Okubikkulirwa 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 15:1-8

Bamalayika Omusanvu n’Ebibonoobono Omusanvu

115:1 a Kub 12:1, 3 b Kub 16:1 c Lv 26:21Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire. 215:2 a Kub 4:6 b Kub 13:14Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. 315:3 a Kuv 15:1; Ma 32:4 b Zab 111:2 c Zab 145:17Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,

“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,

ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.

Amakubo go matukuvu era ga mazima,

ayi ggwe Kabaka w’amawanga.

415:4 a Yer 10:7 b Is 66:23Ani ataakutye Ayi Mukama,

n’atagulumiza linnya lyo?

Ggwe wekka gwe Mutukuvu,

amawanga gonna galijja

ne gasinziza mu maaso go,

Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”

515:5 a Kub 11:19 b Kbl 1:50Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu. 615:6 a Kub 14:15 b nny 1 c Kub 1:13Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu. 715:7 Kub 4:6Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe. 815:8 a Is 6:4 b Kuv 40:34, 35Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.