Olubereberye 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 15:1-21

Endagaano ya Mukama ne Ibulaamu

115:1 a Dan 10:1 b Lub 21:17; 26:24; 46:3; 2Bk 6:16; Zab 27:1; Is 41:10, 13-14 c Ma 33:29; 2Sa 22:3, 31; Zab 3:3Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,

“Totya Ibulaamu,

Nze ngabo yo

era empeera yo ennene ennyo.”

215:2 Bik 7:5Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” 315:3 Lub 24:2, 34Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”

415:4 Bag 4:28Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” 515:5 a Zab 147:4; Yer 33:22 b Lub 12:2; 22:17; Kuv 32:13; Bar 4:18*; Beb 11:12N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”

615:6 Zab 106:31; Bar 4:3*, 20-24*; Bag 3:6*; Yak 2:23*Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu. 7N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” 815:8 Luk 1:18Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” 9Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”

1015:10 a nny 17; Yer 34:18 b Lv 1:17Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri. 11Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba.

1215:12 Lub 2:21Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira. 1315:13 a nny 16; Kuv 12:40; Bik 7:6, 17 b Kuv 1:11Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina. 1415:14 a Bik 7:7* b Kuv 12:32-38Naye ndibonereza eggwanga lye balikolera n’oluvannyuma balivaayo n’obugagga bungi. 1515:15 Lub 25:8Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo. 1615:16 1Bk 21:26Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.”

1715:17 nny 10Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino. 1815:18 a Lub 12:7 b Kbl 34:5Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 19Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni, 20n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa, 21n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”