Olubereberye 26 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 26:1-35

Isaaka Abeera mu Gerali

126:1 a Lub 12:10 b Lub 20:1Ne wabaawo enjala mu nsi, eteri eri eyabaawo mu biseera bya Ibulayimu. Isaaka n’agenda mu Gerali, ewa Abimereki26:1 Abimereki Ono yali kabaka Abimereki mulala, eyali asikidde erinnya. Eyasooka yali yafa emyaka kinaana emabegako. kabaka w’Abafirisuuti. 226:2 a Lub 12:7; 17:1; 18:1 b Lub 12:1Ne Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Toserengeta Misiri, beera mu nsi gye ndikulaga. 326:3 a Lub 20:1; 28:15 b Lub 12:2; 22:16-18 c Lub 12:7; 13:15; 15:18Beera mu nsi gye ndikulaga, nnaabeeranga naawe, n’akuwanga omukisa kubanga gwe n’abaana bo ndibawa ensi zino zonna, era ndituukiriza ekirayiro kye nalayirira kitaawo Ibulayimu. 426:4 a Lub 15:5; 22:17; Kuv 32:13 b Lub 12:3; 22:18; Bag 3:8Ndyaza abaana b’enda yo ne baba ng’emmunyeenye ez’eggulu, era ndibawa n’ensi zino zonna. Era mu bo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa; 526:5 Lub 22:16kubanga Ibulayimu yagondera eddoboozi lyange, n’akwata bye namukuutira, n’ebiragiro byange, n’ebigambo byange awamu n’amateeka gange.” 6Bw’atyo Isaaka n’abeera mu Gerali, 726:7 Lub 12:13; 20:2, 12; Nge 29:25abasajja ab’omu nsi omwo bwe baamubuuza ku mukazi we n’abaddamu nti, “Mwannyinaze.” Kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange,” ng’alowooza nti, “Abasajja ab’omu nsi omwo tebalwa kunzita lwa Lebbeeka,” kubanga yali mulungi nnyo.

8Bwe yamalayo ekiseera ekiwanvu, Abimereki, kabaka w’Abafirisuuti n’atunula mu ddirisa, n’alaba Isaaka ng’azannya ne Lebbeeka mukazi we. 9Abimereki kwe kuyita Isaaka n’amugamba nti, “Ddala, mukazi wo, lwaki wagamba nti, ‘Mwannyinaze’?”

Isaaka n’amuddamu nti, “Kubanga nalowooza nti, ‘Nnyinza okufiirwa obulamu bwange ku lulwe.’ ”

1026:10 Lub 20:9Abimereki n’amugamba nti, “Kale kiki kino ky’otukoze? Omu ku basajja yandiyinzizza okusobya ku mukazi wo, wandituleeseeko omusango.”

1126:11 Zab 105:15Awo Abimereki n’alyoka alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Buli alikwata ku musajja ono oba ku mukyala we waakuttibwa.”

1226:12 nny 3; Yob 42:12Isaaka n’asigala mu nsi omwo, n’afuna amakungula emirundi kikumi ag’ebyo bye yasiga, kubanga Mukama yamuwa omukisa. 1326:13 Nge 10:22N’afuuka mugagga, obugagga bwe ne bweyongera n’agaggawala nnyo. 1426:14 a Lub 24:36 b Lub 37:11Yalina ebisibo by’endiga bingi nnyo n’amagana g’ente, era n’abaweereza nfaafa; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya. 1526:15 a Lub 21:30 b Lub 21:25Kyebaava bajjuza enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasima mu biro bya kitaawe Ibulayimu, ne baziziba.

1626:16 Kuv 1:9Ne Abimereki n’agamba Isaaka nti, “Ggenda, tuveemu kubanga otuyitiridde amaanyi.”

Abasumba ba Isaaka n’aba Abafirisuuti

17Awo Isaaka n’avaayo n’azimba mu kiwonvu eky’e Gerali, n’abeera omwo. 1826:18 Lub 21:30Isaaka n’azibukula enzizi ezaali zisimiddwa mu biseera bya Ibulayimu kitaawe, kubanga Abafirisuuti baziziba Ibulayimu bwe yamala okufa. Era ye Isaaka n’aziyita amannya gali kitaawe ge yali azituumye.

19Naye abaddu ba Isaaka bwe basima mu kiwonvu ne bazuula oluzzi olw’ensulo, 2026:20 Lub 21:25abasumba b’omu Gerali ne bayomba n’abasumba ba Isaaka nga bagamba nti, “Amazzi gaffe.” Oluzzi olwo kyeyava alutuuma Eseki26:20 Eseki kitegeeza mpaka, kubanga baawakana naye. 21Kyebaava basima oluzzi olulala, era nalwo ne baluyombera, lwo kwe kuluyita Situna. 2226:22 Lub 17:6; Kuv 1:7Awo n’avaayo n’asima oluzzi olulala, olwo lwo ne bataluyombera, kyeyava alutuuma Lekobosi, ng’agamba nti, “Kubanga kaakano Mukama atuwadde ebbanga, era tujja kukulaakulanira muno.”

23Bwe yava eyo n’agenda e Beeruseba. 2426:24 a Lub 24:12; Kuv 3:6 b Lub 15:1 c nny 4 d Lub 17:7Ekiro ekyo Mukama n’alabikira Isaaka, n’amugamba nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo, totya. Kubanga ndiwamu naawe, ndikuwa omukisa era ndyaza abaana bo ku lwa Ibulayimu omuddu wange.”

2526:25 Lub 12:7, 8; 13:4, 18; Zab 116:17Awo n’azimbawo ekyoto n’akoowoola erinnya lya Mukama, n’asimba eyo eweema ye. Era n’eyo abaddu be ne basimayo oluzzi.

2626:26 Lub 21:22Mu kiseera kye kimu Abimereki n’ava mu Gerali ng’ali ne Akuzasa gwe yeebuuzangako amagezi ne Fikoli omukulu w’eggye lye, n’agenda eri Isaaka. 2726:27 nny 16Isaaka n’ababuuza nti, “Lwaki muzze gye ndi ng’ate mwankijjanya ne mungobaganya?”

2826:28 Lub 21:22Ne bamuddamu nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti, ‘Wabeewo ekirayiro wakati wo naffe. Era tukole endagaano naawe, 2926:29 Lub 24:31; Zab 115:15nga tolitukola kabi, nga ffe bwe tutaakakukola era nga tetuliiko kye tukukoze, wabula ebirungi era nga twakusiibula mirembe.’ Kaakano gwe oli muntu Mukama gw’awadde omukisa.”

3026:30 Lub 19:3Awo Isaaka n’abakolera ekijjulo ne balya ne banywa. 3126:31 Lub 21:31Ku makya ennyo ne bagolokoka ne balayiriragana, Isaaka n’abawerekerako ne bava gy’ali mirembe.

32Ku lunaku olwo lwennyini, abaddu ba Isaaka ne bajja ne bamutegeeza eby’oluzzi lwe baasima, ne bamugamba nti, “Tuzudde amazzi.” 3326:33 Lub 21:14N’alutuuma Siba; erinnya ly’ekibuga kyeriva liba Beeruseba na buli kati.

3426:34 a Lub 25:20 b Lub 28:9; 36:2Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana egy’obukulu, n’awasa Yudisi muwala wa Beeri Omukiiti, ne Besimansi muwala wa Eroni naye Omukiiti. 3526:35 Lub 27:46Ne bakaluubiriza nnyo Isaaka ne Lebbeeka obulamu.