Olubereberye 23 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 23:1-20

Okufa n’Okuziikibwa kwa Saala

1Saala yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu. 223:2 a Yos 14:15 b nny 19; Lub 13:18N’afiira e Kiriyasuwalaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Saala bwe yafa Ibulayimu n’ayingira okumukungubagira n’amukaabira.

3Oluvannyuma Ibulayimu n’ava awali omulambo gwe n’agenda eri Abakiiti23:3 Abakiiti be bazzukulu ba Kiiti n’abagamba nti, 423:4 Lub 17:8; 1By 29:15; Zab 105:12; Beb 11:9, 13“Ndi mugenyi era omutambuze mu mmwe, munfunire ekifo aw’okuziika, ndyoke nziikewo omuntu wange anve ku maaso.” 5Abakiiti ne baddamu Ibulayimu nti, 623:6 Lub 14:14-16; 24:35“Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gy’oneeroboza. Tewali n’omu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.”

7Ibulayimu n’agolokoka n’avuunama eri Abakiiti, bannannyini nsi. 823:8 Lub 25:9N’abagamba nti, “Obanga munzikirizza mu mwoyo mulungi okuziika omuntu wange, mumpulirize. Kale munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali, 9anguze empuku ey’e Makupeera, gy’alina, eri ku nkomerero y’ennimiro ye. Agingulize mu maaso gammwe, mmusasule omuwendo gwayo gwonna, efuuke ekifo kyange eky’okuziikangamu mu mmwe.” 1023:10 Lub 34:20-24; Lus 4:4Mu kiseera ekyo Efulooni yali atudde awo wakati mu Bakiiti. Efulooni, Omukiiti n’addamu Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaaliwo mu mulyango gw’ekibuga nga bawulira nti, 1123:11 2Sa 24:23“Nedda mukama wange. Mpuliriza. Nkuwadde ennimiro n’empuku erimu, ng’abantu bange balaba, ziika omuntu wo.”

12Awo Ibulayimu n’avuunama mu maaso gaabwe bonna. 13N’agamba Efulooni, bonna nga bawulira nti, “Obanga okkirizza, nkusaba nsasule omuwendo gw’ennimiro gwonna ndyoke nziikewo mukazi wange.” 14Efulooni n’addamu Ibulayimu nti, 1523:15 Ez 45:12“Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”

1623:16 Yer 32:9; Zek 11:12Ne bakkiriziganya, Ibulayimu kwe kusasula Efulooni ensimbi ze bakkirizaganya nga Abakiiti bonna balaba.

1723:17 Lub 25:9; 49:30-32; 50:13; Bik 7:16Olwo ennimiro ya Efulooni mu Makupeera, eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Mamule, ennimiro awamu n’empuku eyalimu, n’emiti gyonna egyali mu nnimiro ekitundu kyonna ne bifuuka bya 18Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaafuluma mu mulyango gw’ekibuga balaba. 19Oluvannyuma Ibulayimu n’aziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. 2023:20 Yer 32:10Abakiiti ne bakwasa Ibulayimu ennimiro awamu n’empuku yaamu mu butongole okubeera obutaka bwe okuziikangamu abantu be.