Okuva 9 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 9:1-35

Nsotoka mu Magana ag’Abamisiri

19:1 Kuv 8:1Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze. 2Singa ogaana okubakkiriza okugenda, n’oyongera okubakuumira wano, 39:3 Kuv 7:4Mukama ajja kusindika nsotoka omukambwe ennyo mu magana go agali mu malundiro, ne mu mbalaasi ne mu ndogoyi, ne mu ŋŋamira, ne mu zisseddume z’ente ne mu ndiga. 49:4 nny 26; Kuv 8:22Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri n’aga Misiri, waleme kubaawo nsolo n’emu efa mu magana ag’abaana ba Isirayiri.’ ”

5Mukama n’alonda ekiseera, n’agamba nti, “Enkya Mukama w’anaakolera ekintu kino mu nsi eno.” 69:6 a nny 19-21; Kuv 11:5 b Zab 78:48-50Era enkeera Mukama n’akola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo n’emu ku magana ag’abaana ba Isirayiri eyafa. 79:7 Kuv 7:14; 8:32Falaawo n’atuma abantu okwetegereza, ne basanga nga tewali wadde ensolo n’emu ey’abaana ba Isirayiri eyali efudde. Naye era omutima gwa Falaawo ne gusigala nga gukyakakanyadde, Abayisirayiri n’atabakkiriza kugenda.

Amayute n’Amabwa mu Bamisiri

8Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Muyoole mu kyokero embatu z’omunyale, Musa agumanse waggulu mu bbanga nga ne Falaawo alaba. 99:9 Ma 28:27, 35; Kub 16:2Gujja kufuuka nfuufu mu nsi yonna ey’e Misiri, guleete amayute ku bantu ne ku nsolo aganaatulikamu amabwa mu nsi yonna ey’e Misiri.”

10Bwe batyo ne bayoola omunyale mu kyokero, ne bagenda bayimirira mu maaso ga Falaawo. Musa n’amansa evvu waggulu mu bbanga, ne lifuuka amayute, ne gatulikamu amabwa ku bantu ne ku nsolo. 119:11 Kuv 8:18Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olw’amayute;9:11 Ebirwadde n’ebibonoobono ebyasooka byali bituuse ku bintu ebisinzibwa, kyokka ekirwadde kino kyali kituuse ku balogo, baleme kuddayo nate kutawanya Musa. kubanga amayute gaakwata abalogo n’Abamisiri bonna. 129:12 Kuv 4:21Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atawuliriza Musa ne Alooni, era nga Mukama bwe yagamba Musa.

Amayinja g’Omuzira Gagwa mu Bamisiri

139:13 Kuv 8:20Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ozuukuka mu makya nnyo, n’ogenda oyolekera Falaawo, n’omugamba nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agamba bw’ati nti, ‘Leka abantu bange bagende, bampeereze. 149:14 a Kuv 8:10 b 2Sa 7:22; 1By 17:20; Zab 86:8; Is 46:9; Yer 10:6Kubanga ku mulundi guno nzija kukusindikira kawumpuli ku ggwe kennyini, ne ku baweereza bo, ne ku bakungu bo, olyoke otegeere nga tewali ali nga nze mu nsi yonna. 159:15 Kuv 3:20Kubanga nandiyinzizza okugolola omukono gwange ne nkusindikira olumbe, ggwe n’abantu bo, ne lubamalawo ku nsi. 169:16 a Nge 16:4 b Bar 9:17*Naye olw’ensonga eno kyennava nkuleka n’obeera mulamu, ndyoke njolese amaanyi gange, era n’erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi yonna. 17Kyokka okyekulumbaliza ku bantu bange n’otobakkiriza kugenda, 189:18 a nny 23 b nny 24noolwekyo, enkya obudde nga bwe buti, nzija kusindika kibuyaga ow’omuzira ogw’amayinja ogutagwangako mu Misiri kasookedde ensi eyo ebaawo. 19Kale, lagira bayingize amagana go ag’ente, n’ebisolo byonna ebiri mu ddundiro, kubanga omuzira gujja kukuba buli muntu ali ebweru era ajja kufa; ne buli nsolo yonna eneebeera ebweru mu ddundiro gujja kugikuba efe.’ ”

209:20 Nge 13:13Abakungu ba Falaawo abaali batya ekigambo kya Mukama, ne banguwa ne bayingiza abaddu baabwe n’amagana gaabwe. 21Naye abo abatassaayo mwoyo ku kigambo kya Mukama ne baleka abaddu baabwe n’amagana gaabwe ebweru.

22Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey’e Misiri: gukube abantu, n’ensolo, ne buli kimera kyonna ekiri mu nnimiro mu Misiri.” 239:23 a Zab 18:13 b Yos 10:11; Zab 78:47; 105:32; Is 30:30; Ez 38:22; Kub 8:7; 16:21Musa n’ayolekeza omuggo gwe eri eggulu; Mukama n’asindika okubwatuka n’omuzira; laddu ne yakira ku ttaka. Bw’atyo Mukama n’atonnyesa omuzira ku nsi y’e Misiri. 24Omuzira ne gugwa, n’okumyansa ne kwetabika n’omuzira awatali kusalako, ne guba mungi nnyo, nga tegugwangako bwe gutyo kasookedde ensi ya Misiri efuuka ggwanga. 259:25 Zab 105:32-33Omuzira gwakuba buli kintu kyonna ekyali ebweru mu nnimiro mu nsi yonna ey’e Misiri: abantu n’ensolo; era omuzira ne gukuba buli kimera kyonna mu nnimiro, ne gusensebula emiti gyonna ku ttale. 269:26 a nny 4 b Kuv 8:22; 10:23; 11:7; 12:13Ekitundu kyokka ekitaatuukwamu muzira, kye kya Goseni, abaana ba Isirayiri gye baabeeranga.

279:27 a Kuv 10:16 b 2By 12:6; Zab 129:4; Kgb 1:18Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Leero luno nnyonoonye; Mukama ye mutuufu, naye nze n’abantu bange ffe bakyamu. 289:28 a Kuv 10:17 b Kuv 8:8Weegayirire Mukama; kubanga omuzira n’okubwatuka bitwetamizza. Nzija kubaleka mugende; siraba kyemuva mweyongera kubeera wano.”

299:29 a 1Bk 8:22, 38; Zab 143:6; Is 1:15 b Kuv 19:5; Zab 24:1; 1Ko 10:26Musa n’addamu nti, “Olunaafuluma mu kibuga, nnaagolola emikono gyange waggulu eri Mukama ne mmusaba. Okubwatuka kunaasirika, n’omuzira gunaalekera awo okugwa; olyoke otegeere ng’ensi eno Mukama ye nannyini yo. 30Kyokka mmanyi nga ggwe n’abakungu bo temunnatya Mukama Katonda.”

319:31 Lus 1:22; 2:23(Obugoogwa ne sayiri byakubwa ne bizikirizibwa, kubanga sayiri yali ayengera nga n’obugoogwa bumulisizza. 32Naye eŋŋaano n’omukyere, byo tebyayonoonebwa kubanga byali tebinnayengera.)

33Musa n’ava mu kibuga ewa Falaawo, n’awanika emikono gye eri Mukama ng’amusaba; okubwatuka n’omuzira ne bisirika, era n’enkuba n’ekya. 34Naye Falaawo bwe yalaba enkuba, n’omuzira, n’okubwatuka nga birekeddaawo, ate ne yeeyongera okusobya; ye n’abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe. 359:35 Kuv 4:21Omutima gwa Falaawo bwe gutyo ne gukakanyala; n’ataleka baana ba Isirayiri kugenda, era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 9:1-35

瘟疫之灾

1耶和华对摩西说:“你再进宫见法老,告诉他,‘希伯来人的上帝耶和华说,让我的子民去事奉我。 2如果你不让他们走,继续扣留他们, 3我就会使你田间所有的牲畜,包括马、驴、骆驼和牛羊,都染上严重的瘟疫。 4但我要把埃及以色列的牲畜分开,以色列人的牲畜必丝毫无损。’” 5耶和华定了日期,说:“明天耶和华必在此地行这事。” 6第二天,耶和华就这样行了,埃及的牲畜都死了,但以色列人的牲畜一头也没死。 7法老派人去探查,发现以色列人的牲畜真的安然无恙。可是,他仍然顽固,不肯让以色列人离开。

脓疮之灾

8耶和华对摩西亚伦说:“你们去取几把窑里的灰,摩西要在法老面前把灰抛向空中。 9这灰要变成尘土,散布在埃及每一个角落,落在人或牲畜身上,就会起疱长疮。” 10摩西亚伦便取了一些窑里的灰,站在法老面前,摩西把灰抛向空中,埃及人和牲畜身上就开始起疱长疮。 11埃及的巫师无法与摩西对抗,因为他们及所有埃及人身上都长了脓疮。 12耶和华使法老的心刚硬,他就不听他们的话,正如耶和华对摩西说的。

冰雹之灾

13耶和华对摩西说:“明天一早你再去见法老,对他说,‘希伯来人的上帝耶和华这样说,你要让我的子民出去事奉我。 14这一次,我要降下大灾祸在你及你的臣仆和百姓身上,好叫你知道普天之下我独一无二。 15我若用瘟疫攻击你和你的百姓,你们早就灭亡了。 16我让你活到现在,是为了向你彰显我的权能,使我的名传遍天下。 17但你竟然在我的子民面前狂傲自大,不让他们离开。 18明天这个时候,我要使天上降下大冰雹,是你们埃及立国以来从没有见过的。 19现在,你要叫人赶快到田间把牲畜和属于你的一切都带到安全的地方。凡留在田间的人或牲畜都会被冰雹打死。’” 20有些法老的臣仆听了耶和华的话就很害怕,赶忙把在田间的仆人和牲畜都召回屋里。 21但那些不把耶和华的话放在心上的,仍把他们的奴仆和牲畜留在田间。 22耶和华对摩西说:“你向天伸杖,天就会降下冰雹,落在埃及的一切人畜身上,摧毁田间的一切农作物。” 23摩西向天伸出手杖,耶和华就发出雷电和冰雹,火光飞向大地。耶和华在埃及降下冰雹。 24那时冰雹夹杂着火降下来,极为严重,在埃及史无前例。 25冰雹摧毁了埃及境内田间的一切,包括人和牲畜,摧毁了田里的一切作物,打断了所有的树木, 26只有以色列人所住的歌珊没有冰雹。 27法老派人召来摩西亚伦,对他们说:“这次我犯罪了,耶和华是对的,我和我的百姓错了。 28请你们向耶和华祷告,好止住雷电和冰雹。我准许以色列人出去,你们不必再留在这里了。” 29摩西回答说:“我一出城,就向耶和华举手祷告,雷电和冰雹必立刻停止,这样你就知道普天下都属于耶和华。 30但我知道你和你的臣仆还是不敬畏上帝耶和华。”

31这场冰雹发生在大麦吐穗和亚麻开花的时候。 32小麦和粗麦较晚成熟,没有被冰雹打坏。 33摩西离开法老,走出城外向耶和华举手祷告,雷和冰雹便停止了,豪雨也不下了。 34法老看见灾祸停止,就又犯罪,他和他的臣仆都心里顽固。 35法老硬着心,不让以色列人离开,正如耶和华借摩西所言。