Okubala 5 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Okubala 5:1-31

Ekiragiro ku Bulongoofu bw’Olusiisira

1Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 25:2 a Lv 13:46 b Lv 15:2; Mat 9:20 c Lv 13:3; Kbl 9:6-10“Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu. 35:3 Lv 26:12; Kbl 35:34; 2Ko 6:16Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.” 4Awo abaana ba Isirayiri ne bakolanga bwe batyo ne babafulumyanga ebweru w’olusiisira. Ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Etteeka ly’Okuliwa

5Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 65:6 a Lv 6:2 b Lv 5:14–6:7“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bw’anaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bw’atyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango, 75:7 a Lv 5:5; 26:40; Yos 7:19; Luk 19:8 b Lv 6:5era asaana ayatule ekibi ekyo ky’anaabanga akoze. Anaaliwanga mu bujjuvu olw’ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, n’agattako n’ekitundu ekimu ekyokutaano eky’ebyo by’anaabanga aliye, byonna anaabiwanga oyo gw’anaabanga azizzaako omusango. 85:8 Lv 6:6, 7; 7:7Naye singa omuntu oyo azzibbwako omusango taabengawo na waaluganda lwa kumpi, eby’okuliwa ebyo binaabanga bya Mukama Katonda era n’endiga ennume ey’okutangiririra oyo eyazza omusango, binaaweebwanga kabona. 95:9 Lv 6:17; 7:6-14Era ebirabo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga eri kabona binaabanga bya kabona oyo. 105:10 Lv 10:13Ekirabo kya buli muntu ekitukuvu kinaabanga kikye, naye ekyo ky’anaaleeteranga kabona kinaabanga kya kabona.’ ”

Etteeka ku Bbuba

11Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 125:12 Kuv 20:14“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Muka omusajja yenna bw’anaakyamanga n’akola ebitali bya bwesigwa eri bba 135:13 Lv 18:20; 20:10ne yeebaka n’omusajja omulala nga bba tategedde, omusajja oyo n’amusobyako, ekikolwa ekyo ne kitamanyibwa, kubanga tewali mujulizi akirabye era nga tebabakutte nga bakikola; 145:14 Nge 6:34; Lu 8:6singa omusajja akwatibwa ebbuba n’ateebereza nti osanga mukazi we baamusobezzaako, oba ebbuba ne limukwata newaakubadde nga mukazi we tebaamusobezzaako, 155:15 a Kuv 16:36 b Lv 6:20 c Ez 29:16kale anaaleetanga mukazi we eri kabona. Anaaleetanga n’ekyokuwaayo ku lwa mukazi we ekitundu kimu eky’ekkumi ekya efa5:15 ze liita nga bbiri eky’obuwunga bw’emmere eyitibwa sayiri. Obuwunga obwo taabufukengako mafuta ag’omuzeeyituuni wadde okubussaamu ebyakawoowo, kubanga bwe buwunga obuweereddwayo ku nsonga y’ebbuba, nga kye kiweebwayo eky’okujjukiza nti waliwo omusango ogwazzibwa.

16“Kabona anaasembezanga omukazi oyo n’amuleeta n’amuyimiriza mu maaso ga Mukama Katonda. 17Anaddiranga amazzi amatukuvu5:17 Amazzi amatukuvu Nga galimu enfuufu ge gaakozesebwanga mu ngeri ey’obwakatonda mu kusalira omuntu omusango. nga gali mu kijaagi eky’ebbumba n’ateeka mu mazzi ago enfuufu gy’anaggyanga wansi mu Weema. 185:18 Lv 10:6; 1Ko 11:6Kabona bw’anaamalanga okuyimiriza omukazi oyo mu maaso ga Mukama Katonda, anaamusumululanga enviiri ze n’azita ne zikka, n’amukwasa ekiweebwayo eky’okujjukiza eky’emmere y’empeke ekiweereddwayo olw’obuggya, ye kabona ng’akutte amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo. 195:19 nny 12, 29Kabona anaalayizanga omukazi oyo n’amugamba bw’ati nti, ‘Obanga tewali musajja yenna eyeebase naawe mu kyama n’ofuuka atali mulongoofu songa oli mu bufumbo ewa balo, amazzi agakaawa gano agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi.’ 205:20 nny 12Naye bw’onoowabanga ne weebaka n’omusajja atali balo, bw’otyo ne weeyonoonyesa, 215:21 Yos 6:26; 1Sa 14:24; Nek 10:29wano kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky’ekikolimo n’amugamba nti, ‘Mukama Katonda aleetere abantu bo okukukolimira n’okukuboola bw’anaakoozimbyanga ekisambi kyo n’olubuto lwo n’aluleetera entumbi ne luzimba. 225:22 a Zab 109:18 b nny 18 c Ma 27:15Amazzi gano agaleeta ekikolimo gayingirenga mu mubiri gwo gazimbye olubuto lwo era n’ekisambi kyo kikoozimbe.’ 

“Omukazi anaddangamu nti, ‘Amiina, Amiina.’

235:23 Yer 45:1“ ‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo ku muzingo n’abyozaako mu mazzi agakaawa. 24Anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaayingiranga mu mukazi oyo ne gamuleetera obulumi n’okubonaabona mu mubiri. 255:25 Lv 8:27Awo kabona anaggyangako omukazi oyo ekiweebwayo eky’empeke olw’obuggya, anaawuubanga ekiweebwayo ekyo eky’empeke mu maaso ga Mukama Katonda, n’akireeta ku kyoto. 26Kabona anaddiranga olubatu lw’obuwunga obw’ekiweebwayo ng’ekiweebwayo olw’okujjukira n’akyokya ku kyoto; ebyo nga biwedde anaanywesanga omukazi amazzi gali. 275:27 Is 43:28; 65:15; Yer 26:6; 29:18; 42:18; 44:12, 22; Zek 8:13Bw’anaamalanga okumunywesa amazzi ago, kale bw’anaabanga yeeyonoonyesezza nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi ago agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu mubiri gw’omukazi oyo ne gamuleetera obulumi obubalagala; olubuto lwe lunaazimbulukukanga n’ekisambi kye ne kikoozimba, era anaafuukanga omukolimire mu bantu b’ewaabwe. 28Naye omukazi oyo bw’anaabanga teyeeyonoonyesa nga mulongoofu, kale taabeerengako musango, era anaabanga wa ddembe okuzaala abaana.’

295:29 nny 19“ ‘Eryo lye tteeka ery’obuggya, omukazi bw’anaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba, 30oba omusajja bw’anaayingirangamu omwoyo ogw’ebbuba, n’akwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona n’alyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo. 315:31 Lv 5:1; 20:17Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we y’anaabangako omusango olw’okwonoona kwe.’ ”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 5:1-31

送不潔淨之人出營

1耶和華對摩西說: 2「你吩咐以色列人把所有患痲瘋病、漏症和因碰過死屍而不潔淨的人, 3無論男女,都送到營外,免得他們玷污了營地,因為我住在其中。」 4以色列人就照耶和華對摩西的吩咐,把這些人送到營外。

賠償條例

5耶和華對摩西說: 6「你把以下條例告訴以色列人。

「無論男女,若損害別人就是不忠於耶和華,就是犯罪。 7那人必須認罪,賠償損失,並且必須加賠五分之一。 8如果受害人已死,又沒有可以接受賠償的近親,賠償就屬於耶和華,要歸祭司所有。那人還要再獻上一隻公綿羊為自己贖罪。 9以色列人帶來奉獻的一切聖物都要歸祭司所有。 10各人奉獻的聖物,無論是什麼,都要歸祭司所有。」

疑妻不貞

11耶和華對摩西說: 12-14「你把以下條例告訴以色列人。

「若有人懷疑妻子出軌,暗中與人通姦,卻沒有證據,在無法確定是自己疑心還是妻子不忠的情況下, 15他要帶妻子到祭司那裡,同時為妻子帶去一公斤大麥麵粉作為供物。不可在上面澆油或加乳香,因為這是因疑心而獻上的素祭,要證明他妻子是否有罪。

16「祭司要把那婦人帶到耶和華面前, 17用陶器盛一些聖水,從聖幕的地上取一些塵土撒在水中, 18然後讓那婦人站在耶和華面前,解開她的頭髮,把那素祭放在她手裡。祭司要拿著帶給罪人咒詛的苦水, 19叫她發誓。祭司要對她說,『如果你沒有出軌,沒有背著丈夫與人通姦,就不會被這苦水所害。 20如果你曾出軌,背著丈夫與人通姦, 21-22你喝下這苦水後,願耶和華使你大腿消瘦、肚腹腫脹、不能生育,使你被同胞咒詛和唾棄。』她要說,『阿們!阿們!』 23祭司要把這咒詛寫在書卷上,再放在苦水裡把字洗掉。 24祭司要讓婦人喝這可帶來咒詛的苦水,不忠的婦人喝下後,肚子會感到劇痛。 25祭司要從婦人手中接過她丈夫因疑心而獻的素祭,在耶和華面前搖一搖,然後帶到祭壇那裡。 26他要從素祭中取出一把麵粉作為象徵放在祭壇上焚燒,然後叫那婦人喝下苦水。 27如果她曾與人通姦,背叛了丈夫,這可帶來咒詛的苦水進入她體內後,會引起劇痛,使她肚腹腫脹、大腿消瘦、不能生育,她也將被同胞咒詛。 28但如果她是貞潔的,沒有與人通姦,就不會受傷害,仍能生育。

29「這就是處理丈夫懷疑妻子不忠的條例。遇到妻子背著丈夫與人通姦, 30或是丈夫懷疑妻子不忠,就要讓妻子站在耶和華面前,由祭司對她執行這條例。 31無論結果怎樣,丈夫都無罪,但妻子若有罪,必承擔罪責。」