Mikka 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Mikka 4:1-13

Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna

14:1 a Zek 8:3 b Ez 17:22 c Zab 22:27; 86:9; Yer 3:17Mu nnaku ez’oluvannyuma

olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa

okusinga ensozi zonna;

lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,

era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.

24:2 a Yer 31:6 b Zek 2:11; 14:16 c Zab 25:8-9; Is 54:13Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,

“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,

mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.

Alituyigiriza by’ayagala

tulyoke tutambulire mu makubo ge.”

Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,

n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.

34:3 a Is 11:4 b Yo 3:10 c Is 2:4Aliramula amawanga

atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala.

Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,

n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.

Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,

so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.

44:4 a 1Bk 4:25 b Lv 26:6 c Is 1:20; Zek 3:10Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe

ne mu mutiini gwe.

Tewalibaawo abatiisa

kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.

54:5 a 2Bk 17:29 b Yos 24:14-15; Is 26:8; Zek 10:12Newaakubadde nga amawanga gonna

galigoberera bakatonda baago,

naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama

Katonda waffe emirembe n’emirembe.

Isirayiri ewona Obusibe

64:6 a Zab 147:2 b Ez 34:13, 16; 37:21; Zef 3:19“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,

“Ndikuŋŋaanya abalema,

n’abo abaawaŋŋangusibwa

n’abo abali mu nnaku.

74:7 a Mi 2:12 b Dan 7:14; Luk 1:33; Kub 11:15Abalema ndibafuula abalonde,

n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi.

Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni

okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.

84:8 Is 1:26Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga,

ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni,

ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira,

n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”

94:9 a Yer 8:19 b Yer 30:6Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo?

Temulina kabaka abakulembera?

Omuwi w’amagezi wammwe yafa,

ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?

104:10 a 2Bk 20:18; Is 43:14 b Is 48:20Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni

ng’omukazi alumwa okuzaala.

Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga

ogende obeere ku ttale.

Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni,

era eyo gye ndibalokolera.

Ndibanunulira eyo

okuva mu mukono gw’omulabe.

114:11 Kgb 2:16; Ob 12Kyokka kaakano amawanga mangi

gakuŋŋaanye okubalwanyisa.

Boogera nti, Ayonoonebwe,

n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.

124:12 Is 55:8; Bar 11:33-34Naye tebamanyi

birowoozo bya Mukama;

tebategeera kuteesa kwe;

oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.

134:13 Dan 2:44“Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni,

kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma;

ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo

era olibetenta amawanga mangi.”

Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama,

n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.