Okubikkulirwa 21 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 21:1-27

Yerusaalemi Ekiggya

121:1 Is 65:17; 2Pe 3:13Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo. 221:2 Beb 11:10; 12:22; Kub 3:12Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe. 321:3 2Ko 6:16Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. 421:4 a Kub 7:17 b 1Ko 15:26; Kub 20:14 c Is 35:10; 65:19Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

521:5 a Kub 4:9; 20:11 b Kub 19:9Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era n’aŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”

621:6 a Kub 16:17 b Kub 1:8; 22:13 c Yk 4:10N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa. 7Buli awangula alifuna ebyo byonna ng’omugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. 821:8 a 1Ko 6:9 b Kub 2:11Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

921:9 a Kub 15:1, 6, 7 b Kub 19:7Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu eby’enkomerero n’ajja n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole w’Omwana gw’Endiga.” 1021:10 a Kub 17:3 b Kub 1:10N’antwala ku ntikko y’olusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; n’andaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, 1121:11 a Kub 15:8; 22:5 b Kub 4:6nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ng’ejjinja ery’omuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja. 1221:12 Ez 48:30-34Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ng’aliko emiryango kkumi n’ebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, n’amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo. 13Ku luuyi olw’ebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olw’obugwanjuba nga kuliko emiryango esatu. 14Bbugwe yaliko amayinja ag’omusingi kkumi n’abiri ag’abatume b’Omwana gw’Endiga.

1521:15 Kub 11:1Malayika eyali ayogera nange yali akutte mu mukono gwe omuggo ogwa zaabu ogupimisibwa, apime ekibuga, emiryango gyakyo era ne bbugwe waakyo. 16Ekibuga kyali kyenkanankana enjuuyi zonna, n’obuwanvu nabwo nga bwenkana n’obugazi awamu n’obukiika. Byonna byali bipima kilomita enkumi bbiri mu ebikumi bina, buli kimu nga kyenkanankana ne kinnaakyo. 17Ate n’apima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ng’ekipimo ky’omuntu bwe kiri ng’apimye, awamu n’eky’abamalayika. 1821:18 a nny 11 b nny 21Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n’amayinja agayesipi nga n’ekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ng’endabirwamu ennungi. 1921:19 Is 54:11, 12Emisingi gya bbugwe w’ekibuga nga giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n’amayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala, 2021:20 Kub 4:3ogwokutaano aga sadonukisi, ogw’omukaaga sadiyo, ogw’omusanvu aga kerusoliso, ogw’omunaana aga berulo, ogw’omwenda aga topazi, ogw’ekkumi aga kerusoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu aga kuwakinso, n’ogw’ekkumi n’ebiri aga amesusito. 2121:21 nny 18Ate emiryango ekkumi n’ebiri gyakolebwa n’amayinja ag’omuwendo aga luulu ennungi kkumi n’abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n’ejjinja lya luulu limu. Ate lwo oluguudo olunene olw’ekibuga lwali lwa zaabu ennungi etangalijja ng’endabirwamu.

2221:22 a Yk 4:21, 23 b Kub 1:8 c Kub 5:6Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu n’Omwana gw’Endiga, bo ye yeekaalu yaakyo. 2321:23 Is 24:23Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. 2421:24 Is 60:3, 5Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. 2521:25 a Is 60:11 b Zek 14:7; Kub 22:5Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro. 26Kirifuna ekitiibwa n’ettendo eby’amawanga. 2721:27 Is 52:1; Yo 3:17Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

启示录 21:1-27

新天新地

1接着我看见一个新天新地,因为以前的天地都消逝了,海洋也不复存在了。 2我又看见圣城新耶路撒冷从天上的上帝那里降下,预备好了,像妆饰整齐等候新郎的新娘。 3我听见从宝座中传来响亮的声音说:“看啊!上帝的居所设立在人间,祂要与人同住。他们要成为祂的子民,上帝要亲自与他们同在,做他们的上帝。 4上帝要擦干他们所有的眼泪,再没有死亡、忧伤、哭泣和痛苦,因为以前的事都已成过去。”

5坐在宝座上的那位对我说:“看啊!我已经将一切都更新了。你要将这一切记录下来,因为这些话真实可信。” 6祂又对我说:“一切都成了!我是阿拉法,我是俄梅加;我是开始,我是终结。我要将生命泉的水白白赐给口渴的人。 7得胜者必承受这一切福分,我要做他的上帝,他要做我的儿子。 8至于那些胆怯的、不信的、行为可憎的、杀人的、淫乱的、行邪术的、拜偶像的和所有说谎的,他们的结局是被丢进硫磺火湖里,这就是第二次的死。”

新耶路撒冷

9七位天使手里拿着盛满最后七灾的七个碗,其中有一位对我说:“你来,我要将新娘,就是羔羊的妻子指给你看。” 10我被圣灵感动,天使带着我到一座高大的山上,将从天上的上帝那里降下的圣城新耶路撒冷指给我看。 11城中充满上帝的荣光,璀璨如贵重的宝石,晶莹如碧玉。 12-13城墙高大,有十二个城门,东、北、南、西每面三个门,每个城门都有一位天使把守,门上写着以色列十二支派的名字。 14城墙共有十二块基石,基石上刻着羔羊的十二位使徒的名字。

15那和我说话的天使拿了一根金量秆要丈量圣城、城墙和城门。 16圣城是正方形的,长宽相等。天使用量秆丈量那城,长、宽、高都是两千二百公里21:16 两千二百公里”希腊文是“一万二千司他町”。17他又丈量了城墙,按人的尺寸来算是六十五米21:17 六十五米”希腊文是“一百四十四肘”。厚。 18城墙是用碧玉砌成的,城本身是用纯金造的,跟玻璃一样明净。 19城墙的基石用各种宝石装饰:第一块基石是碧玉,第二块是蓝宝石,第三块是绿玛瑙,第四块是绿宝石, 20第五块是红玛瑙,第六块是红宝石,第七块是橄榄石,第八块是水苍玉,第九块是黄宝石,第十块是翡翠,第十一块是紫玛瑙,第十二块是紫晶。

21十二个城门是用十二颗珍珠造的,每一个城门都是一颗珍珠,城中的街道是纯金的,好像透明的玻璃一样。

22我看见城中没有圣殿,因为全能的主上帝和羔羊就是圣城的殿。 23圣城里不需要太阳和月亮的光照耀,因为有上帝的荣光照耀,羔羊就是圣城的灯。 24万民要在圣城的光中行走,地上的君王也要将他们的荣耀带进圣城。 25城门整天都开着,那里没有黑夜。 26人们将列国的荣耀和尊贵带进圣城。 27所有污秽的、做可憎之事的、撒谎的都不得进入圣城。唯有名字记录在羔羊的生命册上的人才有资格进去。