Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Olubereberye 12

Okuyitibwa kwa Ibulaamu

1Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.

“Nange ndikufuula eggwanga eddene,
    era ndikuwa omukisa,
n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,
    olyoke obeere mukisa.
Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
    era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
    mwe galiweerwa omukisa.”

Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.

Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.

Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama. Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ng’ayolekera Negevu[a].

Ibulaamu Agenda e Misiri

10 Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri[b] asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi. 11 Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu, 12 era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti, ‘Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka. 13 Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”

14 Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo. 15 N’abakungu ba Falaawo bwe baamulaba ne bamutendera Falaawo ne bamutwala mu lubiri lwa Falaawo. 16 Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira.

17 Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. 18 Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? 19 Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.” 20 Falaawo n’alagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza n’ava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina.

Notas al pie

  1. 12:9 Negevu kitegeeza ensi enkalu, era lwe lusenyi oludda mu bukiikaddyo obwa Yerusaalemi n’okudda mu ddungu.
  2. 12:10 Misiri teyakosebwa kyeya, kubanga baalina enzizi ezaafukiriranga ebirime byabwe.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 12

上帝呼召亚伯兰

1耶和华对亚伯兰说:“你要离开家乡、亲族和父亲的家,到我要指示你的地方去。 我必使你成为大国,我必赐福给你,使你声名远播。你必成为别人的祝福。 我必赐福给那些祝福你的人,咒诅那些咒诅你的人。世上万族必因你而蒙福。”

亚伯兰就照耶和华的吩咐离开哈兰,侄儿罗得与他同行。那时亚伯兰七十五岁。 亚伯兰带着妻子撒莱、侄儿罗得以及在哈兰积攒的财物和所得的奴仆启程来到迦南。到了迦南以后, 亚伯兰继续前行,来到示剑的摩利橡树[a]那里。当时迦南人住在那地方。 耶和华向亚伯兰显现,对他说:“我要把这片土地赐给你的后裔。”亚伯兰就在那里为向他显现的耶和华筑了一座坛。 然后,他们又启程前往伯特利东面的山区,在那里搭起帐篷。他们的西面是伯特利,东面是艾。亚伯兰又在那里筑了一座坛,求告耶和华。 之后,亚伯兰继续前往南地。

亚伯兰逃荒到埃及

10 当时,那地方闹饥荒,灾情非常严重,亚伯兰便下到埃及暂住。 11 快要到埃及的时候,他对妻子撒莱说:“我知道你是个美貌的女子, 12 埃及人看见你,一定会因为你是我的妻子而杀了我,让你活着。 13 所以,请你说你是我的妹妹,这样他们会因为你而善待我,留我一命。” 14 亚伯兰一行到了埃及,撒莱的美貌引起了埃及人的注意。 15 法老的官员见了撒莱,就在法老面前称赞她的美貌,她便被带进法老的王宫。 16 因为撒莱的缘故,法老厚待亚伯兰,赏给他许多牛、羊、驴、骆驼和仆婢。

17 耶和华因亚伯兰妻子撒莱的缘故使法老和他全家患重病。 18 法老便召见亚伯兰,说:“你做的是什么事?为什么不告诉我她是你妻子? 19 为什么说她是你妹妹,以致我娶她为妻呢?现在你妻子在这里,带她走吧!” 20 法老就吩咐人把亚伯兰、他妻子以及他所有的一切都送走了。

Notas al pie

  1. 12:6 橡树”希伯来文是“大树”,也可能指灵树或圣树,下同13:1814:1318:135:435:8