Okuva 30 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 30:1-38

Ekyoto ky’Obubaane

130:1 a Kuv 37:25 b Kub 8:3“Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane. 230:2 Kuv 27:2Kya kwenkanankana, sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; era kinaabeera n’obugulumivu bwa sentimita kyenda. Kubeeko amayembe amakole mu muti ogw’ekyoto nga si mayungeko buyunzi. 3Ekyoto okiteekeko zaabu kyonna, waggulu ne mu mbiriizi, ne ku mayembe. Era kikolereko omuge ogwa zaabu okukyetooloola. 4Wansi w’omuge, mu mbiriizi z’ekyoto zombi, kolerawo empeta bbiri eza zaabu, okuyisaamu emisituliro gyakyo nga waliwo gye kitwalibwa. 5Emisituliro ogikole mu muti gwa akasiya, era ogiteekeko zaabu. 630:6 Kuv 25:22; 26:34Ekyoto kitereeze mu maaso g’eggigi awali essanduuko ey’endagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.

730:7 nny 34-35; Kuv 27:21; 1Sa 2:28“Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala. 8Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. 930:9 Lv 10:1Ku kyoto kino tojja kwoterezaako bubaane bulala, wadde ekiweebwayo ekyokebwa, newaakubadde eky’eŋŋaano era tojja kufukako ekiweebwayo eky’ekyokunywa. 1030:10 Lv 16:18-19, 30Alooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”

Ebiweebwayo mu Weema ya Mukama

11Awo Mukama n’agamba Musa nti, 1230:12 a Kuv 38:25; Kbl 1:2, 49; 2Sa 24:1 b Kbl 31:50; Mat 20:28 c 2Sa 24:13“Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu. 1330:13 Kbl 3:47; Mat 17:24Buli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama. 14Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama. 1530:15 Nge 22:2; Bef 6:9Abagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, n’omwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olw’okwetangirira obulamu bwammwe. 1630:16 Kuv 38:25-28Ensimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gy’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olw’okwetangirira obulamu bwammwe.”

Ebbensani Omunaabirwa

17Awo Mukama n’agamba Musa nti, 1830:18 Kuv 38:8; 40:7, 30“Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne ky’etuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati w’ekyoto n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi. 1930:19 a Kuv 40:31-32; Is 52:11 b Zab 26:6Alooni ne batabani be ge banaakozesanga okunaaba engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 20Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye n’omuliro, 2130:21 Kuv 27:21; 28:43banaanaabanga engalo zaabwe n’ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kinaabanga kiragiro eky’olubeerera eri Alooni n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

Amafuta ag’Okusiiga

22Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2330:23 Lub 37:25“Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu; 2430:24 Zab 45:8ne kiro mukaaga eza kasiya, ne lita nnya ez’amafuta g’omuzeeyituuni; ng’ebipimo by’obuzito bw’omu Watukuvu bwe biri. 2530:25 a Kuv 37:29 b Kuv 40:9Bino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako. 2630:26 Kuv 40:9; Lv 8:10; Kbl 7:1Olyoke osiige n’amafuta ago Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano, 27n’emmeeza n’ebibeerako byonna, n’ekikondo ky’ettaala n’ebyakyo byonna, n’ekyoto eky’obubaane, 28n’ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebikozesebwako, n’ebbensani ne kw’etuula. 2930:29 Kuv 29:37Obyawule bifuuke bitukuvu nnyo, era buli ekinaabikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.

3030:30 Kuv 29:7; Lv 8:2, 12, 30“Alooni ne batabani be onoobafukako amafuta, obaawule, balyoke bampeerezenga nga bakabona. 31Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna. 3230:32 nny 25, 37Tegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu. 3330:33 nny 38; Lub 17:14Omuntu yenna anaakolanga amafuta ga kalifuuwa okufaanana ne gano, oba anaafukanga gano ku muntu yenna atali kabona, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.’ ”

Ebyakaloosa

34Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito, 3530:35 nny 25Okolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu. 3630:36 nny 32; Kuv 29:37; Lv 2:3Onoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli. 3730:37 nny 32Temwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama. 3830:38 nny 33Omuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olw’akaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 30:1-38

造香坛的条例

1“你要用皂荚木造一座烧香用的坛。 2坛是四方形的,长宽各四十五厘米,高九十厘米,上面有突出的角状物,与坛连成一体。 3坛顶、坛的四面和坛上的角状物要包上纯金,四周镶上金边。 4要在坛两侧的金边下面安两个金环,使横杠穿过金环,以便抬香坛。 5要用皂荚木造横杠,包上金。 6要把香坛放在约柜前幔子的外面,对着约柜上的施恩座——就是我要跟你会面的地方。

7亚伦每天早上料理灯台的时候,要在这坛上烧芬芳的香。 8黄昏点灯的时候,他也要在耶和华面前烧香,世世代代都要如此。 9不可在这香坛上烧别的香料,不可用这坛来献燔祭或素祭,也不可在上面浇奠祭。 10亚伦每年要在坛的角上行一次赎罪礼,用赎罪祭牲的血涂在坛角上,世代如此。这是耶和华至圣的坛。”

人丁的赎价

11耶和华对摩西说: 12“你统计以色列人口的时候,每一个被统计的男子都要缴付赎价给耶和华,赎回自己的性命,免得在统计人口期间发生灾祸。 13凡被统计的人都要付六克银子,即十季拉,以圣所的秤为准,作为献给耶和华的礼物。 14凡被统计的,年龄在二十岁以上的男子都要献此礼物给耶和华。 15富有的不用多缴,贫穷的也不可少付,每个人都要付六克银子,作为献给耶和华的礼物,用来赎他们自己的性命。 16要向以色列人收赎命的款项,供会幕使用,可以使以色列人在耶和华面前蒙眷顾,赎性命。”

洗濯盆

17耶和华对摩西说: 18“你用铜造一个洗濯盆和盆座,放在会幕和祭坛之间,盆里盛着水, 19亚伦父子们洗手洗脚, 20他们进会幕或在坛上献火祭之前,一定要自洁才可以供职,免得死亡。 21他们要洗手洗脚,免得死亡,这是亚伦和他的子孙世世代代都要守的条例。”

22耶和华对摩西说: 23“要以圣所的秤为准,用上等的香料,就是没药液六公斤、香肉桂和菖蒲各三公斤、 24肉桂皮六公斤,再加上橄榄油四升, 25按着调制香料的方法制作圣膏油。 26要用这些膏油来抹会幕、约柜、 27桌子和桌上所有的器具、灯台和灯台上的器具、香坛、 28燔祭坛和坛上所有的器具、洗濯盆和盆座。 29你要使这一切圣洁,成为至圣之物。凡碰到它们的都会圣洁。

30“你也要用这种油来膏亚伦父子们,使他们分别出来,做圣洁的祭司事奉我。 31你要把我的话告诉以色列百姓,‘我要世世代代以这油为圣膏油。 32不要把这膏油用在普通人身上,也不可仿制,因为这是圣膏油,你们也要视之为圣物。 33任何人若仿制或用这油抹祭司以外的人,要将他从民中铲除。’”

34耶和华对摩西说:“要取各种芬芳的香料,就是苏合香、香螺、白松香和纯乳香,分量相同, 35用调制香料的方法调制,加上盐,做成纯净圣洁的香。 36你们要把一些香捣成极细的粉末,放在会幕内的约柜前面,就是我与你会面的地方,你们要视这香为至圣之物。 37你们不可用同样的配方为自己做香,要视它为耶和华的圣物。 38任何人若仿制这香,自己拿来私用30:38 私用”希伯来文是“闻这香味”。,必从民中被铲除。”