Okubala 30 – LCB & HOF

Luganda Contemporary Bible

Okubala 30:1-16

Amateeka ku Bweyamo

130:1 Kbl 1:4Musa n’agamba abakulembeze b’ebika by’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama Katonda ky’alagidde: 230:2 Ma 23:21-23; Bal 11:35; Yob 22:27; Zab 22:25; 50:14; 116:14; Nge 20:25; Mub 5:4, 5; Yon 1:16Omusajja bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, ekigambo kye ekyo taakimenyengawo, naye anaakolanga nga bw’anaabanga asuubizza.

3“Omukazi omuvubuka anaabeeranga akyasula mu maka ga kitaawe, bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, kale, obweyamo bwe bwonna n’ebyo by’anaabanga asuubizza binaasigalanga nga bwe biri. 430:4 nny 7Naye kitaawe bw’anaakiteegerangako, n’amuziyiza, kale, tewaabengawo n’ekimu ku ebyo by’anaabanga asuubizza ebinaasigalanga nga bwe biri. 5Naye kitaawe bw’anaamugaananga ku lunaku lw’anaakiwulira, tewaabengawo ku bweyamo bwe newaakubadde bye yalayira bye yasuubiza ebinaatuukirizibwanga, Mukama Katonda anaabimusonyiwanga, kubanga kitaawe abimuziyizza.

630:6 Lv 5:4“Bw’anaafumbirwanga ng’amaze okweyama ng’awaddeyo n’ebisuubizo nga tamaze kwerowooza, 7bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’ayogera; kale, obweyamo bw’omukazi oyo n’ebisuubizo bye, bye yalagira okubituukiriza, binaasigalanga nga bwe biri. 830:8 Lub 3:16Naye singa bba bw’amala okubiwulirako n’amuziyiza, olwo obweyamo bw’omukazi oyo n’ebyo byonna bye yasuubiza nga teyeerowozezza, biba bifudde, era Mukama Katonda anaasonyiwanga omukazi oyo.

9“Obweyamo n’ebisuubizo bwe binaakolebwanga nnamwandu oba omukazi eyayawukanira ddala ne bba mu bufumbo, binaasigalanga nga bwe biri.

10“Omukazi ali mu bufumbo ng’abeera wamu ne bba mu maka gaabwe, bw’aneeyamanga oba n’asuubiriza ku kirayiro ng’alibaako by’atuukiriza, 11bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’agamba mukazi we, n’atamuziyiza; kale, obweyamo bw’omukazi oyo bwonna bunaasigalangawo, ne buli kimu kyonna kye yasuubiza ne yeerayirira, binaasigalangawo. 1230:12 Bef 5:22; Bak 3:18Naye bba bw’anaabanga abiwuliddeko, kyokka n’abidibya n’abisazaamu, olwo tewaabengawo bweyamo oba ebisuubizo ebyava mu kamwa k’omukazi, ebinaasigalangawo, era Mukama Katonda anaabimusonyiwanga. 13Bba anaayinzanga okukakasa oba okudibya obweyamo bwonna mukazi we bw’anaabanga akoze n’ebisuubizo byonna by’anaabanga yeerayiridde ebirimu n’okwerumya n’okwefiiriza. 14Naye bba bw’ataabengako ne kyabyogerako nga ky’ajje abiwulire, olwo omukazi anaabanga akakasizza obweyamo bwe bwonna n’ebisuubizo bye yeerayirira. Bba anaabikakasanga bw’ataabengako ky’ategeeza mukazi we bw’anaabanga yaakamala okubiwulirako. 15Naye bwe wanaayitangawo ennaku ng’amaze okubiwulirako, oluvannyuma n’alyoka abidibya, y’anaavunaanyizibwanga ku bitatuukiridde mu bweyamo bw’omukazi oyo.”

16Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yalagira Musa aganaakwatanga ku musajja ne mukazi we, era ne kitaawe w’omuwala ne muwala we anaabanga akyali omuvubuka ng’akyasula mu nju ya kitaawe.

Hoffnung für Alle

4. Mose 30:1-17

1Alle diese Bestimmungen teilte Mose den Israeliten mit.

Wann sind Gelübde von Frauen gültig?

2Danach gab Mose den Oberhäuptern der Stämme Israels erneut eine Weisung vom Herrn weiter:

3»Wenn jemand dem Herrn etwas verspricht oder sich mit einem Eid verpflichtet, auf irgendetwas zu verzichten, darf er sein Wort nicht brechen. Er muss alles tun, was er gesagt hat.

4Gibt eine junge Frau, die noch bei ihren Eltern lebt, dem Herrn ein Versprechen 5und ihr Vater lässt sie gewähren, so hat sie sich daran zu halten. 6Erhebt aber ihr Vater am selben Tag, an dem er davon hört, Einwände gegen ihr Gelübde, wird es ungültig. Dann wird der Herr ihr verzeihen, dass sie es nicht einhält.

7Wenn eine Frau sich vor ihrer Heirat durch ein Gelübde oder ein leichtfertiges Versprechen zu irgendetwas verpflichtet hat 8und ihr Mann dazu schweigt, muss sie ihr Wort halten. 9Erhebt er jedoch am selben Tag Einspruch, an dem er davon erfährt, ist sie nicht mehr an ihr Versprechen gebunden. Der Herr wird ihr vergeben, wenn sie in diesem Fall ihr Wort nicht hält. 10Ist aber die Frau, die dem Herrn ein Versprechen gibt, verwitwet oder geschieden, so muss sie es erfüllen.

11Legt eine verheiratete Frau ein Gelübde ab 12und ihr Mann sagt nichts dagegen, muss sie tun, was sie versprochen hat. 13Der Mann kann das Gelübde jedoch am selben Tag aufheben, an dem er davon hört. Der Herr wird der Frau verzeihen, dass sie es nicht einhält. 14Der Mann hat das Recht, alles für ungültig zu erklären oder zu bestätigen, was seine Frau versprochen hat, ganz gleich ob sie etwas tun oder auf etwas verzichten wollte. 15Wenn er sich am Tag, an dem er davon erfährt, nicht dazu äußert, bestätigt er ihr Gelübde. Durch sein Schweigen wird es verbindlich. 16Hebt er das Gelübde nach dem ersten Tag auf, trifft ihn allein die Schuld, wenn es gebrochen wird.«

17Diese Weisungen erhielt Mose vom Herrn. Sie regeln den Umgang mit Gelübden von verheirateten und unverheirateten Frauen und bestimmen, welchen Einfluss Väter und Ehemänner auf die Gelübde haben.