Okubikkulirwa 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 2:1-29

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Efeso

12:1 a Kub 1:16 b Kub 1:12, 13“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu.

22:2 a Kub 3:1, 8, 15 b 1Yk 4:1 c 2Ko 11:13Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. 32:3 Yk 15:21Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.

42:4 Mat 24:12Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. 52:5 a nny 16, 22 b Kub 1:20Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. 62:6 nny 15Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti2:6 Abanikolayiti kyali kibinja ky’abantu mu kkanisa ekyali kisizza ekimu n’abakaafiri abaasinzanga ebifaananyi. Baayigirizanga nti Omwoyo yabakkiriza okusinza ebifaananyi n’okukola ebikolwa eby’obugwagwa nga nange bwe mbikyawa.

72:7 a Mat 11:15 b Lub 2:9 c Luk 23:43Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Sumuna

82:8 a Kub 1:11 b Kub 1:17 c Kub 1:18“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu, 92:9 a Yak 2:5 b Kub 3:9 c Mat 4:10nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. 102:10 a Kub 3:10 b Dan 1:12, 14 c nny 13Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.

112:11 Kub 20:6, 14; 21:8Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Perugamo

122:12 a Kub 1:11 b Kub 1:16“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’e Perugamo wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri 132:13 a Kub 14:12 b nny 9, 24nti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera.

142:14 a nny 20 b 2Pe 2:15 c 1Ko 6:13Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 152:15 nny 6Ate era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 162:16 2Bs 2:8; Kub 1:16Noolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange.

172:17 a Yk 6:49, 50 b Is 62:2 c Kub 19:12Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Suwatira

182:18 a Kub 1:11 b Kub 1:14, 15“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Suwatira wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ng’ennimi ez’omuliro, n’ebigere ebimasamasa ng’ekikomo ekizigule 192:19 nny 2nti, Mmanyi ebikolwa byo, n’okwagala kwo, n’okukkiriza kwo, n’obutuukirivu bwo, n’okugumiikiriza kwo, era n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga ebyasooka.

202:20 1Bk 16:31; 21:25; 2Bk 9:7Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. 212:21 a Bar 2:4 b Kub 9:20Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. 222:22 Kub 17:2; 18:9Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 232:23 1Sa 16:7; Yer 11:20; Bik 1:24; Bar 8:27Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.

242:24 Bik 15:28Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. 252:25 Kub 3:11Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.

262:26 Zab 2:8; Kub 3:21Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. 272:27 a Kub 12:5 b Is 30:14; Yer 19:11‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’ 282:28 Kub 22:16Era ndimuwa emmunyeenye ey’enkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. 292:29 nny 7Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.