Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Olubereberye 14

Olutalo ne Bakabaka

1Mu biro bya Amulafeeri kabaka wa Sinaali,[a] ne Aliyooki kabaka wa Erasali, ne Kedolawomeeri kabaka wa Eramu ne Tidali kabaka wa Goyiyimu, bakabaka bano ne balumba ne balwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu, ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola, ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali. Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (y’Ennyanja ey’Omunnyo). Baamala emyaka kkumi n’ebiri nga baweereza Kedolawomeeri kabaka we Eramu, naye mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ne bamujeemera.

Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye ne balumba Abaleefa[b] mu Asuterosikalumayimu ne babawangula, n’Abazuuzi mu Kaamu, n’Abemi mu Savekiriyasayimu, n’Abakooli mu nsi ey’ensozi eya Seyiri n’okutuukira ddala Erupalaani okumpi n’eddungu. Ate ne bakyuka ne bajja e Nuumisupaati, ye Kadesi ne bawangula ensi yonna ey’Abamaleki n’Abamoli abaabeeranga mu Kazazonutamali.

Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola, ne kabaka wa Aduma, ne kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali ne beegatta mu lutalo mu kiwonvu ky’e Sidimu okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinaali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano. 10 Ekiwonvu ky’e Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka b’e Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ng’abamu babigwamu, n’abalala ne baddukira ku nsozi. 11 Awo bakabaka abana ne batwala ebintu byonna ebyali mu Sodomu ne Ggomola, n’emmere yaabwe yonna gye baalina ne bagenda. 12 Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, n’ebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu.

Ibulaamu Awonya Lutti

13 Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko n’ajja n’ategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi n’emivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu. 14 Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. 15 Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko. 16 Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna.

Merukizeddeeki Asabira Ibulaamu Omukisa

17 Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka). 18 Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi[c] eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo. 19 N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti,

“Katonda Ali Waggulu Ennyo
    Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.
20 Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe
    agabudde abalabe bo mu mikono gyo.”

Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu.

21 Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.”

22 Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi, 23 sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’ 24 Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, n’omugabo gw’abasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.”

Notas al pie

  1. 14:1 Sinaali ye Babulooni
  2. 14:5 Abaleefa kitegeeza Agantu aganene ennyo.
  3. 14:18 Ssaalemi lye liyinzika okuba nga ly’erinnya ekkadde erya Yerusaalemi.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 14

亚伯兰救回罗得

11-2 那时,示拿王暗拉非、以拉撒王亚略、以拦王基大老玛和戈印王提达联合攻打以下五王:所多玛王比拉、蛾摩拉王比沙、押玛王示纳、洗扁王善以别和比拉王,即琐珥王。 五王会师西订谷,即盐海。 他们受基大老玛王统治十二年,在第十三年叛变了。 第十四年,基大老玛联合其他王在亚特律·加宁打败利乏音人,在哈麦打败苏西人,在沙微·基列亭打败以米人, 在西珥山打败住在那里的何利人,直杀到靠近旷野的伊勒·巴兰。 然后,他们返回安·密巴,即加低斯,征服了亚玛力全境以及住在哈洗逊·他玛的亚摩利人。 那时,所多玛王、蛾摩拉王、押玛王、洗扁王和比拉王,即琐珥王,在西订谷摆开阵势, 抵抗以拦王基大老玛、戈印王提达、示拿王暗拉非和以拉撒王亚略:四王跟五王交战。 10 西订谷有许多柏油坑,所多玛王和蛾摩拉王败走的时候,有些人掉进坑里,其他人都往山上逃命。 11 四王把所多玛和蛾摩拉所有的财物和粮食洗劫一空, 12 并劫走亚伯兰的侄儿罗得和他的财物,那时罗得正住在所多玛。

13 有一个逃出来的人把这件事情告诉了希伯来人亚伯兰。那时,亚伯兰住在亚摩利人幔利的橡树那里。幔利是以实各和亚乃的兄弟,三人都是亚伯兰的盟友。 14 亚伯兰听见侄儿被掳的消息,便率领家中三百一十八名训练有素的壮丁去追赶他们,一直追到但。 15 夜里,亚伯兰和他的随从分头出击,大败敌人,一直追杀到大马士革北面的何巴, 16 夺回所有被劫的财物,并救出他侄儿罗得和他的财物、妇女及其他人。

麦基洗德祝福亚伯兰

17 亚伯兰大败基大老玛及其盟军后凯旋归来,所多玛王到沙微谷来迎接他们。沙微谷即王谷。 18 撒冷王麦基洗德也带着饼和酒出来相迎,他是至高上帝的祭司。 19 他祝福亚伯兰说:

“愿创造天地的主、至高的上帝赐福给亚伯兰!
20 将敌人交在你手中的至高上帝当受称颂!”

于是,亚伯兰把所得的十分之一给麦基洗德。 21 所多玛王对亚伯兰说:“请把我的人民交还给我,你可以把财物拿去。” 22 亚伯兰对他说:“我向创造天地的主、至高的上帝耶和华起誓, 23 凡是你的东西,就是一根线、一条鞋带,我都不会拿,免得你说,‘我使亚伯兰发了财!’ 24 除了我的随从已经吃用的以外,我什么也不要。至于我的盟友亚乃、以实各和幔利所应得的战利品,请分给他们。”