Okubikkulirwa 19 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 19:1-21

Aleruuya

119:1 a Kub 11:15 b Kub 7:10 c Kub 4:11Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti,

“Aleruuya!

Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe.

219:2 Ma 32:43; Kub 6:10Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.

Yabonereza malaaya omukulu

eyayonoona ensi n’obwenzi bwe.

Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be.”

319:3 Is 34:10; Kub 14:11Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Aleruuya!

Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!”

419:4 a Kub 4:4 b Kub 4:6 c Kub 5:14Awo ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga bagamba nti,

“Amiina. Aleruuya.”

519:5 a Zab 134:1 b Kub 11:18; 20:12Awo eddoboozi ne liva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti:

“Mumutendereze Katonda waffe,

mmwe abaddu be mwenna

abamutya

abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”

619:6 Kub 11:15Ate ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi olwawulikika ng’amayengo ag’ennyanja ennene, oba ng’eddoboozi ery’okubwatuka, ne boogera nti,

“Aleruuya,

kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna y’afuga.

719:7 a Mat 22:2; 25:10; Bef 5:32 b Kub 21:2, 9Ka tusanyuke, tujaguze,

era tumugulumize,

kubanga ekiseera kituuse eky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga,

era n’omugole we yeeteeseteese.

819:8 Kub 15:4Omugole n’ayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo,

olunekaaneka era olusingayo okutukula.”

(Linena omulungi ennyo by’ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.)

919:9 a nny 10 b Kub 1:19 c Luk 14:15 d Kub 21:5; 22:6Malayika n’aŋŋamba nti, “Wandiika nti balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.” N’ayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”

1019:10 a Kub 22:8 b Bik 10:25, 26 c Kub 12:17Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye n’aŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ng’abooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.”

Eyeebagadde Embalaasi Enjeru

1119:11 a Kub 6:2 b Kub 3:14 c Is 11:4Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ng’agyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Ow’amazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo. 1219:12 a Kub 1:14 b Kub 6:2 c Kub 2:17Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi. 1319:13 a Is 63:2, 3 b Yk 1:1Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ng’erinnya lye ye Kigambo wa Katonda. 1419:14 nny 8Ab’eggye ery’omu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. 1519:15 a Kub 1:16 b Is 11:4; 2Bs 2:8 c Zab 2:9; Kub 2:27 d Kub 14:20Mu kamwa ke mwavaamu ekitala eky’obwogi eky’okutemesa amawanga. “Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma.” Alirinnya ku ssogolero ly’omwenge ogw’obusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna. 1619:16 a nny 12 b Kub 17:14Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti:

“Kabaka wa Bakabaka era Mukama wa bakama.”

1719:17 a nny 21 b Kub 8:13 c Ez 39:17Awo ne ndaba malayika omu ng’ayimiridde mu njuba ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu, 1819:18 Ez 39:18-20mulye ennyama y’emirambo gya bakabaka, abakulu b’amaggye n’abasajja ab’amaanyi, n’egy’embalaasi n’egy’abo abazeebagala, era n’egy’abantu bonna abaddu n’ab’eddembe, abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”

1919:19 Kub 16:14, 16Awo ne ndyoka ndaba ekisolo n’abafuzi ab’omu nsi n’amaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu n’eggye lye. 2019:20 a Kub 16:13 b Kub 13:12 c Dan 7:11 d Kub 14:10Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa. 2119:21 a nny 15 b nny 11, 19 c nny 17Abaasigalawo ne battibwa n’obwogi bw’ekitala ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ez’omu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

启示录 19:1-21

天上的赞美

1这事以后,我听见天上好像有一大群人在呼喊:“哈利路亚19:1 哈利路亚”意思是“要赞美上帝”。!救赎、荣耀和权能都归于我们的上帝! 2因为祂的审判真实公义,祂惩罚了那用淫乱败坏世界的大淫妇,为那些被她杀害的奴仆申冤。” 3他们又欢呼说:“哈利路亚!焚烧大淫妇的烟不断上腾,直到永永远远。” 4那二十四位长老和四个活物也俯伏敬拜坐在宝座上的上帝,说:“阿们!哈利路亚!”

5这时从宝座那里发出声音,说:“上帝所有的奴仆和一切敬畏祂的人,无论尊卑老少,都要赞美我们的上帝!” 6我听见有声音好像一大群人的呼喊声,又像洪涛,也像雷鸣,说:“哈利路亚!因为我们的主——全能的上帝已经执掌王权了。 7我们应当欢喜快乐,归荣耀给祂,因为羔羊的婚期到了,祂的新娘已预备妥当, 8获准穿上光亮洁白的细麻衣。”这细麻衣代表圣徒的义行。

9天使吩咐我说:“你要写下来,被邀请参加羔羊婚宴的人有福了!”他又说:“这是上帝亲口说的,千真万确。” 10我俯伏在他脚前要拜他,他却说:“千万不可!我和你并那些为耶稣做见证的弟兄姊妹同是上帝的奴仆。你要敬拜上帝,因为预言的真谛就是为耶稣做见证。”

白马骑士

11我看见天开了,有一匹白马出来,马上的骑士名叫“诚信真实”,祂凭公义审判、作战。 12祂的双目如火焰,头上戴了许多冠冕,写着一个只有祂自己才明白的名字。 13祂穿着被鲜血浸透的衣服,祂的名字是“上帝的道”。 14众天军穿着洁白的细麻衣,骑着白马跟随祂。 15祂口中吐出一把利剑,可以攻击列国。祂必用铁杖统治他们,踩踏盛满全能上帝之烈怒的榨酒池。 16祂的衣服和大腿上都写着祂的名号:“万王之王,万主之主。”

17我又看见一位天使站在太阳里,对空中飞翔的鸟大声呼唤: 18“来吧!一起来参加上帝的盛宴,一同享用君王、将军、勇士、马匹、骑士、自由人、奴隶和尊卑老少的肉吧!”

19我看见那怪兽、地上的众王及其军队聚集起来,要与白马骑士和祂的军队作战。 20后来,怪兽被俘虏了,在怪兽面前行奇迹的假先知也一同被擒了。这假先知曾用奇迹欺骗那些盖了兽印、敬拜兽像的人。他和怪兽一同被活活地扔进硫磺火湖里。 21怪兽的残兵纷纷被白马骑士口中的利剑所杀,飞鸟饱餐了他们的肉。