Okuva 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 15:1-27

Oluyimba lwa Musa

115:1 a Kub 15:3 b Zab 106:12Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti,

“Nnaayimbiranga Mukama,

kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.

Asudde mu nnyanja

embalaasi n’omwebagazi waayo.

215:2 a Zab 59:17 b Zab 18:2, 46; Is 12:2; Kbk 3:18 c Lub 28:21 d Kuv 3:6, 15-16; Is 25:1Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,

era afuuse obulokozi bwange.

Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga,

ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.

315:3 a Kuv 14:14; Zab 24:8; Kub 19:11 b Kuv 6:2-3, 7-8; Zab 83:18Mukama mulwanyi;

MUKAMA, ly’erinnya lye.

415:4 Kuv 14:6-7Amagaali ga Falaawo n’eggye lye

abisudde mu nnyanja;

n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu

basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.

515:5 nny 10; Nek 9:11Obuziba bubasaanikidde;

basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja.

615:6 Zab 118:15“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,

gwalina amaanyi n’ekitiibwa;

omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,

gwasesebbula omulabe.

715:7 Zab 78:49-50Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo,

wamegga abalabe bo,

wabalaga obusungu bwo,

ne bubasiriiza ng’ebisasiro.

815:8 a Kuv 14:21 b Zab 78:13 c Kuv 14:22Omukka bwe gwava mu nnyindo zo,

amazzi ne geetuuma;

amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja.

915:9 a Kuv 14:5-9 b Bal 5:30; Is 53:12“Omulabe n’ayogera nti,

‘Ka mbagobe, mbakwate.

Nnaagabana omunyago;

mbeemalireko eggoga.

Nnaasowolayo ekitala kyange,

ndyoke mbazikirize.’

1015:10 nny 5; Kuv 14:27-28Naye wakunsa embuyaga zo,

ennyanja n’ebasaanikira.

Bakka ng’ekyuma,

ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi.

1115:11 a Kuv 8:10; Ma 3:24; Zab 77:13 b Is 6:3; Kub 4:8 c Zab 8:1Ani akufaanana, Ayi Mukama,

mu bakatonda bonna?

Ani akufaanana, ggwe,

Omutukuvu Oweekitiibwa,

atiibwa era atenderezebwa,

akola ebyamagero?

12“Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,

ensi n’ebamira.

1315:13 a Nek 9:12; Zab 77:20 b Zab 78:54Mu kwagala kwo okutaggwaawo,

abantu be wanunula olibakulembera.

Mu maanyi go,

olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.

1415:14 Ma 2:25Amawanga galikiwulira ne gakankana,

ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.

1515:15 a Lub 36:15 b Kbl 22:3 c Yos 5:1Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;

abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana;

abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.

1615:16 a Kuv 23:27; Yos 2:9 b 1Sa 25:37 c Zab 74:2Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.

Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,

balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,

okutuusa abantu bo, be wanunula,

lwe baliyitawo.

1715:17 a Zab 44:2 b Zab 78:54, 68Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,

kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga,

ekifo kyo Ekitukuvu,

kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.

18Mukama anaafuganga

emirembe n’emirembe.”

Oluyimba lwa Miryamu

1915:19 a Kuv 14:28 b Kuv 14:22Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja. 2015:20 a Kbl 26:59 b Bal 4:4 c Bal 11:34; 1Sa 18:6; Zab 30:11; 150:4Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina. 2115:21 nny 1; Kuv 14:27Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,

“Muyimbire Mukama,

kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.

Asudde mu nnyanja

embalaasi n’agyebagadde.”

Amazzi g’e Mala n’aga Erimu

22Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi. 2315:23 Kbl 33:8Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala. 2415:24 Kuv 14:12; 16:2Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”

2515:25 a Kuv 14:10 b Bal 3:4Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.

Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 2615:26 a Ma 7:12 b Ma 28:27, 58-60 c Kuv 23:25-26ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

2715:27 Kbl 33:9Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.