Okubala 14 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Okubala 14:1-45

Abantu Bajeema

1Ekiro ekyo abantu bonna mu kibiina ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba n’eddoboozi ery’omwanguka. 214:2 Kbl 11:1Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno! 3Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?” 414:4 Nek 9:17Ne boogeraganya nti, “Ka twerondere omukulembeze tuddeyo mu Misiri.”

514:5 Kbl 16:4, 22, 45Awo Musa ne Alooni ne bavuunama wansi mu maaso g’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abaali bakuŋŋaanidde awo. 6Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe14:6 ne bayuzaayuza engoye zaabwe kaali kabonero ak’okukaaba n’okulaga obusungu., 714:7 Kbl 13:27; Ma 1:25ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo. 814:8 a Ma 10:15 b Kbl 13:27Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa. 914:9 a Ma 1:26; 9:7, 23, 24 b Ma 1:21; 7:18; 20:1Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”

1014:10 a Kuv 17:4 b Lv 9:23Naye abantu bonna mu kibiina ne bateesa okubakuba mayinja. Awo ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira eri abaana ba Isirayiri bonna mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 1114:11 Zab 78:22; 106:24Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano balinnyooma kutuusa ddi? Balikomya ddi obutanzikiririzaamu, newaakubadde nga nakola ebyamagero mu bubonero bwe nakolera mu bo? 1214:12 Kuv 32:10Nzija kubaboola mbazikirize ne kawumpuli, mbasaanyeewo; naye nzija kukuggyamu ggwe eggwanga eriribasinga abo obukulu n’amaanyi.”

1314:13 Kuv 32:11-14; Zab 106:23Naye Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Ebyo Abamisiri bagenda kubiwulira! Kubanga abantu bano wabaggya mu nsi y’Abamisiri n’obuyinza obw’amaanyi amangi. 1414:14 a Kuv 15:14 b Kuv 13:21Bajja kubuulirako ku bantu ab’omu nsi muno. Baamala dda okukiwulira nga ggwe, Ayi Mukama, obeera wakati mu bantu bano, era nga, Ayi Mukama Katonda, mulabagana nabo amaaso n’amaaso, era ng’ekire kyo kibeera nabo buli kiseera, era ng’obakulemberera mu mpagi ey’ekire emisana ne mu mpagi ey’omuliro ekiro. 15Singa abantu bano obatta bonna omulundi gumu, amawanga agawulidde obututumufu bwo gagenda kugamba nti, 1614:16 Yos 7:7‘Kubanga Mukama Katonda yali tasobola kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabasuubiza ng’agibalayirira; kyeyava abattira mu ddungu.’

17“Ne kaakano nkwegayirira oyoleke obuyinza bwo, Ayi Mukama nga bwe buli obusukkirivu nga bwe wasuubiza nti, 1814:18 a Kuv 34:6; Zab 145:8; Yon 4:2 b Kuv 20:5Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’ 1914:19 a Kuv 34:9 b Zab 106:45 c Zab 78:38Ng’okwagala kwe okungi okutaggwaawo bwe kuli, nsaba osonyiwe abantu bano ekibi ky’abwe, nga bw’ozze obasonyiwa kasookedde bava mu Misiri n’okutuusa leero.”

Ekibonerezo kya Isirayiri

2014:20 Zab 106:23; Mi 7:18-20Awo Mukama Katonda n’addamu nti, “Mbasonyiye nga bw’onsabye. 2114:21 a Ma 32:40; Is 49:18 b Zab 72:19; Is 6:3Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ng’ekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna, 2214:22 Kuv 14:11; 32:1; 1Ko 10:5tewalibaawo n’omu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero obw’ebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi, 2314:23 a Kbl 32:11 b Beb 3:18tewalibaawo n’omu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo n’omu ku bo abannyoomye aligirabako. 2414:24 a nny 6-9; Yos 14:8, 14 b Kbl 32:12Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogw’enjawulo era ng’angoberera n’omutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, n’ezzadde lye lirigirya. 2514:25 Ma 1:40Kale nno olwokubanga Abamaleki n’Abakanani babeera mu biwonvu; enkya muddeeko emabega, musitule mutambule nga mwolekera eddungu nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu.”

26Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 2714:27 Kuv 16:12“Ekibiina kino ekibi kirituusa ddi nga kinneemulugunyiza? Mpulidde okutolotooma kw’abaana ba Isirayiri nga banneemulugunyiza. 2814:28 nny 21Bategeeze nti, ‘Mukama agambye nti, Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ebyo bye mpulidde nga mwogera, nange bye ndibakola. 2914:29 a Kbl 26:65 b Kbl 1:45Mulifiira mu ddungu muno n’emirambo gyammwe mwe girisigala; mwenna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo egy’obukulu nga bwe mwamala okubalibwa, abanneemulugunyiza. 30Tewaliba n’omu ku bo aliyingira mu nsi gye neelayirira nti ge galibeera amaka gammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 3114:31 Zab 106:24Naye abaana bammwe abato, be mwogeddeko nti balifuulibwa omunyago, ndibayingiza mu nsi eyo gye mugaanye ne beeyagalira omwo. 3214:32 1Ko 10:5Naye mmwe, emirambo gyammwe girisigala mu ddungu muno mwe girigwa. 33Mmwe olw’obutabeera beesigwa, abaana bammwe balimala emyaka amakumi ana mu ddungu nga bwe balunda ebisibo byabwe okutuusa omulambo gw’oyo alisembayo okufa lwe guliziikibwa mu ddungu muno. 3414:34 Kbl 13:25Nga bwe mwamala ennaku amakumi ana nga muketta ensi eri, bwe mutyo bwe mujja okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, nga buli lumu ku nnaku ezo muvaamu mwaka gumu gumu; muboneebone olw’ebibi byammwe, mulyoke mutegeere obuzibu obw’okunneesimbamu. 3514:35 Kbl 23:19Nze, Mukama Katonda, nkyogedde; ddala ddala ekyo ndikikola ku kibiina kyonna eky’abantu bano aboonoonyi abeegasse awamu okunjolekera. Tebagenda kuva mu ddungu lino, bonna mwe balifiira.’ ”

3614:36 a Kbl 13:4-16 b Kbl 13:32Abasajja abo Musa be yatuma okuketta ensi ne bakomawo ne beemulugunyiza ekibiina ky’abantu bonna nga babaleetedde obubaka obutaali bulungi ku nsi eri, era ne babubunyisa mu bantu, 3714:37 a 1Ko 10:10 b Kbl 16:49abasajja abo abaaleeta obubaka obutaali bulungi ne babubunyisa mu bantu kawumpuli n’abattira awo mu maaso ga Mukama Katonda. 3814:38 Yos 14:6Mu basajja bonna abaatumibwa okuketta ensi, Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune be bokka abaasigalawo nga balamu.

Abayisirayiri Bawangulwa mu Lutalo e Koluma

3914:39 Kuv 33:4Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri bonna ebigambo ebyo, ne bakungubaga nnyo. 4014:40 Ma 1:41Enkeera mu makya ne bambuka mu nsi ey’ensozi. Ne boogera nti, “Twayonoona, naye nga bwe tuli wano tujja kwambuka tuyingire mu nsi Mukama Katonda gye yatusuubiza.”

4114:41 2By 24:20Naye Musa n’abagamba nti, “Lwaki munyooma ekiragiro kya Mukama Katonda? Ebyo bye mutegeka tebiyinza kutuukiririra. 4214:42 Ma 1:42Temwambuka kubanga Mukama Katonda tali nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula. 43Kubanga Abamaleki n’Abakanani bajja kuboolekera. Olwokubanga mwekyusizza ne muva ku Mukama Katonda, tajja kubeera nammwe, ekitala kijja kubatta.”

4414:44 a Ma 1:43 b Kbl 31:6Naye era bo ne beesigula ne bambuka mu nsi ey’ensozi, newaakubadde nga Musa teyagenda nabo era nga n’essanduuko ey’endagaano yasigala mu lusiisira. 4514:45 Kbl 21:3; Ma 1:44; Bal 1:17Awo Abamaleki n’Abakanani abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi ne bakkirira ne babalumba ne babakubira ddala okubatuusa e Koluma.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 14:1-45

以色列人發怨言

1當晚,全體會眾放聲大哭,整夜哀號。 2他們埋怨摩西亞倫說:「我們還不如死在埃及或曠野! 3耶和華為什麼把我們領到這裡來,讓我們死於刀下?我們的妻兒必被擄去。我們還不如返回埃及。」 4他們彼此議論說:「我們選一位首領帶我們回埃及吧!」

5摩西亞倫俯伏在以色列全體會眾面前。 6打探迦南的人中,的兒子約書亞耶孚尼的兒子迦勒撕裂衣服, 7以色列全體會眾說:「我們去打探的地方是佳美之地。 8如果耶和華喜悅我們,祂必把我們帶到那片土地,將那奶蜜之鄉賜給我們。 9你們不要背叛耶和華,也不要害怕那裡的人,他們不過是我們的獵物,他們已失去庇護。耶和華與我們同在,不要怕他們。」 10但全體會眾威脅要用石頭打死他們二人。這時耶和華的榮光在會幕中向以色列人顯現。

11耶和華對摩西說:「這些人藐視我要到何時呢?我在他們中間行了這麼多神蹟,他們仍然不相信我。 12我要用瘟疫毀滅他們,不讓他們承受那片土地。但我要使你成為大國,比他們更強盛。」 13摩西對耶和華說:「你曾經用大能把以色列人從埃及領出來,埃及人聽說這事後, 14一定會告訴迦南的居民。那裡的居民早已聽說你耶和華與以色列人同在,你面對面向他們顯現,你的雲彩停留在他們上面,你白天用雲柱、黑夜用火柱引導他們。 15如果你把他們全部消滅,那些聽過你威名的列國就會議論說, 16『耶和華無法把以色列人領到祂起誓要賜給他們的地方,所以在曠野把他們殺了。』 17因此,求主彰顯偉大的權能,正如你所宣告的, 18『耶和華不輕易發怒,充滿慈愛;祂赦免罪惡和過犯,但決不免除罪責,必向子孫追討父輩的罪債,直到三四代。』 19從他們離開埃及直到現在,你一直在饒恕他們,求你以偉大的慈愛再次赦免這些人的罪。」

20耶和華說:「我聽你的祈求,赦免他們。 21但我憑我的永恆起誓,正如大地充滿我的榮耀一樣確實, 22-23他們絕對看不到我起誓要賜給他們祖先的土地,藐視我的人都看不到那片土地。這些人見過我的榮耀,見過我在埃及和曠野所行的神蹟,卻仍然不聽我的話,試探我十次之多。 24但我的僕人迦勒並非如此,他全心跟從我,所以我必帶他進入那片他去過的土地,讓他的子孫擁有那片產業。 25由於亞瑪力人和迦南人住在山谷中,明天你們要轉回,沿紅海的路前往曠野。」

26耶和華對摩西亞倫說: 27「這邪惡的會眾向我發怨言要到何時呢?我已聽見以色列人對我的埋怨。 28你們去把我的話告訴他們,『以色列人啊,我憑我的永恆起誓,我必照你們所說的對待你們。 29你們當中凡登記在冊、二十歲以上向我發怨言的人,必倒斃在這曠野中, 30耶孚尼的兒子迦勒的兒子約書亞之外,你們無人能進入我起誓應許的那片土地。 31你們說你們的兒女會被擄去,但我要把他們帶到那裡,讓他們享有那片你們厭棄的土地。 32而你們必死在這曠野。 33你們的兒女要在曠野飄泊四十年,為你們的不忠而受苦,直到你們都死在曠野。 34你們打探了那地方四十天,你們要為自己的罪受苦四十年,一年頂一天。那時,你們就知道與我為敵的後果。』 35我耶和華已經說過。我必使你們這群與我為敵的惡人死在曠野,無一倖免。」

36摩西派去打探迦南的人回來以後危言聳聽,以致會眾向摩西發怨言。 37打探的人因而染上瘟疫,死在耶和華面前, 38只有的兒子約書亞耶孚尼的兒子迦勒得以倖免。

39摩西傳達完耶和華的話後,以色列人非常悲傷。 40他們次日清早起來到山頂去,說:「我們知罪了,現在我們要去耶和華應許的地方。」 41摩西說:「你們為什麼要違背耶和華的命令?你們不會成功的。 42不要去!耶和華已經不在你們中間,你們會被敵人打敗。 43你們會遇見亞瑪力人和迦南人,並喪身在他們刀下,因為你們離棄耶和華,祂不再與你們同在。」 44儘管耶和華的約櫃和摩西都沒有出營,他們卻擅自上山頂去。 45住在山區的亞瑪力人和迦南人下來擊潰了他們,一路追殺他們到何珥瑪