Nekkemiya 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 4:1-23

Olukwe olw’Okulemesa Okuzimba

14:1 Nek 2:10Awo Sanubalaati olwawulira nga tuddaabiriza bbugwe, n’anyiiga nnyo era n’ajjula obuswandi. N’aduulira Abayudaaya 24:2 a Ezr 4:9-10 b Zab 79:1; Yer 26:18mu maaso ga mikwano gye ne mu maaso g’eggye ly’e Samaliya n’ayogera nti, “Bano Abayudaaya abanafu bali ku ki? Balizzaawo bbugwe waabwe? Baliwaayo ssaddaaka? Balimalira mu lunaku lumu? Bayinza okulamusa amayinja okuva mu ntuumu z’ebisaaniiko, ate ebyayokebwa?”

34:3 a Nek 2:10 b Yob 13:12; 15:3Tobiya Omwamoni yali amuyimiridde kumpi, n’ayogera nti, “Ebyo bye bazimba, singa ekibe kinaalinnyako kinaasuula bbugwe waabwe ow’amayinja!”

44:4 Zab 44:13; 79:12; 123:3-4; Yer 33:24Ne nsaba Katonda nti, “Otuwulire Ayi Katonda waffe kubanga tunyoomebwa. Ebivumo byabwe bizze ku mitwe gyabwe bo, era baweeyo eri okunyagibwa mu nsi eribafuula abasibe. 54:5 a Is 2:9; Kgb 1:22 b 2Bk 14:27; Zab 51:1; 69:27-28; 109:14; Yer 18:23Oleme okubikka ku musango gwabwe newaakubadde ekibi kyabwe okukisangula mu maaso go kubanga bakusunguwazizza mu maaso g’abazimbi.”

6Awo ne tweyongerayo n’okuzimba bbugwe okutuuka wakati w’obugulumivu bwayo, kubanga abantu baakolanga n’obumalirivu.

74:7 Nek 2:10Naye Sanubalaati, ne Tobiya, n’Abawalabu, n’Abamoni, n’Abasudodi bwe baawulira ng’omulimu gw’okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda mu maaso, nga tutandise n’okuziba ebituli, ne banyiiga nnyo. 84:8 Zab 2:2; 83:1-18Bonna ne beegatta wamu ne basala olukwe okulwanyisa Yerusaalemi n’okugitabulatabula. 9Ne tusaba eri Katonda waffe, ne tuteekawo n’abakuumi abaakuumanga emisana n’ekiro.

104:10 1By 23:4Mu kiseera kyekimu abantu b’e Yuda ne boogera nti, “Abakozi bagenda baggwaamu amaanyi, ate nga wakyaliwo ebifunfugu bingi nnyo, tetuyinza kuddaabiriza bbugwe.”

11N’abalabe baffe ne boogera nti, “Baliba tebanamanya newaakubadde okukiraba, tulibagwako kiyiifuyiifu, era tulibatta ne tukomya omulimu.”

12Awo Abayudaaya abaali babeera okumpi nabo ne bajja ne batulabula emirundi kkumi, nga boogera nti, “Balitulumba enjuuyi zonna.”

13Kyennava nteeka abamu ku bantu mu njuyi eza wansi eza bbugwe awali amabanga, nga balina ebitala, n’amafumu n’emitego n’obusaale. 144:14 a Lub 28:15; Kbl 14:9; Ma 1:29 b Nek 1:8 c Nek 1:5 d 2Sa 10:12Bwe namala okulaba embeera bwe yali, ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu, n’abakulu, n’abantu abalala nti, “Temubatya. Mujjukire Mukama, omukulu era ow’entiisa, mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, ne bakyala bammwe n’amaka gammwe.”

154:15 2Sa 17:14; Yob 5:12Awo abalabe baffe bwe baawulira nga tutegedde olukwe lwabwe, nga Katonda alemesezza enteekateeka yaabwe, ffenna ne tuddayo ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.

16Okuva ku lunaku olwo, ekitundu ku basajja bange bazimbanga n’ekitundu ekirala nga bakutte amafumu, n’engabo, n’obusaale n’ebyokulwanyisa ebirala. Abakulembeze bonna ne bawagira abantu bonna aba Yuda abaali bazimba bbugwe. 174:17 Zab 149:6Abeetikkanga, baasitulanga n’omukono gumu eby’okuzimbisa n’omulala ne gukwata ekyokulwanyisa, 184:18 Kbl 10:2na buli muzimbi yalina ekitala mu kiwato kye ng’akola. Naye omusajja eyafuwanga ekkondeere yambeeranga kumpi.

19Ne ŋŋamba abakungu n’abakulu n’abantu abalala nti, “Omulimu munene ate mugazi, ate twesudde amabanga ku bbugwe, buli muntu ali wala ne munne. 204:20 a Ez 33:3 b Kuv 14:14; Ma 1:30; 20:4; Yos 10:14Buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly’ekkondeere nga mujja okutudduukirira. Katonda waffe alitulwanirira.”

21Ne tweyongerayo n’omulimu, ekitundu ekimu ne kikwatanga amafumu obudde we bwakereranga okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga. 22Mu biro ebyo, ne nnyongera okutegeeza abantu nti, “Buli muntu n’oyo amubeera, basigalenga mu Yerusaalemi ekiro, bakuumenga ekiro, naye emisana babe nga bakola.” 23Tewaali n’omu ku ffe newaakubadde nze newaakubadde baganda bange newaakubadde abasajja bange wadde abakuumi, eyayambulangamu engoye; buli omu yalina ekyokulwanyisa kye, ne bwe yagendanga ku luzzi.