13:1 Yob 19:21; Zab 88:7Nze muntu eyakangavvulwa
n’omuggo ogw’obusungu bwe.
23:2 Yer 4:23Angobye mu maaso ge n’antambuliza
mu kizikiza, awatali kitangaala;
33:3 Is 5:25ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.
43:4 Zab 51:8; Is 38:13; Yer 50:17Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange
era amenye n’amagumba gange.
53:5 a nny 19 b Yer 23:15Antaayizza n’anzijuza
obulumi n’okubonaabona.
63:6 Zab 88:5-6Antadde mu kizikiza
ng’abafu abaafa edda.
73:7 a Yob 3:23 b Yer 40:4Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,
ansibye enjegere ezizitowa.
83:8 Yob 30:20; Zab 22:2Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,
okusaba kwange akuggalira bweru.
93:9 Is 63:17; Kos 2:6Anteeredde amayinja mu kkubo lyange
era akyamizza amakubo gange.
10Ng’eddubu bwe liteega,
n’empologoma bwe yeekweka
113:11 Kos 6:1yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula
n’andeka awo nga sirina anyamba.
123:12 a Kgb 2:4 b Yob 7:20 c Zab 7:12-13; 38:2Yanaanuula omutego gwe,
n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.
133:13 Yob 6:4Yafumita omutima gwange
n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
143:14 a Yer 20:7 b Yob 30:9Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,
era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
153:15 Yer 9:15Anzijuzza ebikaawa
era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.
163:16 Nge 20:17Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;
anninnyiridde mu nfuufu.
17Emmeeme yange terina mirembe,
n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
183:18 Yob 17:15Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”
19Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
n’obulumi n’obubalagaze.
203:20 a Zab 42:5 b Zab 42:11Mbijjukira bulungi
era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21Ebyo byonna mbijjukira,
kyenvudde mbeera n’essuubi.
223:22 Zab 78:38; Mal 3:6Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
233:23 Zef 3:5Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
243:24 Zab 16:5Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”
253:25 Is 25:9; 30:18Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
eri oyo amunoonya.
263:26 Zab 37:7; 40:1Kirungi omuntu okulindirira
obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
27Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
mu buvubuka bwe.
283:28 Yer 15:17Atuulenga yekka mu kasirise
kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
293:29 Yer 31:17Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
303:30 Yob 16:10; Is 50:6Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,
era amalibwe n’okuvumibwa.
313:31 Zab 94:14; Is 54:7Kubanga Mukama taligobera bantu bweru
ebbanga lyonna.
323:32 Zab 78:38; Kos 11:8Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa
kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
333:33 Ez 33:11Tagenderera kuleeta bulumi
newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.
34Mukama akkiriziganya
n’okulinnyirira abasibe,
35n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe
mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
363:36 Yer 22:3; Kbk 1:13oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?
373:37 Zab 33:9-11Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,
Mukama nga takiragidde?
383:38 Yob 2:10; Is 45:7; Yer 32:42Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,
si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
393:39 Yer 30:15; Mi 7:9Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,
bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?
403:40 a 2Ko 13:5 b Zab 119:59; 139:23-24Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
tudde eri Mukama.
413:41 Zab 25:1; 28:2Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
423:42 a Dan 9:5 b Yer 5:7-9“Twayonoona ne tujeema,
tokyerabiranga era tonatusonyiwa.
433:43 Kgb 2:2, 17, 21“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
n’otutta awatali kutusaasira.
443:44 a Zab 97:2 b nny 8Weebisseeko ekire,
waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
453:45 1Ko 4:13Otufudde obusa n’ebisasiro
mu mawanga.
463:46 Kgb 2:16“Abalabe baffe bonna batwogerako
ebigambo ebibi.
473:47 a Yer 48:43 b Is 24:17-18; 51:19Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
483:48 a Kgb 1:16 b Kgb 2:11Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
olw’okuzikirira kw’abantu bange.
493:49 Yer 14:17Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
awatali kusirika,
503:50 Is 63:15okutuusa Mukama lw’alisinzira
mu ggulu n’alaba.
51Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.
523:52 Zab 35:7Abalabe bange banjigganya olutata
ne baba ng’abayigga ennyonyi.
533:53 Yer 37:16Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
ne bankasuukirira amayinja;
543:54 Zab 69:2; Yon 2:3-5amazzi gaabikka omutwe gwange,
ne ndowooza nti, nsanyeewo.
553:55 Zab 130:1; Yon 2:2“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
563:56 Zab 55:1wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
eri okukaaba kwange.”
573:57 Is 41:10Bwe nakukoowoola wansemberera
n’oyogera nti, “Totya!”
583:58 a Yer 51:36 b Zab 34:22; Yer 50:34Mukama watunula mu nsonga yange,
era n’onunula obulamu bwange.
593:59 Yer 18:19-20Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
603:60 Yer 11:20; 18:18Walaba bwe bampalana,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.
61Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
623:62 Ez 36:3obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
bye bantesaako obudde okuziba.
63Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
bannyooma nga bwe bannyimbirira.
643:64 Zab 28:4Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,
olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
653:65 Is 6:10Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,
n’ekikolimo kyo kibabeereko.
66Obayigganye mu busungu bwo obazikirize
ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.