Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Olubereberye 22

Katonda Agezesa Ibulayimu

1Awo oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agezesa Ibulayimu, n’amuyita nti, “Ibulayimu!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno.”

Katonda n’amugamba nti, “Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gw’oyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.”

Ibulayimu n’agolokoka ku makya n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’atwala babiri ku baweereza be abasajja ne Isaaka mutabani we, n’ayasa enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’asituka n’agenda mu kifo Katonda kye yamugamba. Ku lunaku olwokusatu Ibulayimu n’ayimusa amaaso ge n’alengera ekifo. Awo Ibulayimu n’agamba balenzi be nti, “Musigale wano n’endogoyi, nze n’omulenzi tugende eri tusinze, tulyoke tukomewo.”

Ibulayimu n’addira enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa n’azitikka Isaaka mutabani we, ye n’akwata omuliro n’akambe, ne bagenda bombi. Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.”

Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.”

Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” Ibulayimu n’amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi.

Ibulayimu Awaayo Isaaka

Bwe baatuuka mu kifo Katonda kye yamugamba, Ibulayimu n’azimba ekyoto, n’atindikira enku, n’asiba omwana we Isaaka, n’amuteeka ku kyoto ku nku. 10 Awo Ibulayimu n’akwata ekiso, n’agolola omukono gwe atte omwana we. 11 Naye malayika wa Mukama n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!”

Ibulayimu n’addamu nti, “Nze nzuuno.” N’amugamba nti, 12 “Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bw’ati.”

13 Awo Ibulayimu n’ayimusa amaaso, n’alaba, era laba, emabega we endiga ennume ng’eri mu kisaka ng’amayembe gaayo mwe galaalidde. Ibulayimu n’agenda n’addira endiga eyo n’agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ky’omwana we. 14 Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa Mukama anaagabiriranga.

15 Awo malayika wa Mukama n’ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng’asinziira mu ggulu, 16 n’amugamba nti, “Nze Mukama neerayiridde, nga bw’okoze kino, n’otonnyima mwana wo omu yekka bw’ati, 17 ddala ndikuwa omukisa, era ndyaza ezzadde lyo, ne liba ng’emmunyeenye ez’eggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja. Era ezzadde lyo balitwala eby’abalabe baabwe, 18 era mu zzadde lyo amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.”

19 Ibulayimu n’alyoka addayo eri abavubuka be, ne basitula ne balaga e Beeruseba.

20 Awo mu biro ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Laba Mirika azaalidde Nakoli muganda wo abaana: Uzi ye mubereberye,

21 ne muto we ye Buzi, ne Kemweri kitaawe wa Alamu,

22 ne Kesedi, ne Kazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu ne Besweri.”

23 Era Besweri yazaala Lebbeeka.

Abaana abo omunaana Mirika be yazaalira Nakoli muganda wa Ibulayimu.

24 Ate ne mukazi we omulala Lewuma n’azaalira Nakoli, abaana aboobulenzi era be bano:

Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka.

New International Version - UK

Genesis 22

Abraham tested

1Some time later God tested Abraham. He said to him, ‘Abraham!’

‘Here I am,’ he replied.

Then God said, ‘Take your son, your only son, whom you love – Isaac – and go to the region of Moriah. Sacrifice him there as a burnt offering on a mountain that I will show you.’

Early the next morning Abraham got up and loaded his donkey. He took with him two of his servants and his son Isaac. When he had cut enough wood for the burnt offering, he set out for the place God had told him about. On the third day Abraham looked up and saw the place in the distance. He said to his servants, ‘Stay here with the donkey while I and the boy go over there. We will worship and then we will come back to you.’

Abraham took the wood for the burnt offering and placed it on his son Isaac, and he himself carried the fire and the knife. As the two of them went on together, Isaac spoke up and said to his father Abraham, ‘Father?’

‘Yes, my son?’ Abraham replied.

‘The fire and wood are here,’ Isaac said, ‘but where is the lamb for the burnt offering?’

Abraham answered, ‘God himself will provide the lamb for the burnt offering, my son.’ And the two of them went on together.

When they reached the place God had told him about, Abraham built an altar there and arranged the wood on it. He bound his son Isaac and laid him on the altar, on top of the wood. 10 Then he reached out his hand and took the knife to slay his son. 11 But the angel of the Lord called out to him from heaven, ‘Abraham! Abraham!’

‘Here I am,’ he replied.

12 ‘Do not lay a hand on the boy,’ he said. ‘Do not do anything to him. Now I know that you fear God, because you have not withheld from me your son, your only son.’

13 Abraham looked up and there in a thicket he saw a ram[a] caught by its horns. He went over and took the ram and sacrificed it as a burnt offering instead of his son. 14 So Abraham called that place The Lord Will Provide. And to this day it is said, ‘On the mountain of the Lord it will be provided.’

15 The angel of the Lord called to Abraham from heaven a second time 16 and said, ‘I swear by myself, declares the Lord, that because you have done this and have not withheld your son, your only son, 17 I will surely bless you and make your descendants as numerous as the stars in the sky and as the sand on the seashore. Your descendants will take possession of the cities of their enemies, 18 and through your offspring[b] all nations on earth will be blessed,[c] because you have obeyed me.’

19 Then Abraham returned to his servants, and they set off together for Beersheba. And Abraham stayed in Beersheba.

Nahor’s sons

20 Some time later Abraham was told, ‘Milkah is also a mother; she has borne sons to your brother Nahor: 21 Uz the firstborn, Buz his brother, Kemuel (the father of Aram), 22 Kesed, Hazo, Pildash, Jidlaph and Bethuel.’ 23 Bethuel became the father of Rebekah. Milkah bore these eight sons to Abraham’s brother Nahor. 24 His concubine, whose name was Reumah, also had sons: Tebah, Gaham, Tahash and Maakah.

Notas al pie

  1. Genesis 22:13 Many manuscripts of the Masoretic Text, Samaritan Pentateuch, Septuagint and Syriac; most manuscripts of the Masoretic Text a ram behind him
  2. Genesis 22:18 Or seed
  3. Genesis 22:18 Or and all nations on earth will use the name of your offspring in blessings (see 48:20)