Olubereberye 10 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 10:1-32

Bazzukulu ba Nuuwa

110:1 Lub 2:4Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.

Bazzukulu ba Kuusi

210:2 a Ez 38:6 b Ez 38:2; Kub 20:8 c Is 66:19Batabani ba Yafeesi:

Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.

310:3 a Yer 51:27 b Ez 27:14; 38:6Batabani ba Gomeri be bano:

Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.

410:4 Ez 27:12, 25; Yon 1:3Batabani ba Yivani baali:

Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. 5(Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)

Bazzukulu ba Kaamu

610:6 nny 15; Lub 9:18Batabani ba Kaamu be bano:

Kuusi, ne Misiri, ne Puuti,10:6 Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya ne Kanani.

7Batabani ba Kuusi be bano:

Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka.

Batabani ba Laama baali:

Seeba ne Dedani.

8Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi. 9Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.” 1010:10 a Lub 11:9 b Lub 11:2Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.10:10 Sinali y’ensi ya Babulooni ey’edda. 1110:11 a Zab 83:8; Mi 5:6 b Yon 1:2; 4:11; Nak 1:1Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne 12Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.

13Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa

Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 1410:14 Lub 21:32, 34; 26:1, 8ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.

1510:15 a nny 6; Lub 9:18 b Ez 28:21 c Lub 23:3, 20Kanani ye yazaala

Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi, 1610:16 1By 11:4n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi, 17n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini, 1810:18 Lub 12:6; Kuv 13:11n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna. 1910:19 a Lub 11:31; 13:12; 17:8 b nny 15Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Adima, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.

20Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

Bazzukulu ba Seemu

2110:21 nny 24; Kbl 24:24Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.

2210:22 a Yer 49:34 b Luk 3:36Abaana ba Seemu be bano:

Eramu, ne Asuli,10:22 Asuli ly’erinnya ery’edda erya Busuuli. ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.

2310:23 Yob 1:1Batabani ba Alamu:

Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.

2410:24 nny 21Alupakusaadi ye kitaawe wa10:24 yali kitaawe wa Kayinaani, ne Kayinaani nga ye kitaawe wa Seera.

Seera ye kitaawe wa Eberi.

25Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,

kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.

26Yokutaani ye yali kitaawe wa

Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera, 27ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula, 28ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba, 29ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.

30Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.

31Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

3210:32 a nny 1 b Lub 9:19Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.