Mikka 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Mikka 1:1-16

11:1 a Yer 26:18 b 1By 3:12 c 1By 3:13 d Kos 1:1 e Is 1:1Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.

21:2 a Zab 50:7 b Yer 6:19 c Lub 31:50; Ma 4:26; Is 1:2 d Zab 11:4Muwulire mmwe abantu mwenna,

muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu,

Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu,

ng’alina by’abalumiriza.

31:3 a Is 18:4 b Am 4:13Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye

ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.

41:4 a Zab 46:2, 6 b Kbl 16:31; Nak 1:5N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye

era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka

ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro,

ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.

51:5 Am 8:14Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo,

olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.

Ekibi kya Yakobo kye kiruwa?

Si ye Samaliya?

Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda?

Si Yerusaalemi?

61:6 a Am 5:11 b Ez 13:14“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu,

kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu.

Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu

N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.

71:7 a Ez 6:6 b Ma 9:21 c Ma 23:17-18Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa;

ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro;

ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera.

Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi,

bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”

Okukaaba n’Okukungubaga

81:8 Is 15:3Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe,

ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya.

Ndikaaba ng’ekibe,

ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.

91:9 a Yer 46:11 b 2Bk 18:13 c Is 3:26Ekiwundu kye tekiwonyezeka,

ne Yuda ky’alwadde.

Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange,

ne ku Yerusaalemi yennyini.

Omulabe Asemberera Yerusaalemi

10Temukibuulira mu Gaasi,

temukaaba maziga n’akatono.

Mwevulungulire mu nfuufu

mu Besuleyafula.

111:11 Ez 23:29Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde,

mmwe ababeera mu Safiri.

Ababeera mu Zanani

tebalifuluma.

Beswezeeri ekuba ebiwoobe,

kubanga tokyalinayo buddukiro.

121:12 Yer 14:19Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi

nga balindirira okubeerwa,

kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama,

ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.

131:13 Yos 10:3Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi

mmwe ababeera mu Lakisi.

Mmwe nsibuko y’ekibi

mu Bawala ba Sayuuni,

kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.

141:14 a 2Bk 16:8 b Yos 15:44 c Yer 15:18Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi

ebirabo ebimusiibula.

Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba

eri bakabaka ba Isirayiri.

151:15 a Yos 15:44 b Yos 12:15Mmwe abantu b’omu Malesa,

ndibasindikira alibawangula n’abafuga.

Oyo ekitiibwa kya Isirayiri

alijja mu Adulamu.

161:16 Yob 1:20Mukungubage, n’emitwe mugimwe

olw’abaana bammwe be mwesiimisa;

mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega,

kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.