Okubikkulirwa 8 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 8:1-13

Akabonero k’Envumbo ak’Omusanvu n’Ekyoterezo ekya Zaabu

18:1 Kub 6:1Awo Omwana gw’Endiga bwe yabembulula akabonero k’envumbo ak’omusanvu ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu lyonna okumala ng’ekitundu ky’essaawa.

28:2 nny 6-13; Kub 9:1, 13; 11:15Ne ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu.

38:3 a Kub 7:2 b Kub 5:8 c Kuv 30:1-6; Beb 9:4; Kub 9:13Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. 48:4 Zab 141:2Akaloosa akalungi n’omukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu n’okusaba kw’abatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka. 58:5 a Lv 16:12, 13 b Kub 4:5 c Kub 6:12Malayika n’addira ekyoterezo n’akijjuza omuliro gw’aggye ku kyoto n’aguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, n’okuwuluguma, n’okwakaayakana, n’okumyansa kw’eggulu era ne wabaawo ne musisi.

Abafuuyi b’Amakondeere

68:6 nny 2Awo bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu ne beetegeka okufuuwa amakondeere gaabwe.

78:7 a Ez 38:22 b nny 7-12; Kub 9:15, 18; 12:4 c Kub 9:4Malayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.

88:8 a Yer 51:25 b nny 7 c Kub 16:3Malayika owookubiri n’afuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ng’olusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi, 98:9 nny 7n’ekimu ekyokusatu eky’ebitonde eby’omu nnyanja ne kifa, n’ekitundu ekimu ekyokusatu eky’amaato ne kizikirira.

108:10 a Is 14:12; Kub 6:13; 9:1 b Kub 14:7; 16:4Malayika owookusatu n’afuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana n’egwa okuva mu ggulu, n’egwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’emigga n’ensulo z’amazzi. 118:11 a nny 7 b Yer 9:15; 23:15Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” n’etteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’amazzi gonna, abantu bangi ne bafa.

128:12 a nny 7 b Kuv 10:21-23; Kub 6:12, 13Malayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.

138:13 a Kub 14:6; 19:17 b Kub 9:12; 11:14Ne ndaba empungu emu ng’ebuuka mu bbanga ng’ereekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu ab’oku nsi olw’ebintu eby’entiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

啟示錄 8:1-13

揭開第七印

1羔羊揭開第七印時,天上寂靜無聲,約半小時。 2然後,我看見站在上帝面前的七位天使領受了七支號角。

3另一位天使手裡拿著金香爐上前來,站在祭壇旁邊。他接過了許多香,把香和眾聖徒的祈禱一起獻在寶座前的金壇上。 4這香發出的煙,連同眾聖徒的禱告從那天使的手中向上升,直達上帝面前。 5天使又拿著香爐,盛滿祭壇的火,將它倒在地上,於是有雷鳴、巨響、閃電和地震。

天使吹號

6這時,那七位拿著號角的天使也預備要吹號。

7第一位天使吹響號角的時候,冰雹和火攙雜著血從天上傾盆而下。地的三分之一、樹木的三分之一和一切的青草都被燒毀了。

8第二位天使吹號的時候,一座好像燃燒的大山被丟進海裡。海洋的三分之一變成了血, 9海中的活物死了三分之一,船隻也被毀了三分之一。

10第三位天使吹號的時候,有一顆好像火炬般燃燒著的巨星從天上墜落在三分之一的江河溪流和水泉裡。 11這顆星名叫「苦艾」,它使三分之一的水都變苦了,許多人因為喝了這種苦水而死去。

12第四位天使吹號的時候,太陽、月亮和星辰的三分之一都受到重擊,以致失去了光輝,於是日間的三分之一黯淡無光,夜間也是如此。 13我又看見有一隻鷹在半空中飛翔,聽見牠大聲宣告:「有禍了!有禍了!世上的居民有禍了!還有三位天使要吹響號角。」