Okuva 8 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 8:1-32

Ebikere Bibuna mu Bamisiri

18:1 Kuv 3:12, 18; 4:23Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze. 2Naye bw’onoogaana n’otabakkiriza kugenda, laba, nnaasindika ebikere ne bijjula ensi yo yonna. 38:3 Kuv 10:6Omugga gulivaamu ebikere enkumu ennyo ebirituuka ne mu lubiri lwo. Biriyingira mu kisenge kyo mw’osula, ne ku kitanda kyo. Biriyingira mu nnyumba z’abaweereza bo ne mu z’abantu bo. Biriyingira ne mu byoto omufumbirwa. 4Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.” ’ ”

58:5 Kuv 7:19Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, n’eri emikutu gy’amazzi, n’eri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna ey’e Misiri.’ ” 68:6 Zab 78:45; 105:30Bw’atyo Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi gonna ag’omu Misiri; ebikere ne bivaayo ne bijjula ensi yonna ey’e Misiri. 78:7 Kuv 7:11Abalogo nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama, nabo ne baleeta ebikere mu nsi ey’e Misiri.

88:8 a nny 28; Kuv 9:28; 10:17 b Kuv 9:25Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Mwegayirire Mukama anziggyeeko ebikere bino era ne ku bantu bange, ndyoke nange ndeke abantu bammwe bagende baweeyo ssaddaaka eri Mukama.” 9Musa n’addamu Falaawo nti, “Weerondere ekiseera nga bw’osiima, w’oyagalira neegayirire Mukama ku lulwo ne ku lw’abaweereza bo, ne ku lw’abantu bo, ebikere ebikuliko n’ebiri mu nnyumba zo bizikirizibwe, bisigale mu mugga Kiyira mwokka.”

108:10 Kuv 9:14; Ma 4:35; 33:26; 2Sa 7:22; 1By 17:20; Zab 86:8; Is 46:9; Yer 10:6Falaawo n’agamba nti, “Enkya.” Musa n’agamba nti, “Kijja kubeera nga bw’ogambye, olyoke otegeere nga bwe watali n’omu afaanana nga Mukama Katonda waffe. 11Ebikere bijja kukuviira, bive ne mu mayumba go, biviire n’abaweereza bo n’abantu bo; bijja kusigala mu mugga mwokka.”

12Awo Musa ne Alooni ne bava ewa Falaawo. Musa ne yeegayirira Mukama olw’ebikere Mukama bye yali aleetedde Falaawo. 13Mukama n’akolera Musa kye yamusaba. Ebikere ne bifiira mu mayumba, ne mu mpya mu byalo, ne mu nnimiro. 14Ne bikuŋŋaanyizibwa entuumo n’entuumo; ensi n’ejjula ekivundu. 158:15 Kuv 7:14Naye Falaawo bwe yalaba nga waliwo wassiza ku mukka, n’akakanyaza omutima gwe, ebya Musa ne Alooni n’alekera awo okubiwuliriza, era nga Mukama bwe yali agambye.

Ensekere Zibuna mu Bamisiri

16Awo Mukama n’ayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bw’oti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.’ ” 178:17 Zab 105:31Ne bakola nga Mukama bw’abagambye; Alooni n’agolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, n’akuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi y’e Misiri n’efuuka nsekere. 188:18 a Kuv 9:11; Dan 5:8 b Kuv 7:11Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe ag’ekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo.

198:19 Kuv 7:5; 10:7; Zab 8:3; Luk 11:20Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino y’ebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n’atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.

Ensowera Zibuna mu Bamisiri

208:20 a Kuv 7:15; 9:13 b nny 1; Kuv 3:18Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ng’aserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze. 21Naye abantu bange bw’otoobakkirize kugenda, laba, ndireeta ebikuukuulu by’ensowera, ku ggwe ne ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zammwe. Ensowera zirijjula mu mayumba ga Bamisiri ne ku ttaka kwe gaazimbibwa.

228:22 a Kuv 9:4, 6, 26; 10:23; 11:7 b Kuv 7:5; 9:29“ ‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera n’akatono, olyoke otegeere nga nze, Mukama, ndi wano wakati mu nsi. 23Nzija kussaawo enjawulo wakati w’abantu bange n’abantu bo. Ekyamagero kino kijja kubaawo enkeera.’ ”

248:24 Zab 78:45; 105:31Mukama n’akola bw’atyo. Ebikuukuulu by’ensowera ne byeyiwa mu lubiri lwa Falaawo, mu nnyumba ye, ne mu mayumba g’abaweereza be, ne mu nsi yonna ey’e Misiri: ensi n’eyonooneka olw’ebikuukuulu by’ensowera.

258:25 nny 8; Kuv 9:27Awo Falaawo n’atumira Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Kale, muweereeyo wano mu nsi eno ssaddaaka eri Katonda wammwe.” 268:26 Lub 43:32; 46:34Naye Musa n’addamu nti, “Ekyo bwe tukikola, tekijja kuba kituufu. Kubanga ssaddaaka ze tuwaayo eri Mukama Katonda waffe, Abamisiri tebajja kuzaagala. Kale singa tuddira ssaddaaka Abamisiri ze bakyawa ennyo bwe batyo, ne tuziwaayo nga balaba, tebajja kutukuba amayinja? 278:27 Kuv 3:18Kitugwanira tutambule olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe nga bw’anaatulagira.”

288:28 nny 8; Kuv 9:28; 1Bk 13:6Falaawo n’agamba nti, “Nzija kubaleka mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, kyokka temugenda ewala ennyo. Kale munsabire.” 298:29 nny 15Musa n’addamu nti, “Bwe nnaaba nakava wano w’oli nzija kusaba Mukama, enkya ensowera ziviire Falaawo n’abakungu be awamu n’abantu be. Naye kirungi Falaawo aleme nate kulimbalimba, n’atakkiriza bantu kugenda kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”

308:30 nny 12Musa n’avaayo ewa Falaawo, n’asaba Mukama. 31Mukama n’akola nga Musa bwe yamusaba, n’aggyawo ebikuukuulu by’ensowera ewa Falaawo ne mu baweereza be, ne mu bantu be; ne watasigala nsowera n’emu. 328:32 nny 8, 15; Kuv 4:21Kyokka ne ku mulundi guno, Falaawo yakakanyaza omutima gwe, abantu n’atabakkiriza kugenda.