.

Naye bw’olimwesimattulako,

oliba weefunidde eddembe.”

Enteekateeka ya Lebbeeka

4127:41 a Lub 37:4 b Lub 32:11 c Lub 50:4, 10 d Ob 10Awo Esawu n’akyawa muganda we Yakobo ng’amulanga omukisa kitaabwe gwe yamuwa. Esawu n’alyoka ayogera nti, “Ennaku ez’okukungubagira kitange zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, muganda wange Yakobo nga mutta.”

42Kyokka Lebbeeka n’atuusibwako ebigambo bya Esawu mutabani we omukulu; kwe kutumya Yakobo mutabani we omuto, n’amugamba nti, “Laba, Esawu muganda wo ateekateeka okukutta. 4327:43 a nny 8 b Lub 24:29 c Lub 11:31Kale nno kaakano mwana wange, okole nga bwe nkugamba: Golokoka oddukire ewa, mwannyinaze Labbaani ali mu Kalani, 4427:44 Lub 31:38, 41obeereko eyo, okutuusa obusungu bwa muganda wo nga bukkakkanye. 4527:45 nny 35Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde ky’omukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?”

4627:46 Lub 26:35Lebbeeka n’alyoka ategeeza Isaaka nti, “Obulamu bwange bwetamiddwa olw’abakazi bano Abakiiti. Singa Yakobo awasa omu ku bakazi Abakiiti, nga bano, omu ku bakazi aba muno, obulamu bwange buliba tebukyangasa.”