Okuva 34 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 34:1-35

Ebipande eby’Amayinja Ebyokubiri

134:1 a Ma 10:2, 4 b Kuv 32:19Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Teekateeka ebipande bibiri eby’amayinja nga biri ebyasooka, nange nnaabiwandiikako ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka bye wamenya. 234:2 Kuv 19:11Weetegeke mu makya, ojje mu makya ago olinnye waggulu ku lusozi Sinaayi, olyoke onneeyanjulire eyo ku ntikko y’olusozi. 334:3 Kuv 19:12-13, 21Tewasaana kubaawo muntu ajja naawe, era ku lusozi wonna wonna tewasaana kulabikawo muntu n’omu; era n’amagana n’ebisibo by’endiga tebisaana kuliira mu maaso ga lusozi.”

4Bw’atyo Musa n’atema mu mayinja ebipande bibiri nga bifaanana nga biri ebyasooka; n’akeera mu makya n’alinnya ku lusozi Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira, ng’asitudde n’ebipande eby’amayinja byombi mu mikono gye. 534:5 Kuv 33:19Awo Mukama n’akkira mu kire, n’ayimirira awo ne Musa, n’alangirira erinnya lye, MUKAMA. 634:6 a Zab 86:15 b Kbl 14:18; Bar 2:4 c Nek 9:17; Zab 103:8; Yo 2:13 d Zab 108:4Mukama n’ayita mu maaso ga Musa n’agamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa n’okusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa n’okwagala okutaggwaawo. 734:7 a Kuv 20:6 b Zab 103:3; 130:4, 8; Dan 9:9; 1Yk 1:9 c Yob 10:14; Nak 1:3Akuuma okwagala eri enkumi n’enkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana n’abazzukulu olw’ebisobyo bya bakadde baabwe n’ebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.”

8Amangwago Musa n’avuunama wansi, n’asinza. 934:9 a Kuv 33:15 b Zab 33:12N’agamba nti, “Obanga kaakano nkusanyusizza, Ayi Mukama, jjangu, Mukama, ogende naffe. Newaakubadde ng’abantu bano balina ensingo nkakanyavu, naye tusonyiwe ebyonoono byaffe n’ebibi byaffe, otukkirize tubeere abantu bo ab’obusika bwo.”

1034:10 a Ma 5:2-3 b Kuv 33:16; Ma 4:32Awo Mukama n’addamu nti, “Laba, nkola naawe endagaano. Nzija kukolera mu bantu bo ebyamagero ebitakolwangako mu nsi yonna, wadde mu ggwanga lyonna. Abantu bonna b’oli nabo banaalaba eby’ekitalo Mukama by’anaakolera mu ggwe.

Okulabula ku Kusinza Ebifaananyi

1134:11 Kuv 33:2“Gondera bye nkulagira leero. Nange, gye mulaga, nzija kugobayo Abamoli, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi. 1234:12 Kuv 23:32-33Kirungi weekuume oleme kukola ndagaano n’abatuuze ab’omu nsi gy’olagamu, kubanga bayinza okubafuukira omutego. 1334:13 Kuv 23:24; Ma 12:3; 2Bk 18:4Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, n’otemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza. 1434:14 a Kuv 20:3 b Kuv 20:5; Ma 4:24Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze Mukama, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya.

1534:15 a Bal 2:17 b Kbl 25:2; 1Ko 8:4“Temukolanga ndagaano ey’okukolagana n’abatuuze b’omu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo n’abayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo. 1634:16 a Ma 7:3 b 1Bk 11:4Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo.

1734:17 Kuv 32:8“Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse.

Amateeka ku Mbaga Ennonde

1834:18 a Kuv 12:17 b Kuv 12:15 c Kuv 12:2“Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse ogikwatanga. Munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitali mizimbulukuse, mu kiseera ekyategekebwa mu mwezi gwa Abibu nga bwe nabalagira; kubanga mu mwezi gwa Abibu mwe mwaviira mu Misiri.

1934:19 Kuv 13:2“Ebiggulanda byonna byange, n’ennume zonna mu magana go embereberye, oba nte oba ndiga. 2034:20 a Kuv 13:13, 15 b Kuv 23:15; Ma 16:16Endogoyi embereberye onoozinunulanga n’endiga, naye nga toginunudde ogimenyanga ensingo n’ogitta. Abaana bo abaggulanda bonna obanunulanga. Era tewabanga ajja gye ndi engalo ensa.

2134:21 Kuv 20:9; Luk 13:14“Onookolanga okumala ennaku mukaaga, naye ku lunaku olw’omusanvu n’owummula; ne mu biseera eby’okukabala n’ebyokukungula onoowummulanga.

2234:22 Kuv 23:16“Onookwatanga Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Amakungula g’Ebibala Ebibereberye eby’Eŋŋaano, n’Embaga ey’Okuyingiza Amakungula ku nkomerero y’omwaka. 2334:23 Kuv 23:14Abasajja bonna mu mmwe banaalabikanga awali Mukama Katonda, Katonda wa Isirayiri, emirundi esatu mu buli mwaka. 2434:24 Kuv 23:28; 33:2; Zab 78:55Amawanga ŋŋenda kugagobawo wonna we muli, era ndigaziya n’ensalo zammwe. So tewalibaawo ayagala kutwala nsi yammwe nga mwambuse okulabika awali Mukama Katonda wammwe emirundi egyo esatu mu mwaka.

2534:25 a Kuv 23:18 b Kuv 12:8, 10“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; era ennyama ya ssaddaaka ey’Embaga y’Okuyitako tesigalangawo kutuusa nkeera.

2634:26 Kuv 23:19“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.

“Omwana gw’embuzi togufumbiranga mu mata ga nnyina waagwo.”

2734:27 Kuv 17:14; 24:4Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Wandiika ebigambo ebyo; kubanga nkoze endagaano naawe era ne Isirayiri ng’ebigambo ebyo bwe bigamba.” 2834:28 a Lub 7:4; Kuv 24:18; Mat 4:2 b nny 1; Kuv 31:18 c Ma 4:13; 10:4Musa n’abeera eyo ne Mukama, n’amalayo emisana amakumi ana n’ebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. N’awandiika ku bipande ebigambo eby’Endagaano, ge Mateeka Ekkumi.

Amaaso ga Musa Agamasamasa

2934:29 a Kuv 32:15 b Zab 34:5; Mat 17:2; 2Ko 3:7, 13Musa bwe yaserengeta okuva ku lusozi Sinaayi ng’akutte mu ngalo ze ebipande byombi eby’Endagaano, teyakimanya ng’obwenyi bwe bwali bumasamasa kubanga yali ayogedde ne Mukama. 30Era Alooni n’abaana ba Isirayiri bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ng’obwenyi bwe bumasamasa; ne batya okumusemberera. 31Naye Musa n’abayita; bw’atyo Alooni n’abakulembeze b’abantu ne bajja gy’ali, Musa n’ayogera nabo. 3234:32 Kuv 24:3Oluvannyuma abaana ba Isirayiri bonna ne basembera, n’abategeeza amateeka gonna Mukama ge yamulagira ku lusozi Sinaayi.

3334:33 2Ko 3:13Awo Musa bwe yamala okwogera nabo, n’abikka obwenyi bwe olugoye. 34Naye Musa bwe yabanga agenda awali Mukama okwogera naye, ng’olugoye olubikka obwenyi bwe alwebikkula okutuusa lwe yavangayo. Bwe yakomangawo okutegeeza abaana ba Isirayiri Mukama by’amulagidde, 35baalabanga obwenyi bwe nga bumasamasa. Bw’atyo Musa ne yezzaako olugoye olubikka obwenyi bwe, okutuusa lwe yaddangayo eri Mukama okwogera naye.