Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Olubereberye 13

1Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu.

Ibulaamu ne Lutti Baawukana

Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo. N’atambula okuva e Negevu n’atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye we yali olubereberye, wakati wa Beseri ne Ayi, mu kifo we yasooka okuzimbira Mukama ekyoto, Ibulaamu n’akoowoolera eyo erinnya lya Mukama.

Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi, ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo, ate nga n’abasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperezi nabo baabanga mu nsi omwo.

Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda. Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.”

10 Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. 11 Bw’atyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana. 12 Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu. 13 Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri Mukama.

14 Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba; 15 kubanga ensi gy’olaba ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo emirembe gyonna. 16 Ndyaza ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi; omuntu bw’alisobola okubala enfuufu ey’oku nsi, n’ezzadde lyo aliribala. 17 Situka, tambula obuwanvu n’obukiika obw’ensi kubanga ngikuwadde.”

18 Awo Ibulaamu n’asimbula eweema ye n’agenda n’abeera okumpi n’emivule gya Mamule, ekiri e Kebbulooni, n’azimbira eyo Mukama ekyoto.

New International Version - UK

Genesis 13

Abram and Lot separate

1So Abram went up from Egypt to the Negev, with his wife and everything he had, and Lot went with him. Abram had become very wealthy in livestock and in silver and gold.

From the Negev he went from place to place until he came to Bethel, to the place between Bethel and Ai where his tent had been earlier and where he had first built an altar. There Abram called on the name of the Lord.

Now Lot, who was moving about with Abram, also had flocks and herds and tents. But the land could not support them while they stayed together, for their possessions were so great that they were not able to stay together. And quarrelling arose between Abram’s herdsmen and Lot’s. The Canaanites and Perizzites were also living in the land at that time.

So Abram said to Lot, ‘Let’s not have any quarrelling between you and me, or between your herdsmen and mine, for we are close relatives. Is not the whole land before you? Let’s part company. If you go to the left, I’ll go to the right; if you go to the right, I’ll go to the left.’

10 Lot looked around and saw that the whole plain of the Jordan towards Zoar was well watered, like the garden of the Lord, like the land of Egypt. (This was before the Lord destroyed Sodom and Gomorrah.) 11 So Lot chose for himself the whole plain of the Jordan and set out towards the east. The two men parted company: 12 Abram lived in the land of Canaan, while Lot lived among the cities of the plain and pitched his tents near Sodom. 13 Now the people of Sodom were wicked and were sinning greatly against the Lord.

14 The Lord said to Abram after Lot had parted from him, ‘Look around from where you are, to the north and south, to the east and west. 15 All the land that you see I will give to you and your offspring[a] for ever. 16 I will make your offspring like the dust of the earth, so that if anyone could count the dust, then your offspring could be counted. 17 Go, walk through the length and breadth of the land, for I am giving it to you.’

18 So Abram went to live near the great trees of Mamre at Hebron, where he pitched his tents. There he built an altar to the Lord.

Notas al pie

  1. Genesis 13:15 Or seed; also in verse 16