Okubala 34 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okubala 34:1-29

Ensalo za Kanani

1Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 234:2 a Lub 17:8; Ma 1:7-8; Zab 78:54-55 b Ez 47:15“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:

334:3 a Yos 15:1-3 b Lub 14:3“ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba, 434:4 a Yos 15:3 b Kbl 32:8n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni, 534:5 Lub 15:18; Yos 15:4awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene.

6Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.

734:7 Ez 47:15-17Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola; 834:8 Kbl 13:21; Yos 13:5eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada, 9ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono.

10Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu. 1134:11 a 2Bk 23:33; Yer 39:5 b Ma 3:17; Yos 11:2; 13:27Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya. 12Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo.

“ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ”

1334:13 Yos 14:1-5Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu, 1434:14 Kbl 32:33; Yos 14:3kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe. 15Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.”

Abasajja Abaalondebwa Okugabanyaamu Ensi

16Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 1734:17 Yos 14:1“Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 1834:18 Kbl 1:4, 16Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi.

1934:19 a Kbl 26:65 b Lub 29:35; Ma 33:7“Gano ge mannya gaabwe:

“Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda.

2034:20 Lub 49:5Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni.

2134:21 Lub 49:27; Zab 68:27Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini.

22Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani.

23Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu.

24Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu.

25Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni.

26Palutiyeri mutabani wa Azani

nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali,

2734:27 Kbl 1:40ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri,

28ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.”

29Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri.