Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Olubereberye 11

Omunaala gwa Babiri

1Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.

Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”

Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”

Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.

Abaana n’abazzukulu ba Seemu

10 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu:

Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala[a] Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba. 11 Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

12 Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera, 13 Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

14 Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi, 15 ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.

16 Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi. 17 Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.

18 Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo, 19 bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

20 Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi. 21 N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

22 Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli, 23 bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

24 Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera. 25 Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

26 Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.

Obuzaale bwa Ibulaamu

27 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera:

Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. 28 Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. 29 Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. 30 Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.

31 Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani,[b] ne babeera omwo.

32 Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.

Notas al pie

  1. 11:10 n’azaala kiyinza okutegeeza jjajja
  2. 11:31 Kalani kibuga ekisangibwa mu Mesopotamiya, era ky’ekifo ekikulu awasinzibwa omwezi, ng’ekibuga ky’e Uli bwe kiri.

New International Version - UK

Genesis 11

The tower of Babel

1Now the whole world had one language and a common speech. As people moved eastward,[a] they found a plain in Shinar[b] and settled there.

They said to each other, ‘Come, let’s make bricks and bake them thoroughly.’ They used brick instead of stone, and bitumen for mortar. Then they said, ‘Come, let us build ourselves a city, with a tower that reaches to the heavens, so that we may make a name for ourselves; otherwise we will be scattered over the face of the whole earth.’

But the Lord came down to see the city and the tower the people were building. The Lord said, ‘If as one people speaking the same language they have begun to do this, then nothing they plan to do will be impossible for them. Come, let us go down and confuse their language so they will not understand each other.’

So the Lord scattered them from there over all the earth, and they stopped building the city. That is why it was called Babel[c] – because there the Lord confused the language of the whole world. From there the Lord scattered them over the face of the whole earth.

From Shem to Abram

10 This is the account of Shem’s family line.

Two years after the flood, when Shem was 100 years old, he became the father[d] of Arphaxad. 11 And after he became the father of Arphaxad, Shem lived 500 years and had other sons and daughters.

12 When Arphaxad had lived 35 years, he became the father of Shelah. 13 And after he became the father of Shelah, Arphaxad lived 403 years and had other sons and daughters.[e]

14 When Shelah had lived 30 years, he became the father of Eber. 15 And after he became the father of Eber, Shelah lived 403 years and had other sons and daughters.

16 When Eber had lived 34 years, he became the father of Peleg. 17 And after he became the father of Peleg, Eber lived 430 years and had other sons and daughters.

18 When Peleg had lived 30 years, he became the father of Reu. 19 And after he became the father of Reu, Peleg lived 209 years and had other sons and daughters.

20 When Reu had lived 32 years, he became the father of Serug. 21 And after he became the father of Serug, Reu lived 207 years and had other sons and daughters.

22 When Serug had lived 30 years, he became the father of Nahor. 23 And after he became the father of Nahor, Serug lived 200 years and had other sons and daughters.

24 When Nahor had lived 29 years, he became the father of Terah. 25 And after he became the father of Terah, Nahor lived 119 years and had other sons and daughters.

26 After Terah had lived 70 years, he became the father of Abram, Nahor and Haran.

Abram’s family

27 This is the account of Terah’s family line.

Terah became the father of Abram, Nahor and Haran. And Haran became the father of Lot. 28 While his father Terah was still alive, Haran died in Ur of the Chaldeans, in the land of his birth. 29 Abram and Nahor both married. The name of Abram’s wife was Sarai, and the name of Nahor’s wife was Milkah; she was the daughter of Haran, the father of both Milkah and Iskah. 30 Now Sarai was childless because she was not able to conceive.

31 Terah took his son Abram, his grandson Lot son of Haran, and his daughter-in-law Sarai, the wife of his son Abram, and together they set out from Ur of the Chaldeans to go to Canaan. But when they came to Harran, they settled there.

32 Terah lived 205 years, and he died in Harran.

Notas al pie

  1. Genesis 11:2 Or from the east; or in the east
  2. Genesis 11:2 That is, Babylonia
  3. Genesis 11:9 That is, Babylon; Babel sounds like the Hebrew for confused.
  4. Genesis 11:10 Father may mean ancestor; also in verses 11-25.
  5. Genesis 11:13 Hebrew; Septuagint (see also Luke 3:35, 36 and note at Gen. 10:24) 35 years, he became the father of Cainan. 13 And after he became the father of Cainan, Arphaxad lived 430 years and had other sons and daughters, and then he died. When Cainan had lived 130 years, he became the father of Shelah. And after he became the father of Shelah, Cainan lived 330 years and had other sons and daughters