Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Matayo 28

Yesu Azuukira

1Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.

Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako. Amaaso ge gaali gamasamasa ng’okumyansa kw’eraddu, n’ekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku. Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ng’abafudde.

Awo malayika n’agamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa, wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa. Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”

Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be. Bwe baali bagenda, amangwago Yesu n’ayimirira mu maaso gaabwe! N’abalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza. 10 Awo Yesu n’abagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”

Abakuumi bye Baayogera

11 Abakazi bwe baali bagenda mu kibuga, abamu ku bakuumi abaali bakuuma entaana ne bagenda eri bakabona abakulu ne babategeeza byonna ebibaddewo. 12 Awo abakulembeze b’Abayudaaya bonna ne bakuŋŋaana ne bateesa era ne batoola ffeeza na basalawo bagulirire abakuumi. 13 Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.” 14 Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.” 15 Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.

Okutumibwa mu Nsi yonna

16 Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga. 17 Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa! 18 Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 19 Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. 20 Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.”

New Living Translation

Matthew 28

The Resurrection

1Early on Sunday morning,[a] as the new day was dawning, Mary Magdalene and the other Mary went out to visit the tomb.

Suddenly there was a great earthquake! For an angel of the Lord came down from heaven, rolled aside the stone, and sat on it. His face shone like lightning, and his clothing was as white as snow. The guards shook with fear when they saw him, and they fell into a dead faint.

Then the angel spoke to the women. “Don’t be afraid!” he said. “I know you are looking for Jesus, who was crucified. He isn’t here! He is risen from the dead, just as he said would happen. Come, see where his body was lying. And now, go quickly and tell his disciples that he has risen from the dead, and he is going ahead of you to Galilee. You will see him there. Remember what I have told you.”

The women ran quickly from the tomb. They were very frightened but also filled with great joy, and they rushed to give the disciples the angel’s message. And as they went, Jesus met them and greeted them. And they ran to him, grasped his feet, and worshiped him. 10 Then Jesus said to them, “Don’t be afraid! Go tell my brothers to leave for Galilee, and they will see me there.”

The Report of the Guard

11 As the women were on their way, some of the guards went into the city and told the leading priests what had happened. 12 A meeting with the elders was called, and they decided to give the soldiers a large bribe. 13 They told the soldiers, “You must say, ‘Jesus’ disciples came during the night while we were sleeping, and they stole his body.’ 14 If the governor hears about it, we’ll stand up for you so you won’t get in trouble.” 15 So the guards accepted the bribe and said what they were told to say. Their story spread widely among the Jews, and they still tell it today.

The Great Commission

16 Then the eleven disciples left for Galilee, going to the mountain where Jesus had told them to go. 17 When they saw him, they worshiped him—but some of them doubted!

18 Jesus came and told his disciples, “I have been given all authority in heaven and on earth. 19 Therefore, go and make disciples of all the nations,[b] baptizing them in the name of the Father and the Son and the Holy Spirit. 20 Teach these new disciples to obey all the commands I have given you. And be sure of this: I am with you always, even to the end of the age.”

Notas al pie

  1. 28:1 Greek After the Sabbath, on the first day of the week.
  2. 28:19 Or all peoples.