Okubala 25 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okubala 25:1-18

Isirayiri Asinza Bakatonda Abalala mu Sitimu

125:1 a Yos 2:1; Mi 6:5 b 1Ko 10:8; Kub 2:14 c Kbl 31:16Isirayiri bwe yali mu Sitimu, abasajja ne batandika okwenda n’abakazi ba Mowaabu, 225:2 a Kuv 34:15 b Kuv 20:5; Ma 32:38; 1Ko 10:20abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo. 325:3 Zab 106:28; Kos 9:10Bw’atyo Isirayiri n’ayingirira eby’okusinzanga Baali ow’e Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako.

425:4 a Ma 4:3 b Ma 13:17Mukama n’agamba Musa nti, “Kwata abakulembeze b’abantu bano obatte, obaanike mu maaso ga Mukama abantu bonna we babalabira, obusungu bwa Mukama bulyoke bukkakkane buve ku Isirayiri.”

525:5 Kuv 32:27Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali ow’e Peoli.”

6Kale, laba, omusajja omu ku baana ba Isirayiri n’aleeta mu maka ge omukazi Omumidiyaani awo mu maaso ga Musa, nga n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri bali awo bakaabira mu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 7Naye Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, bwe yakiraba, n’asituka mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe 825:8 Kbl 16:46-48; Zab 106:30n’agoberera Omuyisirayiri n’amutuusa mu weema. Bombi n’abafumita effumu ne liyita mu Muyisirayiri ne liggukira ne mu mubiri gw’omukazi, ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli eyali alumbye abaana ba Isirayiri n’akoma. 925:9 a Kbl 14:37; 1Ko 10:8 b Kbl 31:16N’abo abaafa kawumpuli baawera emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

10Mukama n’agamba Musa nti, 1125:11 a Zab 106:30 b Kuv 20:5; Ma 32:16, 21; Zab 78:58“Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ng’obwange olw’obutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo. 1225:12 Is 54:10; Ez 34:25; Mal 2:4, 5Noolwekyo mutegeeze nti, ‘Laba nkola naye endagaano ey’emirembe. 1325:13 a Kuv 29:9 b Kbl 16:46Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’ ”

14Omusajja Omuyisirayiri eyattirwa awamu n’omukazi Omumidiyaani yali Zimuli mutabani wa Salu eyali omukulembeze mu kika kya Simyoni. 1525:15 a nny 18 b Kbl 31:8; Yos 13:21N’erinnya ly’omukazi Omumidiyaani eyattibwa nga ye Kozebi muwala wa Zuuli, eyali omukulembeze mu kimu ku bika bya Midiyaani.

16Mukama n’agamba Musa nti, 1725:17 Kbl 31:1-3“Abamidiyaani obayigganyanga n’obatta, 1825:18 Kbl 31:16kubanga baayagala okubazikiriza n’enkwe zaabwe bwe baabakyamya e Peoli, n’olwa Kozebi muwala w’omukulembeze w’e Midiyaani, omukazi oyo eyattibwa ku lunaku okwajjira kawumpuli olw’ebyo ebyali e Peoli.”