Okubikkulirwa 22 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 22:1-21

Omugga ogw’Obulamu

122:1 a Kub 4:6 b Ez 47:1; Zek 14:8Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga, 222:2 a Kub 2:7 b Ez 47:12nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga. 322:3 a Zek 14:11 b Kub 7:15Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza, 422:4 a Mat 5:8 b Kub 14:1era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. 522:5 a Kub 21:25 b Kub 21:23 c Dan 7:27; Kub 20:4Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe. 622:6 Kub 1:1Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”

Okujja kwa Yesu

722:7 a Kub 3:11 b Kub 1:3“Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”

822:8 a Kub 1:1 b Kub 19:10Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; 922:9 a nny 10, 18, 19 b Kub 19:10kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”

1022:10 a Dan 8:26; Kub 10:4 b Kub 1:3Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira. 1122:11 Ez 3:27; Dan 12:10Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

1222:12 a nny 7, 20 b Is 40:10“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri. 1322:13 a Kub 1:8 b Kub 1:17 c Kub 21:6Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

1422:14 a Kub 2:7 b Kub 21:12 c Kub 21:27“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu. 1522:15 a 1Ko 6:9, 10 b Baf 3:2Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.

1622:16 a Kub 1:1 b Kub 1:4 c Kub 5:5 d 2Pe 1:19; Kub 2:28“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”

1722:17 Kub 2:7Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.

1822:18 a Ma 4:2; Nge 30:6 b Kub 15:6–16:21Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 1922:19 Ma 4:2Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

2022:20 a Kub 1:2 b 1Ko 16:22Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”

Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!

2122:21 Bar 16:20Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.