Okubikkulirwa 17 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 17:1-18

Omukazi eyali Yeebagadde Ekisolo

117:1 a Kub 15:1 b Kub 21:9 c Kub 16:19 d Kub 19:2 e Yer 51:13Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n’ajja n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi. 217:2 Kub 14:8; 18:3Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”

317:3 a Kub 12:6, 14 b Kub 13:1 c Kub 12:3Bw’atyo malayika n’antwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ng’atudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda. 417:4 a Kub 18:16 b Yer 51:7; Kub 18:6Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe. 517:5 Kub 14:8Ebiwandiiko eby’ekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti:

Babulooni Ekibuga Ekikulu

Nnyina wa Bamalaaya bonna,

era Nnyina w’Eby’emizizo mu nsi.

617:6 Kub 18:24Ne ndaba omukazi ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, awamu n’ogw’abajulirwa abattibwa olwa Yesu.

Bwe namulaba ne neewuunya. 717:7 a nny 5 b nny 3Malayika n’ambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama eby’omukazi oyo era n’ekisolo kw’atudde ekirina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi. 817:8 a Kub 13:10 b Kub 3:10 c Kub 13:8 d Kub 13:3Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.

917:9 Kub 13:18“Kale kyetaaga amagezi n’okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kw’atudde, era be bakabaka omusanvu. 10Abataano baagwa, omu y’aliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bw’anajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono. 1117:11 nny 8Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, ky’eky’omunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.

1217:12 a Kub 12:3 b Kub 18:10, 17, 19“Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu n’ekisolo okumala essaawa emu. 1317:13 nny 17Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi n’obuyinza bwabwe. 1417:14 a Kub 16:14 b 1Ti 6:15 c Mat 22:14Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gw’Endiga, kyokka Omwana gw’Endiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”

1517:15 a Is 8:7 b Kub 13:7Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kw’atudde, be bantu n’ebibinja by’abantu aba buli kika n’aba buli lulimi. 1617:16 a Kub 18:17, 19 b Ez 16:37, 39 c Kub 19:18 d Kub 18:8Ekisolo n’amayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina ky’ayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya n’omuliro. 1717:17 Kub 10:7Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, n’okukola n’omwoyo gumu n’okuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira. 1817:18 Kub 16:19Ate omukazi gwe walabye, ky’ekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna ab’oku nsi.”