Nakkumu 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Nakkumu 1:1-15

11:1 a Is 13:1; 19:1; Yer 23:33-34 b Yon 1:2; Nak 2:8; Zef 2:13Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.

Obusungu bwa Mukama ku Nineeve

21:2 a Kuv 20:5 b Ma 32:41; Zab 94:1Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga.

Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi.

Mukama yeesasuza ku balabe be

era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.

31:3 a Nek 9:17 b Kuv 34:7 c Zab 104:3Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi

era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze.

Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga,

n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.

41:4 Is 33:9Akangavvula ennyanja n’agikaza

era akaza emigga gyonna,

ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse,

n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.

51:5 a Kuv 19:18 b Mi 1:4Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda,

obusozi ne busaanuuka,

ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge,

ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.

61:6 a Mal 3:2 b Yer 10:10 c 1Bk 19:11Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?

Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?

Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,

n’enjazi n’eziyatikayatika.

71:7 a Yer 33:11 b Zab 1:6Mukama mulungi,

kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,

era alabirira abo bonna abamwesiga.

8Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu,

ekizikiza kiribawondera.

9Buli kye mwekobaana okukola Mukama,

alikikomya.

Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.

101:10 a 2Sa 23:6 b Is 5:24; Mal 4:1Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye,

era nga batamidde,

balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.

11Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu

alowooza akabi

era ateesa ebibi ku Mukama.

121:12 a Is 10:34 b Is 54:6-8; Kgb 3:31-32Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi,

balizikirizibwa ne baggwaawo.

Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange,

siriddayo kukikola nate.

131:13 Is 9:4Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko

era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”

141:14 a Is 14:22 b Mi 5:13 c Ez 32:22-23Kino Mukama ky’alagidde ekikwata ku Nineeve:

“Erinnya lyo terikyayala nate.

Ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse

ebiri mu masabo g’abakatonda bo;

ndisima entaana yo

kubanga oyinze obugwagwa.”

151:15 a Is 40:9; Bar 10:15 b Is 52:7 c Lv 23:2-4 d Is 52:1Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba,

ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi,

alangirira emirembe.

Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu,

era otuukirize obweyamo bwo;

omubi kaakano takyakulumba,

azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.