Okuva 10 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 10:1-29

Enzige Zirya Ebirime by’Abamisiri

110:1 a Kuv 4:21 b Kuv 7:3Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri Falaawo, kubanga nnyongedde okukakanyaza omutima gwe, n’omutima gw’abaweereza be, ndyoke mbalage ebyamagero byange bino: 210:2 Kuv 12:26-27; 13:8, 14; Ma 4:9; Zab 44:1; 78:4, 5; Yo 1:3era naawe onyumize abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebintu bye nkoledde mu Misiri, n’ebyamagero bye mbalaze; nammwe mulyoke mutegeere nga nze Mukama.”

310:3 1Bk 21:29; Yak 4:10; 1Pe 5:6Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Mukama Katonda wa Abaebbulaniya n’agamba bw’ati nti, ‘Olituusa ddi ng’okyagaanye okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende, bansinze. 410:4 Kub 9:3Singa ogaana okubakkiriza okugenda, enkya nzija kuleeta enzige mu nsi yo. 510:5 Kuv 9:32; Yo 1:4Zijja kubikka ensi yonna, wabulewo n’omuntu w’ayisa eriiso okulaba ettaka. Zijja kulya ebyo omuzira bye gwalekawo, zirye ne buli muti ogukula mu nnimiro. 6Zinajjuza amayumba go, n’amayumba g’abakungu bo bonna, n’amayumba g’Abamisiri bonna; ekyo bakadde bo, ne bakadde ba bakadde bo nga tebakirabangako kasookedde babeera mu nsi eno n’okutuusa leero.’ ” Musa n’akyuka n’aviira Falaawo.

710:7 a Kuv 23:33; Yos 23:13; 1Sa 18:21; Mub 7:26 b Kuv 8:19Abakungu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa ddi ng’atufuukidde omutego? Leka abantu bagende basinze Mukama Katonda waabwe. Ggwe tolaba Misiri nga bw’eweddewo?” 810:8 Kuv 8:8Musa ne Alooni ne bazzibwa awali Falaawo. N’abagamba nti, “Kale, mugende musinze Mukama Katonda wammwe. Naye abagenda be baani?” 9Musa n’addamu nti, “Abakulu n’abato, batabani baffe ne bawala baffe bonna tujja kugenda nabo; era tugenda n’amagana gaffe n’ebisibo byaffe, kubanga waliwo embaga gye tujja okukolera Mukama.”

10Falaawo n’abagamba nti, “Mukama abeere nammwe, obanga mulowooza nga nzija kubaleka mugende, mmwe n’abaana bammwe! Nze ndaba nga mulina olukwe lwe muteekateeka. 11Nedda! Abasajja bokka ka bagende basinze10:11 Mu ddiini y’Abamisiri, abasajja bokka be beetabanga mu kusinza. Noolwekyo mu kiseera kino, Falaawo yali awambye abakyala n’abaana. Mukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa awali Falaawo.

1210:12 Kuv 7:19Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ya Misiri oyite enzige, zijje ku nsi ya Misiri, zirye buli kantu konna akamera mu nnimiro, n’ebyo byonna omuzira bye gwataliza.”

1310:13 Zab 105:34Musa n’agolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri; Mukama Katonda n’aleeta embuyaga ezaava ebuvanjuba, ne zikunta olunaku olwo lwonna n’ekiro kyonna. Obudde bwe bwakya embuyaga ne zireeta enzige. 1410:14 Zab 78:46; Yo 2:1-11, 25Enzige nnyingi nnyo ne zigwa ku nsi yonna ey’e Misiri, ne zigisaanikira, okuva ku nsalo yaayo ey’oluuyi olumu okutuuka ku y’oluuyi olulala. Zaali nzige za kabi kanene, nga tewalabikanga ziri ng’ezo, era tezigenda kulabika. 1510:15 nny 5; Zab 105:34-35Zaabuutikira ensi yonna, ne wabaawo ekizikiza ku nsi; ne zirya buli kimera kyonna mu nsi, n’ebibala byonna eby’emiti omuzira bye gwali gutalizza; era tewaasigalawo kintu kyonna kya kiragala ku miti n’ebimera mu nnimiro, mu nsi yonna ey’e Misiri.

1610:16 Kuv 9:27Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni bunnambiro, n’abagamba nti, “Nnyonoonye eri Mukama Katonda wammwe ne gye muli. 1710:17 Kuv 8:8Mbeegayiridde munsonyiwe olw’okwonoona kwange, omulundi guno gwokka; era musabe Mukama Katonda wammwe anziggyeeko olumbe luno lwokka olututta.” 1810:18 Kuv 8:30Musa n’ava ewa Falaawo ne yeegayirira Mukama. 19Awo Mukama n’aleeta embuyaga ez’amaanyi ennyo nga ziva ebuvanjuba, ne zisitula enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emyufu. Tewaasigala nzige n’emu wonna wonna mu nsi y’e Misiri. 2010:20 Kuv 4:21; 11:10Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, abaana ba Isirayiri n’atabakkiriza kugenda.

Ekizikiza Kikwata mu Bamisiri

2110:21 Ma 28:29Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo waggulu eri eggulu, wabeewo ekizikiza ku nsi ey’e Misiri; ekizikiza ekiyinza n’okuwulikika.” 2210:22 Zab 105:28; Kub 16:10Musa n’agolola omukono gwe eri eggulu; ne wabaawo ekizikiza ekikwafu mu nsi yonna ey’e Misiri okumala ennaku ssatu. 2310:23 Kuv 8:22Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye w’abeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ng’obudde bulaba.

2410:24 nny 8-10Awo Falaawo n’atumya Musa, n’amugamba nti, “Mugende musinze Mukama. Abaana bammwe nabo mugende nabo, wabula ente zammwe, n’embuzi n’endiga ze ziba zisigala.”

25Naye Musa n’addamu nti, “Osaana otuleke tutwale ebisolo eby’okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda waffe. 26Ente zaffe tusaana okugenda nazo; tewali nsolo n’emu eneesigala. Kubanga kitusaanira okuzitwala nga tugenda okusinza Mukama Katonda waffe; kubanga tujja kumala kutuuka eri, ne tulyoka tumanya kye tunaakozesa mu kusinza Mukama.”

2710:27 nny 20; Kuv 4:21Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atabaleka kugenda. 28Falaawo n’agamba Musa nti, “Nva mu maaso! Era weekuume, sikulabanga ng’okomyewo w’endi; bwe ndiddayo okukulaba tolirema kufa.”

2910:29 Beb 11:27Musa n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, nange siriddayo kukulaba.”

Korean Living Bible

출애굽기 10:1-29

여덟째 재앙 – 메뚜기떼

1그때 여호와께서 모세에게 말씀하셨다. “너는 다시 바로에게 가거라. 내 가 그와 그의 신하들을 완고하게 한 것은 그들 가운데 내가 이런 기적들을 행하여

2네가 네 자녀들과 손자들에게 내가 어떻게 이집트 사람들을 벌하고 그들 가운데 기적을 보였는지 말할 수 있게 하며 또 내가 여호와임을 너희가 다 알도록 하기 위해서이다.”

3그래서 모세와 아론은 바로에게 가서 말하였다. “히브리 사람의 하나님 여호와께서 이렇게 말씀하십니다. ‘네가 언제까지 나에게 복종하지 않겠느냐? 내 백성을 보내 그들이 나를 섬길 수 있게 하라.

4네가 만일 계속 거절한다면 내가 내일 메뚜기떼가 네 나라에 들어가게 하겠다.

5메뚜기가 온 지면을 덮어 사람이 땅을 볼 수 없을 것이다. 메뚜기가 우박의 피해를 입지 않은 모든 것을 먹고 들에서 자라는 모든 나무를 먹을 것이며

6또 네 궁전과 네 신하와 백성들의 모든 집이 메뚜기로 가득할 것이니 네 조상들이 세상에서 아직 보지 못한 것들이다.’ ” 그러고서 모세는 바로 앞에서 나왔다.

7그때 바로의 신하들이 바로에게 “언제까지 이 사람이 우리에게 함정이 되어야 합니까? 이스라엘 자손들을 보내 그들의 하나님 여호와를 섬길 수 있게 하십시오. 왕은 아직도 이집트가 망한 줄을 모르십니까?” 하고

8모세와 아론을 바로에게 다시 데려갔다. 그러자 왕은 그들에게 “가서 너희 하나님 여호와를 섬겨라. 그런데 갈 사람은 누구누구냐?” 하고 물었다.

9그때 모세가 “우리는 여호와께 명절을 지켜야 하므로 남자 여자 어른 아이 할 것 없이 다 가야 하며 소와 양도 끌고 가야 합니다” 하고 대답하자

10바로가 이렇게 말하였다. “내가 결코 너희 여자들과 자녀들을 함께 보내지 않겠다. 너희가 악한 음모를 꾸미고 있는 것이 틀림없다.

11절대로 안 된다. 너희 남자만 가서 여호와를 섬겨라. 이것이 너희가 요구한 것이다.” 그러고서 모세와 아론은 바로 앞에서 쫓겨났다.

12그때 여호와께서 모세에게 “네 손을 이집트 땅 위에 뻗쳐라. 그래서 메뚜기떼가 몰려와 우박의 피해를 입지 않고 남아 있는 밭의 모든 것을 먹게 하라” 하고 말씀하셨다.

13모세가 이집트 땅 위에 그의 지팡이를 뻗치자 여호와께서 동풍을 일으켜 그 날 온 낮과 밤에 바람이 불게 하셨다. 그래서 동풍이 아침에 메뚜기떼를 몰고 왔다.

14메뚜기가 이집트 전역을 완전히 덮어 그 피해가 막심하였다. 이런 메뚜기떼는 전에 한 번도 본 적이 없었고 앞으로도 볼 수 없는 것들이었다.

15그 메뚜기떼가 온 땅을 새까맣게 뒤덮어 우박의 피해를 입지 않은 밭의 채소나 나무 열매를 모조리 먹었으므로 이집트 전역에 나무나 밭의 채소와 같은 푸른 것은 하나도 남지 않았다.

16그러자 바로가 모세와 아론을 급히 불러 말하였다. “내가 너희 하나님 여호와와 너희에게 범죄하였다.

17아무쪼록 내 죄를 이번만 용서하고 너희 하나님 여호와께 기도하여 이 10:17 또는 ‘죽음만을’치명적인 재앙을 내게서 떠나게 하라.”

18그래서 모세가 바로를 떠나 여호와께 기도하자

19여호와께서 동풍을 강한 서풍으로 돌변시켜 메뚜기떼를 10:19 히 ‘갈대 바다’홍해에 몰아 넣으셨다. 그래서 이집트 땅에는 메뚜기가 한 마리도 남지 않았다.

20그러나 여호와께서 바로를 완고하게 하셨으므로 그가 이스라엘 자손을 보내지 않았다.

아홉째 재앙 – 흑암

21그때 여호와께서 모세에게 “너는 하늘을 향해 손을 들어 이집트 전역에 짙은 흑암이 있게 하라” 하고 말씀하셨다.

22그래서 모세가 하늘을 향해 손을 들자 아주 캄캄한 흑암이 3일 동안 이집트 전역을 뒤덮었다.

23그 기간 동안 이집트 사람들은 서로 알아볼 수도 없었고 자기 자리에서 일어나는 사람도 없었다. 그러나 이스라엘 자손들이 사는 곳에는 빛이 있었다.

24그러자 바로가 모세를 불러 “너희는 가서 여호와를 섬겨라. 그러나 너희 양과 소는 남겨 두고 너희 자녀들만 데리고 가야 한다” 하고 말하였다.

25그래서 모세가 이렇게 대답하였다. “왕은 우리 하나님 여호와께 드릴 희생제물과 불로 태워 바칠 번제물을 우리에게 주셔야 합니다.

26우리 짐승은 한 마리도 남겨 두지 않고 가져가겠습니다. 우리는 그 중에서 우리 하나님 여호와께 드릴 제물을 선택해야 하며 또 우리가 거기 갈 때까지는 어떤 짐승을 여호와께 바쳐야 할지 모릅니다.”

27그러나 여호와께서 바로를 완고하게 하셨으므로 그가 이스라엘 자손을 보내지 않고

28모세에게 “너는 나를 떠나고 다시는 내 앞에 나타나지 말아라. 만일 네가 내 앞에 다시 나타나는 날에는 죽음을 면치 못할 것이다” 하였다.

29그러자 모세가 “좋습니다. 내가 다시는 왕 앞에 나타나지 않겠습니다” 하고 대답하였다.