Okubikkulirwa 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 14:1-20

Oluyimba lwa Banunule

114:1 a Kub 5:6 b Zab 2:6 c Kub 7:4 d Kub 3:12Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng’ali n’abantu emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000), ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi by’abantu abo. 214:2 a Kub 1:15 b Kub 5:8Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ng’ekiyiriro eky’amazzi amangi n’okubwatuka kw’eggulu kwali kw’amaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ng’okuyimba okw’abayimbi nga bakuba n’ennanga zaabwe. 314:3 a Kub 5:9 b nny 1Ne bayimba oluyimba olwali ng’oluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda ne mu maaso g’ebiramu ebina n’abakadde. Ne wataba muntu n’omu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi. 414:4 a 2Ko 11:2; Kub 3:4 b Kub 5:9 c Yak 1:18Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gw’Endiga buli gy’alaga. Baanunulibwa mu bantu ab’omu nsi ne beewaayo ng’ebibala ebibereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’Endiga. 514:5 a Zab 32:2; Zef 3:13 b Bef 5:27Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.

Bamalayika Abasatu

614:6 a Kub 8:13 b Kub 3:10 c Kub 13:7Awo ne ndaba malayika omulala ng’abuukira mu bbanga ng’alina Enjiri ey’emirembe n’emirembe ey’okubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi n’abantu. 714:7 a Kub 15:4 b Kub 11:13 c Kub 8:10N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, n’ensulo z’amazzi zonna.”

814:8 a Is 21:9; Yer 51:8 b Kub 17:2, 4; 18:3, 9Ate malayika omulala owookubiri n’amugoberera ng’agamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku nvinnyo y’obusungu obw’obwenzi bwakyo.”

914:9 Kub 13:14Ne malayika omulala owookusatu n’abagoberera ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo, 1014:10 a Is 51:17; Yer 25:15 b Kub 18:6oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga. 1114:11 Is 34:10; Kub 19:3Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo. 1214:12 Kub 13:10Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”

1314:13 1Ko 15:18; 1Bs 4:16Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe.”

“Balina omukisa ddala,” bw’ayogera Omwoyo. “Banaawummula okutegana kwabwe, kubanga ebikolwa byabwe bibagoberera.”

Okukungula kw’Ensi

1414:14 a Dan 7:13; Kub 1:13 b Kub 6:2Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ng’Omwana w’Omuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ng’akutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe. 1514:15 a Yo 3:13 b Yer 51:33Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu, n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era n’ebyokukungula ku nsi byengedde.” 16Bw’atyo eyali atudde ku kire n’awuuba ekiwabyo kye era n’akungula ensi.

17Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu ey’omu ggulu era naye ng’alina ekiwabyo ekyogi. 18Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba by’emizabbibu egy’oku nsi, kubanga gyengedde.” 1914:19 Kub 19:15Bw’atyo malayika n’awuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, n’akuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero ly’obusungu bwa Katonda. 2014:20 a Is 63:3 b Beb 13:12; Kub 11:8Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru w’ekibuga era omugga gw’omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ng’okutuuka ku kyuma ky’omu kamwa k’embalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).