Okuva 11 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 11:1-10

Okuttibwa kw’Abaana Abamisiri Ababereberye

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ekyaliyo ekibonoobono kimu kye nzija okuleetera Falaawo n’ensi y’e Misiri. Oluvannyuma lwakyo ajja kubaleka mugende; ate bw’anaabakkiriza okugenda, ajja kubeegoberako ddala bwegobi abasindiikirize. 211:2 Kuv 3:21, 22Kale, tegeeza abantu, buli musajja asabanga muliraanwa we, ne buli mukazi asabanga muliraanwa we, ebintu eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu.” 311:3 Ma 34:11Mukama n’aleetera Abamisiri okukwanagana n’abaana ba Isirayiri; ne Musa n’aweebwa nnyo ekitiibwa mu nsi y’e Misiri. Abakungu ba Falaawo n’abantu bonna ne bamugulumiza nnyo.

411:4 Kuv 12:29Awo Musa n’agamba Falaawo nti, “Mukama agambye bw’ati nti, ‘Nga wakati mu ttumbi, nzija kuyita mu Misiri yonna. 511:5 Kuv 4:23; Zab 78:51Ebibereberye mu nsi y’e Misiri bijja kufa, okutandikira ku mubereberye wa Falaawo agenda okumusikira, okutuukira ddala ku mubereberye11:5 Mu bitundu ebyo, omwana owoobulenzi nga ye mubereberye yali wa muwendo nnyo eri ennyumba gy’avaamu. w’omuwala omuzaana asa ku lubengo; era n’ebibereberye byonna eby’ebisolo. 611:6 Kuv 12:30Wajja kubaawo okukungubaga okunene mu nsi yonna eya Misiri, okutabangawo era nga tewagenda kubaawo kukwenkana. 711:7 Kuv 8:22Naye mu baana ba Isirayiri n’embwa teribaayo gw’eboggolera wadde ebisolo byabwe; mulyoke mutegeere nga Mukama Abamisiri n’Abayisirayiri tabayisa bumu.’ 811:8 Kuv 12:31-33Era bano abakungu bo bonna balijja gye ndi nga babundabunda, ne banvuunamira nga banneegayirira nti, ‘Genda, ggwe n’abantu bo bonna abakugoberera.’ Oluvannyuma lw’ebyo nange ndigenda.” N’ava awali Falaawo n’obusungu bungi nnyo.

911:9 Kuv 7:4Mukama yali agambye Musa nti, “Falaawo tagenda kuwuliriza by’omugamba, bwe ntyo ndyoke nkolere ebyamagero byange bingi mu Misiri.” 1011:10 Kuv 4:21; 10:20, 27Musa ne Alooni baakolera ebyamagero ebyo byonna awali Falaawo; naye Mukama yakakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atakkiriza baana ba Isirayiri kuva mu nsi ye.