Mikka 2 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Mikka 2:1-13

12:1 Zab 36:4Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu

era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe;

Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe,

kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.

22:2 a Is 5:8 b Yer 22:17Beegomba ebyalo ne babitwala,

ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala.

Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi,

ne bamubbako ebyobusika bwe.

32:3 a Yer 18:11; Am 3:1-2 b Is 2:12Mukama kyava agamba nti,

“Laba, ndireeta akabi ku bantu abo,

ke mutagenda kweggyamu.

Temuliddayo kubeera n’amalala nate

kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.

42:4 Yer 4:13Olwo abantu balikusekerera;

Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti:

‘Tugwereddewo ddala;

ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu.

Mukama anziggirako ddala ettaka lyange,

n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”

52:5 Yos 18:4Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama,

aligabanyaamu ettaka ku bululu.

62:6 a Mi 6:16 b Am 2:12Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi,

Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo;

tewali kabi kagenda kututuukako.”

72:7 a Zab 119:65 b Zab 15:2; 84:11Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo?

Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo?

Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?

8Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko

ng’omulabe.

Basika ne bambula eminagiro emirungi

ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe,

ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.

92:9 Yer 10:20Bakazi b’abantu bange mubagoba

mu mayumba gaabwe amalungi,

abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa

oguva eri Katonda.

102:10 a Ma 12:9 b Lv 18:25-29; Zab 106:38-39Muyimuke mugende,

kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe;

olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza,

kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.

112:11 a Yer 5:31 b Is 30:10Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti,

“Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,”

oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.

122:12 Mi 4:7; 5:7; 7:18“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo;

ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri.

Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro,

ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo,

ekifo kirijjula abantu.

132:13 Is 52:12Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse,

abayise mu mulyango abafulumye.

Era kabaka waabwe alibakulembera,

Mukama alibakulembera.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

彌迦書 2:1-13

欺壓者的命運

1躺在床上圖謀不軌、

盤算作惡的人有禍了!

天一亮,他們就依仗手中的權勢行惡。

2他們貪圖田地,就去霸佔;

想要房屋,就去搶奪。

他們欺壓人,

詐取別人的家園和產業。

3所以,耶和華說:

「我正計劃降災懲罰你們,

你們無法逃脫,

再也不能趾高氣揚,

因為這是你們災禍臨頭的日子。

4到那日,

人們要唱哀歌譏諷你們說,

『我們徹底完了,

耶和華把我們的產業轉給別人。

祂竟拿走我們的產業,

把田地分給擄掠我們的人。』」

5因此,他們在耶和華的會眾中將無人抽籤分地。

6他們的先知說:

「不要說預言了,

不要預言這種事,

我們不會蒙受羞辱。」

7雅各家啊,你們怎能說:

「耶和華已經不耐煩了嗎?

祂會做這些事嗎?」

「我的話豈不有益於行為正直的人嗎?

8近來,你們像仇敵一樣起來攻擊我的子民2·8 你們像仇敵一樣起來攻擊我的子民」或譯「我的子民如仇敵一樣興起來」。

你們剝去那些如從戰場歸來一樣毫無戒備的過路人的外衣。

9你們把我子民中的婦女從她們的幸福家園趕走,

又從她們的子女身上永遠地奪去我的尊榮。

10你們起來走吧!

這裡不再是你們的安居之地!

因為這裡已遭玷污,

被徹底毀壞。

11倘若有騙子撒謊說,

『我預言你們會有美酒佳釀。』

他就會成為這個民族的先知。

12雅各家啊,

我必把你們都聚集起來,

我必把以色列的餘民集合起來。

我要將他們安頓在一起,

好像羊圈裡的羊,

又如草場上的羊群;

那裡必人聲鼎沸。

13開路者要走在他們前面,

帶領他們衝出敵人的城門。

他們的王走在前面,

耶和華親自引導他們。」