Okuva 33 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Okuva 33:1-23

Okuzza Obuggya Endagaano

133:1 Lub 12:7Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Vva mu kifo kino ogende, ggwe n’abantu be waggya mu nsi y’e Misiri, olage mu nsi gye nalayirira Ibulayimu ne Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa bazzukulu bammwe.’ 233:2 a Kuv 32:34 b Kuv 23:27-31; Yos 24:11Ndiweereza malayika abakulemberenga; era ndigobamu Abakanani, n’Abamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi. 333:3 a Kuv 3:8 b Kuv 32:9 c Kuv 32:10Yambuka mu nsi ekulukutiramu amata n’omubisi gw’enjuki. Naye sijja kugenda nammwe; sirwa kubazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ab’ensingo enkakanyavu.”

433:4 Kbl 14:39Abantu bwe baawulira amawulire ago ag’ennaku, ne bakungubaga ne watabaawo ayambala eby’omu matu wadde eby’oku mikono ebyokwewoomya. 5Kubanga Mukama yali alagidde Musa nti, “Gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Mulina omutima omukakanyavu, era singa ntambula nammwe okumala akaseera wadde katono katya, nzija kubazikiriza. Kale kaakano mweyambulemu ebyokwewoomya byammwe, ndyoke ndabe kye nnaakola.’ ” 6Bwe batyo abaana ba Isirayiri ne beeyambulamu eby’obugagga byabwe nga bali ku lusozi Kolebu.

733:7 Kuv 29:42-43Kale, Musa yaddiranga eweema n’agisimba ebweru w’olusiisira, ewala ddala n’olusiisira; n’agiyita Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ne buli eyeetaaganga Mukama, ng’agenda awali Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, eyali ebweru w’olusiisira. 833:8 Kbl 16:27Era buli Musa lwe yafulumanga n’alaga eri Eweema, abantu bonna nga bayimirira mu miryango gy’eweema zaabwe ne batunuulira Musa okutuusa lwe yayingiranga mu Weema. 933:9 a Kuv 13:21 b Kuv 31:18; Zab 99:7Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey’ekire n’ekka n’eyimirira mu mulyango gw’Eweema; Mukama n’alyoka ayogera ne Musa. 10Abantu bwe baalabanga ng’empagi ey’ekire eyimiridde mu mulyango gw’Eweema, bonna ne basituka ne basinza, buli omu mu mulyango gw’eweema ye. 1133:11 Kbl 12:8; Ma 34:10Bw’atyo Mukama bwe yayogeranga ne Musa nga batunulaganye, ng’omuntu bw’ayogera ne mukwano gwe. Musa bwe yaddangayo mu lusiisira, omuweereza we, omuvubuka Yoswa mutabani wa Nuuni, ye n’asigalayo mu Weema.

Musa Atunuulira Ekitiibwa kya Mukama

1233:12 a Kuv 3:10 b nny 17; Yk 10:14-15; 2Ti 2:19Musa n’agamba Mukama nti, “Obadde ontegeeza nti, ‘Kulembera abantu bano,’ naye omuntu gw’onontuma naye tomuntegeezezza. Ogambye nti, ‘Nkumanyi awamu n’erinnya lyo, era onsanyusizza.’ 1333:13 a Zab 25:4; 86:11; 119:33 b Kuv 34:9; Ma 9:26, 29Obanga nkusanyusizza, njigiriza amakubo go ndyoke nkumanye era nneeyongeranga okukusanyusa. Jjukira nti eggwanga lino be bantu bo.”

1433:14 a Is 63:9 b Yos 21:44; 22:4Mukama n’addamu nti, “Nnaagendanga naawe, era nnaakuwummuzanga.”

15Musa n’amugamba nti, “Obanga toogende naffe, totuggya wano. 1633:16 a Kbl 14:14 b Kuv 34:10Kale abantu balitegeerera ku ki nga Nkusanyusizza, nze n’abantu bo? Si lwa kubanga onooba ogenze naffe, ne tuba ba njawulo, nze n’abantu bo, nga twawukana ku bantu bonna ab’oku nsi?”

17Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kukola ekyo kyennyini ky’osabye; onsanyusizza, era nkumanyi awamu n’erinnya lyo.”

18Musa n’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndaga ekitiibwa kyo.”

1933:19 Bar 9:15*Mukama n’agamba nti, “Nzija kuggyayo obulungi bwange bwonna nga mbuyisa mu maaso go. Era nzija kukutegeeza erinnya lyange, Mukama. Buli gwe nnaayagalanga okukwatirwa ekisa, nnaamukwatirwanga ekisa, ne buli gwe nnaayagalanga okusaasira nnaamusaasiranga.” 2033:20 Lub 32:30; Is 6:5Era n’agamba nti, “Naye toyinza kulaba maaso gange, kubanga tewali muntu antunulako n’aba mulamu.”

21Mukama n’agamba nti, “Waliwo wano okumpi nange ekifo ku lwazi kw’onooyimirira. 2233:22 Zab 91:4Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nnaakuteeka mu mpataanya mu lwazi, ne nkubikkako omukono gwange okutuusa lwe nnaamala okuyitawo. 23Oluvannyuma omukono gwange nnaaguggyawo, n’olaba amabega gange; naye tojja kulaba ku maaso gange.”

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Исход 33:1-23

1Вечный сказал Мусе:

– Покинь это место, ты и народ, который ты вывел из Египта, и иди в землю, которую Я клялся дать Ибрахиму, Исхаку и Якубу, сказав: «Я дам её твоим потомкам». 2Я пошлю перед тобой Ангела и прогоню хананеев, аморреев, хеттов, перизеев, хивеев и иевусеев. 3Идите в землю, где течёт молоко и мёд. Но Я не пойду с вами, чтобы не погубить вас в дороге, потому что вы – упрямый народ.

4Услышав эти грозные слова, народ зарыдал, и никто не надевал украшений. 5Ведь Вечный сказал Мусе:

– Скажи исраильтянам: «Вы – упрямый народ. Даже если бы Я прошёл с вами хоть немного, Я погубил бы вас. Снимите же украшения, а Я решу, что делать с вами».

6И у горы Синай33:6 Букв.: «у горы Хорив». Хорив – другое название горы Синай. исраильтяне сняли свои украшения.

Шатёр встречи

7Муса поставил шатёр за лагерем, поодаль, и называл его «шатёр встречи». Всякий, кто хотел спросить Вечного, шёл к шатру встречи за лагерь. 8Всякий раз, когда Муса шёл к шатру, народ поднимался и, стоя у входа в свои шатры, смотрел на Мусу, пока тот не входил в шатёр. 9Когда Муса входил в шатёр, облачный столб опускался и стоял у входа, пока Вечный говорил с Мусой. 10Когда народ видел у входа в шатёр облачный столб, они вставали и кланялись у входа в свои шатры. 11Вечный говорил с Мусой лицом к лицу, как человек говорит со своим другом. Потом Муса возвращался в лагерь, но его молодой помощник Иешуа, сын Нуна, не покидал шатра.

Муса и слава Вечного

12Муса сказал Вечному:

– Ты велел мне: «Веди этот народ», но не дал знать, кого пошлёшь со мной. Ты сказал: «Я знаю тебя по имени. Ты нашёл у Меня милость». 13Если так, то научи меня Твоим путям, чтобы мне познавать Тебя и находить у Тебя милость и впредь. Вспомни: эти люди – Твой народ.

14Вечный ответил:

– Я Сам пойду с тобой и дам тебе покой.

15Тогда Муса сказал:

– Если Ты не пойдёшь с нами, то и не выводи нас отсюда. 16Откуда станет известно, что Ты благосклонен ко мне и Своему народу, если Ты не пойдёшь с нами? Что ещё отличит меня и Твой народ от прочих народов на земле?

17Вечный сказал Мусе:

– Я сделаю то, о чём ты просишь, потому что благосклонен к тебе и знаю тебя по имени.

18Тогда Муса сказал:

– Прошу, покажи мне Свою славу.

19Вечный сказал:

– Я покажу всё Своё великолепие и возвещу Своё имя – Вечный. Я проявлю милосердие к тем, к кому Я хочу его проявить, и помилую тех, кого Я хочу помиловать. 20Но лица Моего ты не увидишь, потому что никто не может увидеть Меня и остаться в живых.

21Вечный сказал:

– Вот место рядом со Мной – встань тут на скале. 22Когда будет проходить Моя слава, Я поставлю тебя в расселину скалы и покрою тебя рукой, пока не пройду. 23Когда Я уберу руку, ты увидишь Меня сзади, но Моего лица не будет видно.