Okuva 19 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Okuva 19:1-25

Eddungu lya Sinaayi

1Mu mwezi ogwokusatu abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, ne batuuka mu Ddungu lya Sinaayi. 219:2 a Kuv 17:1 b Kuv 3:1Kubanga baali basitudde okuva mu Lefidimu ne bayingira Eddungu lya Sinaayi. Abayisirayiri ne basimba eweema zaabwe mu ddungu omwo mu maaso g’olusozi Sinaayi.

319:3 Kuv 3:4; Bik 7:38Awo Musa n’ayambuka eri Katonda; Mukama n’amuyita ng’asinziira ku lusozi ng’agamba nti, “Bino by’onoogamba ennyumba ya Yakobo, by’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, 419:4 a Ma 29:2 b Is 63:9‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, mmwe ne mbasitulira ku biwaawaatiro by’empungu19:4 empungu Empungu enseera esutulira abaana baayo ku biwaawaatiro byayo ng’ebuuka (Ma 32:11). n’embeereetera gye ndi. 519:5 a Kuv 15:26 b Ma 5:2 c Ma 14:2; Zab 135:4 d Kuv 9:29; Ma 10:14Kale, singa mugondera eddoboozi lyange awatali kwerekeramu, ne mukuuma endagaano yange, mulibeera eggwanga lyange ery’enjawulo egganzi mu mawanga gonna, kubanga ensi yonna yange. 619:6 a 1Pe 2:5 b Ma 7:6; 26:19; Is 62:12Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo by’ojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.”

7Awo Musa n’akomawo, n’ayita abakulembeze b’abantu n’abategeeza ebigambo ebyo byonna Mukama bye yamulagira. 819:8 Kuv 24:3, 7; Ma 5:27Abantu bonna ne baddiramu wamu nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye, tujja kubikola.” Musa n’ategeeza Mukama ng’abantu bwe baayogera. 919:9 a nny 16; Kuv 24:15-16 b Ma 4:12, 36Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kujja gy’oli mu kire ekikutte, abantu bawulire nga njogera naawe, bakukkirizenga era bakwesigenga ennaku zonna.” Musa n’ategeeza Mukama abantu bye baayogera.

Okutukuza Abantu

1019:10 a Lv 11:44; Beb 10:22 b Lub 35:2Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero n’enkya. Bagambe booze engoye zaabwe, 1119:11 nny 16ku lunaku olwokusatu babeere beetegefu, kubanga ku lunaku olwo Mukama alikka ku lusozi Sinaayi ng’Abayisirayiri bonna balaba. 12Abayisirayiri bakugire n’olukomera okwetooloola olusozi, obagambe nti, ‘Mwekuume muleme okwambuka ku lusozi oba okulukwatako we lutandikira. Anaalukwatako ajja kuttibwa. 1319:13 Beb 12:20*Tajja kukwatibwako, wabula ajja kukubirwa ddala amayinja oba kufumitibwa. Omuntu tajja kulama, n’ebisolo tewaabeewo kirama.’ Akagombe bwe kanaamala okuvugira akabanga, olwo abantu ne balyoka bajja awali olusozi.19:13 Alooni ne batabani be ababiri, awamu n’abakadde ba Isirayiri ensavu, be baalinnyanga ku lusozi lwa Katonda (24:1, 9-10)

14Awo Musa n’ava ku lusozi n’aserengeta eri abantu, n’abatukuza ne bayoza engoye zaabwe. 15N’abagamba nti, “Mwetegekere olunaku olwokusatu, ne bakyala bammwe temubasemberera.”

Musa Asisinkana Katonda ku Lusozi Sinaayi

1619:16 a Beb 12:18-19; Kub 4:1 b Beb 12:21Awo ku lunaku olwokusatu ku nkya ne waba okubwatuka n’okumyansa, n’ekire ekikutte ku lusozi, n’eddoboozi ly’akagombe ery’omwanguka ennyo; abantu bonna abaali mu lusiisira n’okukankana ne bakankana. 17Musa n’aggya abantu mu lusiisira n’abaleeta basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w’olusozi. 1819:18 a Zab 104:32 b Kuv 3:2; 24:17; Ma 4:11; 2By 7:1; Zab 18:8; Beb 12:18 c Lub 19:28 d Bal 5:5; Zab 68:8; Yer 4:24Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ng’oguva mu kyoto, n’olusozi lwonna ne lukankana nnyo. 1919:19 a Nek 9:13 b Zab 81:7Eddoboozi ly’akagombe bwe lyeyongera okuvuga n’omwanguka ogw’amaanyi, Musa n’ayogera, ne Katonda n’amwanukula n’eddoboozi ery’okubwatuka.

20Awo Mukama n’akka ku ntikko y’Olusozi Sinaayi. Mukama n’ayita Musa agende ku ntikko y’olusozi; Musa n’alinnya. 2119:21 Kuv 3:5; 1Sa 6:19Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta eri abantu obalabule baleme kuwaguza okujja okutunula ku Mukama, abantu bangi baleme kuzikirira. 2219:22 a Lv 10:3 b 2Sa 6:7Ne bakabona, abasemberera Mukama, nabo basaana beetukuze, kubanga Mukama ayinza okubasaanyaawo.”

2319:23 nny 12Musa n’addamu Mukama nti, “Abantu tebasobola kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga ggwe wennyini watulagira nti, ‘Muteekeewo akakomera okwetooloola olusozi, lusigale lwokka nga lutukuvu.’ ”

2419:24 Kuv 24:1, 9Mukama n’alagira Musa nti, “Serengeta oleete Alooni; naye bakabona n’abantu tobaganya kuwaguza kujja kwambuka eri Mukama, kubanga ayinza okubasaanyaawo.”

25Bw’atyo Musa n’aserengeta mu bantu n’abategeeza.

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Исход 19:1-25

У горы Синай

1Исраильтяне достигли Синайской пустыни ровно через два месяца после ухода из Египта. 2Покинув Рефидим, они пришли в Синайскую пустыню, где остановились у подножия горы.

3Муса взошёл к Аллаху на гору. Вечный обратился к нему с горы и сказал:

– Скажи потомкам Якуба, народу Исраила: 4«Вы видели, что Я сделал с Египтом и как Я нёс вас на орлиных крыльях и привёл к Себе. 5Итак, если вы будете всецело повиноваться Мне и соблюдать священное соглашение, то из всех народов лишь вы будете Моим драгоценным достоянием. Вся земля Моя, 6но вы будете у Меня царством священнослужителей, святым народом». Скажи это исраильтянам.

7Муса спустился, позвал старейшин народа и передал им то, что ему повелел сказать Вечный. 8Народ ответил единогласно:

– Мы исполним всё, что сказал Вечный.

Муса передал их ответ Вечному.

9Вечный сказал Мусе:

– Я приду к тебе в густом облаке, чтобы народ услышал, как Я говорю с тобой и навсегда поверил тебе.

Муса передал Вечному всё, что сказал народ. 10Вечный ответил Мусе:

– Пойди к народу и освяти его сегодня и завтра. Пусть они выстирают одежду 11и приготовятся к третьему дню, потому что тогда Вечный сойдёт на гору Синай у них на глазах. 12Установи для народа границу вокруг горы и скажи им: «Остерегайтесь подниматься на гору и касаться её подножия. Всякий, кто коснётся горы, непременно будет предан смерти. 13Его забьют камнями или пронзят стрелами: его нельзя будет коснуться рукой. Человек ли то или животное – ему не жить». Лишь когда протяжно протрубит рог, они могут подниматься на гору.

14Спустившись к народу с горы, Муса освятил его. Они выстирали одежду. 15Он сказал народу:

– Приготовьтесь к послезавтрашнему дню. Воздержитесь от близости с женщинами.

16Утром третьего дня были гром и молния, густое облако над горой и громкий трубный звук. Все, кто был в лагере, задрожали. 17Муса вывел народ из лагеря навстречу Аллаху, и они встали у подножия горы. 18Гора Синай была застлана дымом, потому что Вечный сошёл на неё в огне. От неё поднимался дым, словно из печи. Вся гора сильно дрожала, 19а трубный звук становился всё громче и громче. Муса говорил, и Аллах отвечал ему громовым голосом.

20Вечный сошёл на вершину горы Синай и позвал туда Мусу. Когда Муса поднялся, 21Вечный сказал ему:

– Сойди и предупреди народ, чтобы они не переступали границу, чтобы посмотреть на Вечного, иначе многие из них умрут. 22Даже священнослужители, которые приближаются к Вечному, должны освятить себя, иначе Вечный покарает их.

23Муса сказал Вечному:

– Народ не может подняться на гору Синай, ведь Ты Сам предупредил нас: «Установите границу вокруг горы и освятите её».

24Вечный ответил:

– Сойди и приведи с собой Харуна. Священнослужители и народ пусть не переступают границу, чтобы подняться ко Мне, иначе Я их покараю.

25Муса сошёл к народу и передал всё это.