Okubala 31 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okubala 31:1-54

Okutta Abamidiyaani

1Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 231:2 a Lub 25:2 b Kbl 20:26; 27:13“Woolera eggwanga ly’abaana ba Isirayiri ku Bamidiyaani, oluvannyuma olyoke ogende abantu bo bonna gye balaga.”

331:3 Bal 11:36; 1Sa 24:12; 2Sa 4:8; 22:48; Zab 94:1; 149:7Awo Musa n’agamba abantu nti, “Muyungule okuva mu mmwe abasajja abalwanyi mubawe ebyokulwanyisa, beetegekere olutalo, batabaale Midiyaani bawoolere eggwanga lya Mukama Katonda ku Midiyaani. 4Mu buli kika kya Isirayiri mujja kuggyamu abasajja lukumi abanaagenda okutabaala.” 5Awo ne baleeta okuva ku nkumi za Isirayiri abasajja lukumi okuva mu buli kika be balwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri abeetegekera olutabaalo. 631:6 a Kbl 14:44 b Kbl 10:9Musa n’abasindika mu lutalo, abalwanyi lukumi nga bava mu buli kika; ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’ebintu by’omu watukuvu n’amakondeere ag’okulwana ng’ali nago.

731:7 Ma 20:13; Bal 21:11; 1Bk 11:15, 16Ne batabaala Midiyaani nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa, ne batta buli musajja. 831:8 a Yos 13:21 b Kbl 25:15 c Yos 13:22Mu battibwa mwe mwagendera ne bakabaka ba Midiyaani bano abataano: Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba. Balamu mutabani wa Byoli naye baamuttiramu n’ekitala. 9Abaana ba Isirayiri ne bawamba abakazi ba Midiyaani n’abaana baabwe, ne banyaga ente n’ebisibo byabwe n’ebintu ebirala bingi. 1031:10 Lub 25:16; 1By 6:54; Zab 69:25; Ez 25:4Baayokya ebibuga by’Abamidiyaani mwe baabeeranga, awamu n’ensiisira zaabwe zonna. 1131:11 Ma 20:14Baatwala omunyago gwonna, nga mulimu n’abantu n’ensolo; 1231:12 Kbl 27:2ne babireeta awali Musa ne Eriyazaali kabona n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri mu lusiisira lwabwe olwali mu nsenyi za Mowaabu eziri ku mugga Yoludaani okutunuulira emitala wa Yeriko.

13Musa ne Eriyazaali kabona n’abakulembeze mu kibiina bonna ne bagenda okusisinkana abatabaazi ebweru w’olusiisira. 1431:14 nny 48; Kuv 18:21; Ma 1:15Musa n’anyiigira abakulembeze b’eggye, abaduumizi b’ebikumi n’abaduumizi b’enkumi abaakomawo nga bava mu lutabaalo.

15Musa n’ababuuza nti, “Abakazi bonna temubasse? 1631:16 a 2Pe 2:15; Kub 2:14 b Kbl 25:1-9Mumanyi nga be baaleetera abaana ba Isirayiri okujeemera Mukama Katonda e Peoli bwe baakolera ku magezi Balamu ge yabawanga, kawumpuli amale alumbe ekibiina kya Mukama. 1731:17 Ma 7:2; 20:16-18; Bal 21:11Kale nno mutte buli mulenzi mu baana abato, era mutte na buli mukazi eyali yeegasseeko n’omusajja. 18Naye abawala abato abatamanyanga musajja, mubeeterekere.

1931:19 a Kbl 19:16 b Kbl 19:12“Musiisire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli omu mu mmwe eyatta omuntu yenna, n’oyo eyakwatako ku gwe basse, mwetukuze awamu n’abanyage bammwe ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu. 2031:20 Kbl 19:19Mutukuze buli kyambalo ne buli kintu ekyakolebwa mu maliba, oba mu bwoya bw’embuzi oba mu muti.”

21Awo Eriyazaali kabona n’agamba abasajja abaatabaala nti, “Lino lye tteeka Mukama Katonda ly’alagidde Musa: 2231:22 Yos 6:19; 22:8Zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo, n’ekyuma, n’ebbaati, n’essasi 2331:23 a 1Ko 3:13 b Kbl 19:9, 17n’ekirala kyonna ekigumira omuliro mukiyise mu muliro kiryoke kibeere ekirongoofu. Naye era kisaana okulongoosebwa n’amazzi agalongoosa. Ebyo byonna ebitaasobole kuyita mu muliro biyisibwe mu mazzi ago. 2431:24 Lv 11:25Ku lunaku olw’omusanvu mwozanga engoye zammwe, mulyoke mubeere abalongoofu. Ebyo nga biwedde mulyoke muyingire mu lusiisira.”

Okugabana Omunyago

25Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2631:26 Kbl 1:19“Ggwe ne Eriyazaali kabona, n’abakulembeze b’empya ez’omu kibiina mubale obungi bw’omunyago ogwaleetebwa omuli abantu n’ebisolo. 2731:27 Yos 22:8; 1Sa 30:24Omunyago gugabanyeemu mu bitundu bibiri: eky’abatabaazi abaalwana olutalo n’ekyabaasigala mu kibiina. 2831:28 Kbl 18:21Munaggya ku basajja abaatabaala ekitundu kimu ku buli bikumi bitaano, nga gwe musolo gwa Mukama Katonda, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi. 29Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu ekya wakati ekinaagabanibwa abatabaazi mukiwe Eriyazaali kabona nga kye kitundu kya Mukama Katonda. 3031:30 Kbl 3:7; 18:3Ku munyago gw’abaana ba Isirayiri abasigaddewo munaggyako ekitundu kimu ku bitundu ataano, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi oba ensolo endala zonna. Ebyo mujja kubiwa Abaleevi, abalabirira Weema ya Mukama.” 31Bwe batyo Musa ne Eriyazaali bwe baakola, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

32Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano (675,000). 33Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000). 34Endogoyi, emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000), 35n’abakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000).

36Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago eky’abo abaatabaala kyali bwe kiti:

Endiga, obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500);

3731:37 nny 38-41ku ezo kwaliko ez’omusolo gwa Mukama Katonda lukaaga mu nsavu mu ttaano (675).

38Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri (72).

39Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda zaali nkaaga mu emu (61).

40Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ng’ab’omusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32).

4131:41 Kbl 5:9; 18:8Omusolo gwa Mukama, Musa n’aguwa Eriyazaali kabona, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

42Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago ogwaweebwa abaana ba Isirayiri nga Musa amaze okuggyako ogw’abatabaazi abaalwana mu lutalo, 43ekitundu ekyo kyali bwe kiti: Endiga, emitwalo asatu mu esatu mu bitaano (337,500); 44Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000); 45Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500); 46n’abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000). 47Ekitundu eky’omugabo eky’abaana ba Isirayiri, Musa n’aggyako ekitundu kimu ku buli bitundu ataano byombi eby’abantu n’eby’ebisolo, n’abiwa Abaleevi abaalabiriranga Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.

Ebiweebwayo by’Abakulembeze b’Eggye

48Awo abakulembeze b’ebibinja mu ggye abaaduumiranga ebikumi n’abaaduumiranga enkumi, ne bajja eri Musa, 4931:49 Yer 23:4ne bamugamba nti, “Abaweereza bo tubaze abatabaazi bonna be tutwala, nga tewaliiwo n’omu abulawo. 5031:50 Kuv 30:16Noolwekyo tuleetedde Mukama Katonda ekiweebwayo nga kya bintu ebya zaabu buli omu ku ffe bye yanyaga; mwe muli ebikomo eby’oku mikono, emikuufu egy’oku magulu, empeta z’oku ngalo n’empeta ez’omu matu n’obutiiti obw’omu bulago, twetangiririre mu maaso ga Mukama Katonda.”

51Musa ne Eriyazaali kabona, ne bakkiriza ebyaleetebwa omwali zaabu n’ebyomuwendo ebirala byonna. 52Zaabu yenna abaduumizi b’enkumi, n’abaduumizi b’ebikumi gwe baleeta eri Musa ne Eriyazaali kabona, okuwaayo eri Mukama Katonda, yali apima obuzito bwa kilo kikumi mu kyenda. 5331:53 Ma 20:14Buli mutabaazi yali yeenyagiddeyo ebintu ebibye ku bubwe. 5431:54 Kuv 28:12Awo Musa ne Eriyazaali kabona ne baddira zaabu eyaleetebwa abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi, ne bamuleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, okubeeranga ekijjukizo eri abaana ba Isirayiri mu maaso ga Mukama Katonda.