Matayo 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Matayo 4:1-25

Okukemebwa kwa Yesu

1Awo Yesu n’atwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. 24:2 Kuv 34:28; 1Bk 19:8N’amala ennaku amakumi ana ng’asiiba, nga talya, emisana n’ekiro, oluvannyuma enjala n’emuluma. 34:3 a 1Bs 3:5 b Mat 3:17; Yk 5:25; Bik 9:20Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”

44:4 Ma 8:3Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

54:5 Nek 11:1; Dan 9:24; Mat 27:53Awo Setaani n’amutwala mu kibuga ekitukuvu n’amussa ku kitikkiro kya Yeekaalu. 64:6 Zab 91:11, 12N’amugamba nti,

“Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi

kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe

oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”

74:7 Ma 6:16Yesu n’addamu Setaani nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”

8Ate Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu n’amulengeza ensi zonna n’obwakabaka bwamu n’ekitiibwa kyabwo kyonna, 9n’amugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bw’onoovuunama n’onsinza.”

104:10 a 1By 21:1 b Ma 6:13Yesu n’addamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ ”

114:11 Mat 26:53; Luk 22:43; Beb 1:14Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.

Yesu Atandika Okubuulira

124:12 a Mat 14:3 b Mak 1:14Yesu bwe yawulira nga Yokaana bamusibye mu kkomera n’agenda e Ggaliraaya. 134:13 Mak 1:21; Luk 4:23, 31; Yk 2:12; 4:46, 47Bwe yava e Nazaaleesi n’agenda abeera e Kaperunawumu ekiri ku lubalama lw’ennyanja mu byalo by’e Zebbulooni n’e Nafutaali. 14Kino ne kituukiriza ekyayogerwa nnabbi Isaaya ng’agamba nti,

15“Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja,

n’ebyalo ebiri emitala w’omugga Yoludaani,

n’e Ggaliraaya ey’ekyengulu omuli bannaggwanga abangi,

164:16 Is 9:1, 2; Luk 2:32abantu abaatuulanga mu kizikiza,

balabye Omusana mungi.

Abaatuulanga mu nsi ey’ekisiikirize eky’okufa,

omusana gubaakidde.”

174:17 Mat 3:2Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”

Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka

184:18 a Mat 15:29; Mak 7:31; Yk 6:1 b Mat 16:17, 18Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 194:19 Mak 10:21, 28, 52Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” 20Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.

214:21 Mat 20:20Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere. 22Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.

Yesu Awonya Abalwadde

234:23 a Mak 1:39; Luk 4:15, 44 b Mat 9:35; 13:54; Mak 1:21; Luk 4:15; Yk 6:59 c Mak 1:14 d Mat 3:2; Bik 20:25 e Mat 8:16; 15:30; Bik 10:38Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu. 244:24 a Luk 2:2 b Mat 8:16, 28; 9:32; 15:22; Mak 1:32; 5:15, 16, 18 c Mat 17:15 d Mat 8:6; 9:2; Mak 2:3Amawulire ag’ebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, n’abalina ebibabonyaabonya, n’ab’ensimbu n’abo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye n’ab’endwadde endala ezitali zimu, bonna n’abawonya. 254:25 Mak 3:7, 8; Luk 6:17Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli,4:25 Dekapoli kitegeeza ebibuga ekkumi ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.