124:1 a Kbl 23:23 b Kbl 23:28Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu. 224:2 Kbl 11:25, 26; 1Sa 10:10; 19:20; 2By 15:1Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda, 3n’alagula nti,
“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
424:4 a Kbl 22:20 b Lub 15:1okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda
alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna,
eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
5“Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo,
ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!
624:6 a Zab 45:8 b Zab 1:3; 104:16“Byeyaliiridde ng’ebiwonvu,
ng’ennimiro ku mabbali g’omugga,
ng’emigavu egisimbiddwa Mukama
ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
724:7 a 2Sa 15:8 b 2Sa 5:12; 1By 14:2; Zab 145:11-13Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga
ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi.
“Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi
obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.
824:8 a Zab 2:9; Yer 50:17 b Zab 45:5“Katonda ye yabaggya mu Misiri
balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko.
Basaanyaawo amawanga g’abalabe
ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu,
ne babalasa n’obusaale bwabwe.
924:9 a Lub 49:9; Kbl 23:24 b Lub 12:3Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi,
ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa?
“Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa
n’oyo akukolimira akolimirwenga!”
1024:10 a Ez 21:14 b Kbl 23:11 c Nek 13:2Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. 1124:11 Kbl 22:17Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”
1224:12 Kbl 22:18Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti, 1324:13 a Kbl 22:18 b Kbl 22:20‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’ 1424:14 Lub 49:1; Kbl 31:8, 16; Dan 2:28; Mi 6:5Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”
Okulagula kwa Balamu Okwokuna
15N’alagula bw’ati nti,
“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
16okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda,
aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo
alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna
eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.
1724:17 a Kub 1:7 b Mat 2:2 c Lub 49:10 d Kbl 21:29; Is 15:1–16:14“Mmulaba, naye si kaakano;
mmutunuulira, naye tali kumpi.
Emmunyeenye eriva ewa Yakobo;
omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri.
Alibetenta Mowaabu,
obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
1824:18 Am 9:12Edomu24:18 Edomu Abayedomu bazzukulu ba Esawu. aliwangulwa;
Seyiri, omulabe we, aliwangulwa,
naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
1924:19 Lub 49:10; Mi 5:2Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo
n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”
Okulagula kwa Balamu Okusembayo
2024:20 Kuv 17:14Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti,
“Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga,
naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”
2124:21 Lub 15:19N’alaba Abakeeni, n’alagula nti:
“Ekifo kyo w’obeera wagumu,
ekisu kyo kiri mu lwazi
2224:22 Lub 10:22naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa
Asuli bw’alibatwala mu busibe.”
23Ate n’alagula nti,
“Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
2424:24 a Lub 10:4 b Lub 10:21 c nny 20Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu;
birifufuggaza Asuli ne Eberi24:24 Eberi ye jjajja w’Abaebbulaniya (1By 1:25-27).,
naye nabyo birizikirira.”
2524:25 Kbl 31:8Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.