Okuva 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 14:1-31

1Awo Mukama n’alagira Musa nti, 214:2 Kbl 33:7; Yer 44:1“Tegeeza abaana ba Isirayiri bawetemu nga boolekera Pikakirosi, bakube eweema zaabwe okumpi ne Pikakirosi, wakati wa Migudooli n’ennyanja. Musiisire ku lubalama lw’ennyanja nga mwolekedde Baali Zefoni. 3Falaawo abaana ba Isirayiri ajja kuboogerako nti, ‘Babulubuutira mu nsi yaffe, n’eddungu libazingizza.’ 414:4 a Kuv 4:21 b Bar 9:17, 22-23 c Kuv 7:5Nzija kukakanyaza omutima gwa Falaawo, alyoke abawondere. Naye ndyefunira ekitiibwa okuva ku bye ndikola Falaawo n’eggye lye lyonna; n’Abamisiri balitegeera nga nze Mukama.” Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo.

Falaawo Awondera Isirayiri

5Kabaka w’e Misiri bwe yategeera ng’Abayisirayiri baddukidde ddala, Falaawo n’abakungu be ne bejjusa, ne bagamba nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Abayisirayiri ababadde batukolera ne bagenda?” 6Bw’atyo n’ateekateeka eggaali lye erisikibwa embalaasi, n’eggye ly’anaagenda nalyo. 7Yatwala amagaali lukaaga agasingira ddala obulungi, n’agattako n’amagaali amalala gonna agaali mu Misiri, n’abalwanyi abaduumizi nga be bagavuga. 814:8 a nny 4; Kuv 11:10 b Kbl 33:3; Bik 13:17Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo Kabaka w’e Misiri, n’agoberera abaana ba Isirayiri. Abaana ba Isirayiri ne bakwata olugendo lwabwe nga tebaliiko gwe batya. 914:9 Kuv 15:9Abamisiri ne babawondera: embalaasi zonna, n’amagaali gonna aga Falaawo agasikibwa embalaasi, n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lye, ne babasanga nga basiisidde ku lubalama lw’ennyanja okumpi ne Pikakirosi, nga boolekedde Baali Zefoni.

1014:10 Yos 24:7; Nek 9:9; Zab 34:17Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isirayiri ne balengera Abamisiri nga babagoberera, ne batya nnyo. Abaana ba Isirayiri ne balaajaanira Mukama. 1114:11 Zab 106:7-8Ne bagamba Musa nti, “Mu Misiri entaana tezaaliyo, kyewava otuleeta tufiire wano mu ddungu? Lwaki watuggya mu Misiri n’ojja otuyisa bw’oti? 12Bwe twali mu Misiri tetwakugamba nti, ‘Tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri?’ Kubanga okukolera Abamisiri kyandibadde waddeko okusinga okufiira mu ddungu.”

1314:13 a Lub 15:1 b 2By 20:17 c nny 30Musa n’addamu abantu nti, “Temutya, munywere, mujja kulaba obulokozi Mukama bw’anaabaleetera olwa leero. Kubanga Abamisiri abo be mulaba kaakano, temuliddayo nate kubalaba emirembe gyonna. 1414:14 a nny 25; Kuv 15:3 b Zab 37:7; 46:10Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi.”

15Mukama n’agamba Musa nti, “Lwaki okaabirira nze? Lagira abaana ba Isirayiri bakwate olugendo lwabwe. 1614:16 a Kuv 4:17 b Is 10:26Wanika omuggo gwo, ogolole n’omukono gwo ku nnyanja, amazzi ogaawulemu, abaana ba Isirayiri bayite wakati mu nnyanja kyokka nga batambulira ku ttaka kkalu. 1714:17 nny 4Nange nzija kukakanyaza emitima gy’Abamisiri, bayingirire ennyanja nga babagoberera. Ndyoke nefunire ekitiibwa okusinziira ku bye nnaakola Falaawo, n’amaggye ge, n’amagaali ge, n’abeebagadde embalaasi. 18Abamisiri nabo banaategeera nga nze Mukama, nga nefunidde ekitiibwa: okusinziira ku bye nnaakola Falaawo n’amagaali ge, n’abasajja be abeebagadde embalaasi.”

1914:19 Kuv 13:21Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri n’akyuka n’abadda emabega; n’empagi ey’ekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, n’eyimirira emabega waabwe: 20Bw’etyo n’ebeera wakati w’abaana ba Isirayiri n’eggye ly’Abamisiri. Ekiro, ekire ne kireeta ekizikiza ku ludda lw’Abamisiri, naye ne kireeta omuliro okumulisa oludda lw’Abayisirayiri; ekiro kyonna ne wataba ggye lisemberera linnaalyo.

Okuyita mu Nnyanja Emyufu

2114:21 a Kuv 15:8 b Zab 74:13; 114:5; Is 63:12Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu. 2214:22 Kuv 15:19; Nek 9:11; Zab 66:6; Beb 11:29Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.

23Abamisiri ne babawondera ne bayingira wakati mu nnyanja n’amagaali ga Falaawo gonna, n’embalaasi ze, n’abasajja be abeebagadde embalaasi. 2414:24 Kuv 13:21Awo mu makya ennyo nga tebunnalaba, Mukama n’atunuulira eggye ly’Abamisiri ng’ali mu mpagi ey’ekire n’omuliro, n’atandika okulibonyaabonya. 2514:25 nny 14Amagaali gaabwe yagamaamulako zinnamuziga, ne gabakaluubirira okuvuga. Abamisiri n’okugamba ne bagamba nti, “Leka Abayisirayiri tubadduke! Kubanga Mukama alwanyisa Misiri ng’abalwanirira.”

26Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gakomewo gaggweere ku Bamisiri, ne ku magaali gaabwe, ne ku basajja baabwe abeebagadde embalaasi.” 2714:27 a Yos 4:18 b Kuv 15:1, 21; Zab 78:53; 106:11Bw’atyo Musa n’agololera ennyanja omukono gwe, obudde bwe bwakya n’ekomawo n’amaanyi, Abamisiri ne bagidduka nga balaba ejja; Mukama, Abamisiri n’abasaanyaawo wakati mu nnyanja. 28Amazzi ne gakomawo ne gasaanikira amagaali n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lya Falaawo lyonna eryali ligoberedde Abayisirayiri mu nnyanja. Tewaali n’omu ku bo eyawona.

2914:29 nny 22Naye abaana ba Isirayiri bo nga batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja, amazzi nga gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo ne ku lwa kkono. 3014:30 Zab 106:8, 10, 21Bwe kityo ku lunaku olwo Abayisirayiri Mukama n’abawonya Abamisiri. Abayisirayiri ne balaba Abamisiri ku lubalama lw’ennyanja nga bafudde. 3114:31 Zab 106:12; Yk 2:11Abayisirayiri ne balaba obuyinza obunene ennyo Mukama bwe yalaga ng’akola ku Bamisiri: abantu ne batya Mukama, ne bakkiriza Mukama n’omuweereza we Musa.