Okubikkulirwa 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 12:1-18

Omukazi n’Ogusota

1Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ng’ayambadde enjuba n’omwezi nga guli wansi wa bigere bye, ng’alina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. 212:2 Bag 4:19Yali lubuto era ng’akaaba ng’alumwa okuzaala. 312:3 a Dan 7:7, 20; Kub 13:1 b Kub 19:12Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. 412:4 a Kub 8:7 b Dan 8:10 c Mat 2:16Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. 512:5 Zab 2:9; Kub 2:27Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka. 612:6 Kub 11:2Omukazi n’addukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.

712:7 nny 3Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika ab’omu kibinja kye ne balwanyisa ogusota n’eggye lya bamalayika baagwo. 8Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. 912:9 a Lub 3:1-7 b Mat 25:41 c Kub 20:3, 8, 10 d Luk 10:18; Yk 12:31Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.

1012:10 a Kub 11:15 b Yob 1:9-11; Zek 3:1Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti,

“Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge

n’obwakabaka bwa Katonda waffe

awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze.

Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe,

eri Katonda waffe emisana n’ekiro,

agobeddwa mu ggulu.

1112:11 a Kub 7:14 b Kub 6:9 c Luk 14:26Ne bamuwangula

olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga,

n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe,

ne bawaayo obulamu bwabwe

nga tebatya na kufa.

1212:12 a Zab 96:11; Is 49:13; Kub 18:20 b Kub 8:13 c Kub 10:6Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu,

nammwe abalituulamu musanyuke.

Naye mmwe ensi n’ennyanja zibasanze,

kubanga Setaani asse gye muli

ng’alina obusungu bungi,

ng’amanyi nti asigazza akaseera katono.”

1312:13 a nny 3 b nny 5Awo ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi ne guyigganya omukazi eyazaala omwana owoobulenzi. 1412:14 a Kuv 19:4 b Dan 7:25Naye omukazi n’aweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ng’eby’empungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gy’alabiririrwa era gy’akuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera n’ekitundu ky’ekiseera. 15Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza. 16Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala. 1712:17 a Kub 11:7 b Lub 3:15 c Kub 14:12 d Kub 1:2Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana b’omukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. 18Ne guyimirira ku lubalama lw’ennyanja.