Okubikkulirwa 20 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 20:1-15

Emyaka Olukumi

120:1 a Kub 10:1 b Kub 1:18Awo ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu ng’alina ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma era ng’alina olujegere oluzito mu mukono gwe. 220:2 a Kub 12:9 b 2Pe 2:4N’akwata ogusota guli ogw’edda, ye Setaani, n’agusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi, 320:3 a Dan 6:17 b Kub 12:9n’agusuula mu bunnya obutakoma era n’agusibiramu n’ateekako n’envumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ng’asumululwa okumala akaseera katono.

420:4 a Dan 7:9 b Kub 6:9 c Kub 13:12 d Kub 13:16Awo ne ndaba entebe ez’obwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gy’abo abaatemebwako emitwe olw’okunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi. 520:5 Luk 14:14Naye abafu abalala tebaazuukira okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okusooka. 620:6 a Kub 14:13 b Kub 2:11 c Kub 1:6 d nny 4Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.

Setaani Azikirizibwa

720:7 nny 2Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. 820:8 a nny 3, 10 b Ez 38:2; 39:1 c Kub 16:14 d Beb 11:12Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja. 920:9 a Ez 38:9, 16 b Ez 38:22; 39:6Ne bambuka basale olusenyi olunene olw’ensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lw’ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo. 1020:10 a Kub 19:20 b Kub 14:10, 11Awo Setaani eyabalimbalimba n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi ow’obulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana n’ekiro emirembe n’emirembe.

Abafu Balamulwa

1120:11 Kub 4:2Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. 1220:12 a Dan 7:10 b Kub 3:5 c Yer 17:10; Mat 16:27; Kub 2:23Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali. 1320:13 a Kub 6:8 b Is 26:19Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali. 1420:14 1Ko 15:26Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. 1520:15 nny 12Era buli eyasangibwa ng’erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

启示录 20:1-15

捆绑魔鬼一千年

1我又看见一位天使从天而降,手里拿着无底坑的钥匙和一条大锁链。 2他捉住巨龙,就是那古蛇——魔鬼,又名撒旦,将它捆绑一千年。 3他把它扔进无底坑里关起来,加上封印,使它不能再欺骗各国的人。一千年期满后,它会暂时被释放。

同掌王权一千年

4我看见许多宝座,上面坐着的人得到了审判的权柄。他们是为基督做见证、为了上帝的道而被斩首之人的灵魂。他们没有拜兽和兽像,额上或手上也没有盖兽印。他们都一同复活,与基督同掌王权一千年。 5这是第一次的复活。其余已死的人要等到那一千年过去后,才会复活。 6在第一次复活的时候复活的人是有福的,是圣洁的,他们不在第二次死亡的权势之下。他们必做上帝和基督的祭司,与祂共掌王权一千年。

魔鬼的最终下场

7那一千年过后,撒旦会从被监禁的地方得到释放。 8它会再度欺骗天下各国,就是歌革玛各,叫他们召集军队准备打仗,军队的数目多如海沙。 9他们倾巢而出,布满大地,将圣徒的阵营和上帝所爱的城团团围住。那时烈火从天而降,烧灭了他们。 10那欺骗他们的魔鬼被扔进了怪兽和假先知所待的硫磺火湖中,在那里昼夜受苦,直到永永远远!

最后的审判

11我又看见一个白色的大宝座和坐在上面的那位。在祂面前,天地都逃避了,消失得无影无踪。 12我又看见死去的人,不论尊卑老少,都站在宝座前面。案卷都展开了,另有一卷,就是生命册也打开了。死去的人都要凭案卷中有关他们行为的记录受审判。 13海洋、死亡和阴间都交出了它们里面的死人,使他们按着各人的行为受审判。 14之后,死亡和阴间也被扔进火湖里,这火湖就是第二次的死。 15名字没有记在生命册上的都要被扔进火湖里。