Olubereberye 25 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 25:1-34

1Ibulayimu n’awasa omukazi omulala erinnya lye Ketula. 225:2 1By 1:32, 33Yamuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa. 3Yokusaani n’azaala Seeba ne Dedani. Dedani n’azaala Asulimu, ne Letusimu ne Leumimu. 4Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baana n’abazzukulu ba Ketula.

525:5 Lub 24:36Ibulayimu yawa Isaaka byonna bye yalina. 625:6 a Lub 22:24 b Lub 21:10, 14Naye bo abaana b’abaweereza be n’abawa birabo, n’abasiibula bwe yali ng’akyali mulamu bagende ebuvanjuba mu nsi ey’ebuvanjuba; baviire mutabani we Isaaka.

Okufa kwa Ibulayimu

7Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano. 825:8 a Lub 15:15 b nny 17; Lub 35:29; 49:29, 33Ibulayimu yafa ng’akaddiyidde ddala, nga musajja awangaalidde ddala obulungi. 925:9 a Lub 35:29 b Lub 50:13Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku ey’e Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule; 1025:10 Lub 23:16ennimiro Ibulayimu gye yagula ku Bakiiti. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa awali Saala mukazi we. 1125:11 Lub 16:14Ibulayimu bwe yafa, Katonda n’awa mutabani we Isaaka omukisa, Isaaka n’abeera e Beerirakayiroyi.

Abaana ba Isimayiri

1225:12 a Lub 16:1 b Lub 16:15Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala.

13Gano ge mannya gaabwe nga bwe baddiŋŋanwako: Nebayoosi, omubereberye wa Isimayiri, ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 14ne Misuma, ne Duma, ne Massa, 15ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. 1625:16 Lub 17:20Abo be batabani ba Isimayiri, era ago ge mannya gaabwe, mu byalo ne mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, abafuzi kkumi na babiri buli omu n’eggwanga lye. 1725:17 nny 8Isimayiri yafa ng’awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu n’atwalibwa mu babe. 1825:18 Lub 16:12Abantu be baatuula okuviira ddala mu Kavira ne batuuka ku Ssuuli okuliraana Misiri ku luuyi olwa Bwasuli. Ennaku zaabwe zonna baawalananga baganda baabwe.

Okuzaalibwa kwa Yakobo ne Esawu

19Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isaaka, mutabani wa Ibulayimu.

Ibulayimu yazaala Isaaka. 2025:20 a nny 26; Lub 26:34 b Lub 24:67 c Lub 24:29Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.

2125:21 1By 5:20; 2By 33:13; Ezr 8:23; Zab 127:3; Bar 9:10Isaaka n’asaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Mukama n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto. 2225:22 1Sa 9:9; 10:22Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.

2325:23 a Lub 17:4 b Lub 27:29, 40; Mal 1:3; Bar 9:11-12*Mukama n’amuddamu nti,

“Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri,

abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo,

omu alibeera w’amaanyi okusinga munne,

era omukulu yaaliweereza omuto.”

24Ennaku ez’okuzaala bwe zaatuuka, laba, n’azaala abalongo nga babulenzi. 2525:25 Lub 27:11Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ng’ekyambalo eky’ebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu. 2625:26 a Kos 12:3 b Lub 27:36Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.

Esawu Atunda eby’Obukulu Bwe

2725:27 Lub 27:3, 5Abalenzi ne bakula, Esawu n’aba muyizzi lukulwe, omuntu ow’oku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ng’asigala waka. 2825:28 a Lub 27:19 b Lub 27:6Isaaka n’ayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye n’ayagala Yakobo.

29Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo. 30Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.

31Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”

32Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?”

3325:33 Lub 27:36; Beb 12:16Yakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe.

34Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda.

Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

創世記 25:1-34

亞伯拉罕的其他後代

1亞伯拉罕又娶了基土拉2基土拉亞伯拉罕生了心蘭約珊米但米甸伊施巴書亞3約珊生了示巴底但底但的子孫是亞書利族、利都示族和利烏米族。 4米甸的兒子是以法以弗哈諾亞比大以勒大。這些都是基土拉的子孫。 5亞伯拉罕把所有的財產都給了以撒6他趁自己還在世的時候,把一些禮物送給他的妾所生的兒子們,讓他們離開他的兒子以撒到東方去。

7亞伯拉罕活了一百七十五歲, 8享盡天年,壽終正寢,歸到他祖先那裡。 9他的兩個兒子以撒以實瑪利把他安葬在麥比拉洞,那山洞在幔利附近、瑣轄的兒子以弗崙的地裡。 10那塊地是亞伯拉罕人買的,他和妻子撒拉葬在一起。 11亞伯拉罕去世以後,上帝賜福給他的兒子以撒以撒住在庇耳·拉海·萊附近。

12以實瑪利亞伯拉罕撒拉的婢女埃及夏甲所生的兒子。 13以下是以實瑪利的兒子,按出生的次序是:尼拜約基達亞德別米比衫14米施瑪度瑪瑪撒15哈大提瑪伊突拿非施基底瑪16他這十二個兒子後來分別成了十二個族的族長,各有自己的村莊和營寨。 17以實瑪利活了一百三十七歲,壽終正寢,歸到他祖先那裡。 18他子孫居住的地方從哈腓拉一直延伸到埃及東面、通往亞述方向的書珥,他們與其他親屬作對25·18 與其他親屬作對」或譯「住在其他親屬的東面」。

利百加生以掃和雅各

19以下是關於亞伯拉罕的兒子以撒的記載。

亞伯拉罕以撒20以撒四十歲娶利百加利百加巴旦·亞蘭的亞蘭人彼土利的女兒、拉班的妹妹。 21以撒因為利百加沒有生育,就為她祈求耶和華。耶和華應允了他的祈求,利百加就懷了孕。 22兩個胎兒在她腹中彼此相爭,她說:「怎麼會這樣?」於是,她去求問耶和華。 23耶和華對她說:

「你腹中有兩個國家,

你要生出兩個敵對的民族,

一族要比另一族強大,

將來大的要服侍小的。」

24到了生產的時候,利百加果然生下雙胞胎。 25先出生的嬰兒遍體通紅,渾身長毛,好像穿了皮衣,因此給他取名叫以掃25·25 以掃」意思是「有毛」。26隨後出生的弟弟緊緊抓著以掃的腳跟,因此給他取名叫雅各25·26 雅各」意思是「抓住」。。那時以撒六十歲。

以掃出賣長子名分

27孩子們漸漸長大,以掃擅長狩獵,常在田野活動;雅各生來安靜,喜歡待在家裡。 28以撒疼愛以掃,因為他喜歡吃以掃帶回來的獵物,利百加卻疼愛雅各

29一天,雅各正在熬湯,以掃精疲力盡地從田野回來。 30以掃雅各說:「我要餓死了,給我一些紅豆湯喝吧!」因此,以掃又叫以東25·30 以東」意思是「紅色」。31雅各回答說:「好,你今天把長子的名分賣給我吧!」 32以掃說:「我都快餓死了,長子的名分對我有什麼用呢?」 33雅各說:「好,你現在向我起誓保證吧!」於是,以掃就起誓把長子的名分賣給了雅各34雅各把餅和紅豆湯給以掃以掃吃完喝完便走了。以掃輕看自己長子的名分。