Matayo 23 – LCB & HHH

Luganda Contemporary Bible

Matayo 23:1-39

1Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti, 223:2 Ezr 7:6, 25; Nek 8:4“Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. 3Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. 423:4 Luk 11:46; Bik 15:10; Bag 6:13Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.

523:5 a Mat 6:1, 2, 5, 16 b Kuv 13:9; Ma 6:8 c Kbl 15:38; Ma 22:12“Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo23:5 bwali bubokisi obutono bwe baateekangamu ennyiriri ez’ebyawandiikibwa ne bwambala mu kyenyi oba ku mukono omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba. 623:6 Luk 11:43; 14:7; 20:46Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro. 723:7 nny 8; Mak 9:5; 10:51; Yk 1:38, 49Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’

8“Temweyitanga ‘Labbi23:8 Labbi kitegeeza Omuyigiriza,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. 923:9 Mal 1:6; Mat 7:11Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. 10Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. 1123:11 Mat 20:26; Mak 9:35Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. 1223:12 Luk 14:11Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.

1323:13 a nny 15, 23, 25, 27, 29 b Luk 11:52“Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, ate nammwe ne mutayingira.

14“Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti muli batuukirivu nga musaba essaala, so ng’ate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe. 1523:15 a Bik 2:11; 6:5; 13:43 b Mat 5:22Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri.

1623:16 a nny 24; Mat 15:14 b Mat 5:33-35“Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’ 1723:17 Kuv 30:29Mmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu? 18Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’ 1923:19 Kuv 29:37Mmwe abazibe b’amaaso, ku byombi kiruwa ekisinga kinnaakyo obukulu, ekirabo ekiri ku kyoto oba ekyoto kyennyini ekifuula ekirabo ekyo okuba ekitukuvu? 20Bwe mulayira ekyoto, muba mulayira ekyoto n’ebikiriko byonna, 2123:21 1Bk 8:13; Zab 26:8era bwe mulayira Yeekaalu muba mulayira Yeekaalu ne Katonda agibeeramu. 2223:22 Zab 11:4; Mat 5:34Era bwe mulayira eggulu, muba mulayira n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka n’oyo yennyini agituulako.

2323:23 a Lv 27:30 b Mi 6:8; Luk 11:42“Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kintu, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu eby’amateeka, ng’obwenkanya, n’okusaasira n’okukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu eky’ekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira. 2423:24 nny 16Mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!

2523:25 a Mak 7:4 b Luk 11:39“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka. 26Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.

2723:27 Luk 11:44; Bik 23:3“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ng’amalaalo agatemagana kungulu,23:27 Omuntu eyalinnyanga ku malaalo, yafukanga atali mulongoofu (laba Kub 19:16). Abantu kyebaava bagasiiganga langi enjeru, basobole okugalaba ne mu kiro songa munda gajjudde amagumba g’abafu n’obuvundu obwa buli ngeri. 28Mulabika ng’abantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi n’obumenyi bw’amateeka.

2923:29 Luk 11:47, 48“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, ne mutimba ebijjukizo, by’abatuukirivu, 30ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gw’abannabbi.’ 3123:31 Bik 7:51-52Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana b’abo abatta bannabbi. 3223:32 1Bs 2:16Mugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza.

3323:33 a Mat 3:7; 12:34 b Mat 5:22“Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena? 3423:34 a 2By 36:15, 16; Luk 11:49 b Mat 10:17 c Mat 10:23Kyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe. 3523:35 a Lub 4:8; Beb 11:4 b Zek 1:1 c 2By 24:21Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala. 3623:36 Mat 10:23; 24:34Ddala ddala mbagamba nti ebyo byonna birituuka ku mulembe guno.

3723:37 2By 24:21; Mat 5:12“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana. 3823:38 1Bk 9:7, 8; Yer 22:5Laba kaakano ennyumba yo esigalidde awo, kifulukwa. 3923:39 Zab 118:26; Mat 21:9Kubanga nkugamba nti toliddayo kundaba nate, okutuusa ng’oyogedde nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”

Habrit Hakhadasha/Haderekh

הבשורה על-פי מתי 23:1-39

1ישוע פנה אל הקהל ואל תלמידיו ואמר: 2”הסופרים והפרושים יושבים על כסא משה. 3לכן טוב שתשמעו בקולם ותעשו את מה שהם אומרים, אבל בשום אופן אל תעשו את מה שהם עושים! כי הם עצמם אינם עושים את מה שהם דורשים מכם לעשות. 4הם מכבידים עליכם בדרישות שונות, בעוד שבעצמם לא מוכנים להרים אצבע.

5”הם עושים את כל מעשיהם בשביל שיראו אותם. הם מעמידים פני צדיקים, מניחים תפילין בציבור ומאריכים את הציציות שלהם. 6במסיבות הם אוהבים לשבת בראש השולחן, ובבית הכנסת – במקומות השמורים. 7הם אוהבים שנותנים להם כבוד ברחובות ושקוראים להם ’רבי‘. 8אל תרשו לאיש לקרוא לכם כך, כי ה׳ לבדו הוא רבכם, וכולכם שווים כאחים. 9כמו כן אל תפנו לאיש בתואר ’אבי‘, כי רק לאלוהים שבשמים עליכם לקרוא ’אבי‘. 10אל תרשו שיקראו לכם ’מורי ורבי‘, כי יש לכם מורה ורב אחד בלבד, והוא המשיח.

11”ככל שתרבו לשרת את הזולת בענווה, כך תגדלו בעצמכם. כדי להיות גדולים ביותר – היו עבדים! 12מי שמכבד את עצמו יושפל ומי שמשפיל את עצמו יכובד.

13‏-14”אוי לכם, הפרושים והסופרים, צבועים אתם! לא די שאינכם נכנסים בעצמכם למלכות השמים, אתם גם מונעים מאחרים להיכנס! אתם מעמידים פני צדיקים ומתפללים באריכות באמצע הרחוב, וכל זאת בזמן שאתם מגרשים אלמנות מבתיהן. צבועים שכמוכם! 15כן, אוי לכם, צבועים! אתם נוסעים למרחקים כדי לגייר אדם אחד, ולאחר שהתגייר אתם הופכים אותו לבן־גיהינום עוד יותר מכם!

16”אוי לכם, מנהיגים עיוורים! הכלל שלכם הוא: ’אם נשבעת במקדש ה׳ מותר לך להפר את שבועתך, אולם אם נשבעת בזהב של בית־המקדש אסור לך להפר את שבועתך‘. 17עיוורים טיפשים! מה חשוב יותר, הזהב או המקדש שמקדש את הזהב?

18”כמו כן אתם אומרים: ’שבועה במזבח אינה מחייבת ומותר להפר אותה, אך שבועה בקורבן שעל המזבח – מחייבת‘. 19עיוורים! מה גדול וחשוב יותר, הקורבן שעל המזבח או המזבח עצמו המקדש את הקורבן? 20הרי אם אתם נשבעים ’במזבח‘, אתם נשבעים למעשה בו ובכל אשר עליו. 21כאשר אתם נשבעים ’במקדש‘, אתם נשבעים למעשה בו ובאלוהים השוכן בו. 22ואם אתם נשבעים ’בשמים‘, אתם נשבעים בכסא אלוהים ובאלוהים עצמו.

23”כן, אוי לכם פרושים וסופרים צבועים! אתם מקפידים על הלכות דקדקניות כמו לתת מעשר על עלי נענע בגינה, אולם אתם מתעלמים מהדברים החשובים באמת כמו צדק, רחמים ואמונה! אתם אמנם חייבים לתת מעשר, אולם אסור לכם להזניח את הדברים החשובים יותר. 24מנהיגים עיוורים! אתם מסננים את היתוש ובולעים את הגמל!

25”אוי לכם, סופרים ופרושים צבועים שכמוכם! אתם מקפידים כל־כך על צחצוח הכוס מבחוץ, אולם תוכה מצחין מריקבון! 26פרושים עיוורים, טהרו תחילה את פנים הכלי ואז כולו יהיה נקי!

27”אוי לכם, סופרים ופרושים! אתם דומים לקברים הנראים יפים ומפוארים מבחוץ, אך בתוכם הם מלאים עצמות מתים, ריקבון וטומאה. 28אתם משתדלים להיראות קדושים, אולם בפנים לבכם מלא צביעות וטומאה. 29‏-30כן, אוי לכם פרושים, ואוי לכם סופרים – צבועים שכמוכם! אתם בונים מצבות לנביאים שאבותיכם הרגו, ומניחים פרחים על קברי אנשי־האלוהים שאבותיכם רצחו, ואתם אומרים: ’אנחנו, כמובן, לא היינו מעזים לנהוג כפי שנהגו אבותינו!‘

31”בדבריכם אלה אתם מעידים על עצמכם שהנכם בני רשעים. 32אתם הולכים בעקבות אבותיכם וממלאים את מכסת עוונותיהם. 33נחשים בני נחשים! כיצד תימלטו מעונש הגיהינום?

34”אני שולח אליכם נביאים, חכמים וסופרים; אחדים מהם תהרגו בצליבה, ואחרים תלקו בשוטים בבתי הכנסת שלכם, ותרדפו אחריהם מעיר לעיר! 35וכך תישאו באשמת הריגתם של כל אנשי האלוהים – החל בהבל הצדיק וכלה בזכריה בן־ברכיה, שאותו רצחתם בבית־המקדש בין ההיכל למזבח. 36ובכן, כל זה יבוא על הדור הזה.

37”ירושלים, ירושלים, ההורגת את הנביאים ורוגמת באבנים את שליחי אלוהים! פעמים רבות חפצתי לאסוף את בנייך, כתרנגולת האוספת את אפרוחיה תחת כנפיה, אולם לא רציתם. 38ועתה אלוהים נוטש את ביתכם, 39ואני אומר לכם שמעתה ואילך לא תראו אותי יותר, עד אשר תאמרו: ’ברוך הבא בשם ה׳!‘ “